Olwaleero lunnaku lwaba-Taata mu nsi wonna.
Bya Benjamin Jumbe
Ebibalo okuva mu kitongole kyabaana ekyekibiina kyamawanga amagatte ekya, UN Children’s Fund biraga nti abaana abasing wakati wemyaka 3 okutuuka 4, tebafuna Mukisa okumala obudde neba kitaabwe naddala mu butto.
Bino byazuliddwa oluvanyuma lwokunonyereza kwebakoze mu mawanga 74 nga alipoota yafulumiziddwa wakati mu kwetegekera olunnaku lwaba-Taata ona Father’s Day,…
Bya Ivan Ssenabulya
Ssentebbe wekibiina kya FDC mu Buvanjuba bwe gwanga, Proscovia Salaam Musumba, abusabuusa nti obukiiko obubangibwawo ku nsonga ezitali zimu tebuyinza kugonjoola bizibu bya gwanga.
Munnabyabufuzi ono ateerya ntama ayogedde ku kakiiko komukulembeze we gwanga keyabangawo okunonyereza ku kibba ttaka akakubirizibwa omulamuzi wa kooti, Catherine Bamugemereirwe nti essubi ttono nti banadivaayo nekyokuddamu okumalawo enkayana ze…
Bya Shamim Nateebwa
Ministry yebyobulamu eragidde okunonyereza kukolebwe ku bigambibwa nti waliwo omulwadde eyafiridde mu lugya lwe ddwaliro lya kokolo e Mulago-Uganda Cancer lwabulagajjavu ku ntandikwa ya wiiki eno.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu ministry ekitereddwako omukono gwa minister webyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng, abekibiina kya Uganda Dental and Medical practitioners’ council bebasabye ministry okunonyererza ku nsonga…
Bya Ruth Andera
Omulazi ku kooti ya Buganda Road James Ereemye ataddewo olwangennakuzo'mwezi 20 omwezi ogwamusavu omwaka guno okusalawo oba nga basazaamu okweyimirirwa kwa Dr. Stellah Nyanzi’sakaomezebwewo okulaimanda eluzira.
Oludda oluwaabi lwatekayo okusaba nga bagala okweyimirirwa kwomukyala ateerya ntama Dr. Nyanzi kusazibwemu nga bagamba nti oluvanyuma lwomuyimbula awoze ngava bweru wa kkomera weyakoma ate weyatandikira naddamu okuvuma…
Bya Ivan Ssenabulya
Abazadde nabasomessa balopedde omukubirizza wolukiiko lwe gwanga Rebecca Kadaga, nga bagala ekyokugambira abaana amakalenda gekizalagumba kikome.
Stephen Langa, akuliira ekitongole kya Family Life Network,akwasizza ekiwadiiko kino eri speaker kulwabazadde nabasomesa ategezezza nti abaana tebetaaga nkola zakizaala gumba wabula bawebwe Magezi nakubudabudibwa okusobola okubakulira mumasomero nga basoma.
Ategezezza nti abaana betaaga kubulirirwa nti okusoma kekisasize eranga…
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku kyalo Nkunyu mu district ye Lwengo baguddemu ekyekango, mutuuze munnaabwe bwasirikidde mu nnabbambula womuliro ogukutte ennyumba ye.
Namukadde Alice Kateregga omuliro gumwokezza okutuuka okufuuka ebisirinza.
Omwogezi wa polisi mu maserengeta ga Uganda, Lameka Kigozi akaksizza akabenje kano, nategeeza nti batebereza okuba nti omuliro gwavudde ku kataal aka Ttadooba.
Bya Abaubaker Kirunda
Omuvubi atemera mugyobukulu 40 afiridde munyanja okulinanana omwalo gwe wairka.
Omugenzi ategerekesse nga Musa Waiswa omutuuze mu Kamuli district.
Omukuberabiddeko nga akabenje kano kagwawo Hamza Kagoyeategezezz naga omugezi abadde alikulyato era nga abadde agenze kuvuba.
Ono ayongeddeko nti elyato lyefudde negwa munyanja nga tewabadde amuddukirira.
Bya Shamim Nateebwa
Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 alagidde amanyi gongerwe mu kusomesa abantu ku ntekateeka yekitongole kyobwakabaka bwa bUganda ekyeby ttaka ekya Bunga Land Board kyebatuuma "Kyapa mu ngalo"
Ssabasajja asinzidde ku mukolo gwe Nyimba, amazina ne Katemba ogubadde ku ssomero lya St. Jude Primary School mu ssaza lye erye Ssingo mu…
Bya Abubaker Kirunda
Police mu district ye Iganga ebakanye no'kunonyerezza ku kyavirideeko omuliro ogukutte ekimotooka kyamafuuta mu kiro ekikesezza olwaleero mu kabuga ke Buseesa ku lugundo oluva e Iganga okudda Tororo ebintu ebirinanyewo ebiri mu bukaddebwensimbi nebisanyizibwawo.
Kitegerekesse nti ekimotooka ki lukululana ekibadde kiva e Busia nga kidda Kampala kinonye obugulumu bwomu obwtekebwa mu luguudo oba Hampusi bwekityo nekiremera omugoba wakyo nekyevuungula oluvanyuma…
Bya Shamim Nateebwa
Omusajja awonedde watono okutibwa naleeteddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga'pooca n'ebiwundu oluvannyuma lw'okulwanagana n'engo ebuzeeko akatono okumuggya mu bulamu bw'ensi.
Godfrey Lutalo omutuuze ku kyalo Miganyi mu district ye Nakaseke y'aleteddwa mu ddwaliro e Mulago ng'leenya n'ebiwundi ku mutwe neku mikono nomugongo.
Lutalo yabadde agenze mu nnimiro ye eya kasooli okutangira enkima ezibadde zimuliranga…