Bya Sam Sebuliba ne Ndaye Moses
Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje asabye abayisiraamu okwewala ebikolwa byonna ebimenya amateeka.
Buno bwebubadde obubaka bwa Mufuti, mu kusaala Eid wali ku muzikiti omukulu ku Kasozi Kampala.
Sheik Mubajje agambye nti abayisiraamu bangi abakwatiddwa ku byekuusa ku ttemu nebiralala kalenga kizibu gyebali ngabakulembeze baabwe okubaterayo akabega.
Ategezezza nti omwezi omutukuvu gusanye…
Bya Dmalie Mukhaye
Munna FDC Dr. Kizza Besigye asabye abayisraamu okunweyerera ku nsonga zaabwe ezimanyiddwa obvulungi, nomulanga okukimanya nti Uganda gwanga erykutte awamu.
Bino bibadde mu bubaka bwe obwa Edi ngayogedde ku mwezi omutukuvu ngogwoleka ebyo abayisiraamu byebakirizaamu nengeri gyebalina okuvvunukamu ekibi.
Kati Eid wetukidde, Besigye agambye nti, nga waliwo ensonga ezikyalemya mu gwanga okuli ettemu, enjala nebiralal nayenga…
Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni mu bubaka bwe obwa Eid eri abayisraamu, abasabye mu buvumu okwenganga byonna ebibasomooza okuli enjawukana nobwavu na magezi okulaba nti bakyusa embeera zaabwe nemu gwanga awamu.
Abayozayozezza okutuuka ku Eid nokumalako omwezi omutukuvu.
President Museveni ayogedde ku ddembe lyokusinza, eririwo mu gwanga wabula nalabula nti terisanye kukozesebwa bukyamu.
Bya Ivan Ssenabulya ne Shamim Nateebwa
Olwaleero Eid, ngabyisiraamu batandise okweyiwa ku mizikiti egyenjawulo, oluvanyuma lwokufundikira ekisiibo mu mwezi omutukuzu.
Eid yalangiriddwa akawungeezi akayise oluvanyuma lwomwezi okuboneka.
Kati okusinziira ku ntekateeka efulumye okuva ku kitebbe kyobuyisiraamu mu gwanga ku kasozi Kampala Mukadde, kusaala Eid ku muzikiti omukulu ku Old Kampala kugenda kutandika ssaawa 3 ezokumakya.
Omwogezi wekitebbe kyobuyiraamu mu…
Bya Moses Kyeyune
Egwanga lyabutikidde ekyobeero akawungweezi akayise oluvanyuma lwamawulire gokufa kweyali minister webyobulamuzi Maria Mutagamba.
Mutagamba yafirdde mu ddwaliro lya Case Hospital mu Kampala akawungeezi akayise ku myaka 70.
Alipoota zabasawo entongole ku kyasse omugenzi tezinafuluma wabulanga kisubirwa, ono yafudde kirwadde kya kokolo owomubyenda.
Omugenzi alwanagey nekirwadde kino okuva mu mwaka gwa 2004, nga yadduisibwa mu ddwaliro wiiki…
Bya Abubaker Kirunda
Gwebatereza okubba pikipiki, ekibinja kyabatuuze kimukakanyeko nebamukuba okutuuka okumutta.
Bino bibadde ku kyalo Namalele mu ggombolola ye Buwenge mu district ye Jinja.
Atwala poliisi yomu kitundu, Sadiq Thabo Muhammad ategezezza nti batandise okunonyereza.
Omugenzi tanategerekeka mannya, nga tasangiddwako yadde ekiwandiiko ekimukwatako.
Ono okumuyikira ngenjubi, alabiddwa ngagezaako okupakula pikipiki abadde okumpi awo mu kibuga.
Wabula poliisi erabudde ku bikolwa…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Luuka eriko omuvubuka owemyaka 14 gwekutte nga kigambibwa yafumise munne namutta olwa chapati.
Omukwate amannya ge agatatukiriziddwa kigamibwa yakidde mukwane gwe owemyaka 17 namutunga ebisso mu kifuba ebimusse, ngoluyombo lwavudde ku kiffo buli omu wabadde akayanira nokukolera nga basiika chapatti.
Bino bibadde mu Kabuga ke Kiyunga mu district ye Luuka.
Omwogezi wa…
Bya Moses Ndaye
Waliwo ekibinja kyabavubuka okuva mu Buvanjuba bwe gwanga abavuddeyo ku ntalo nokwerumaruma ebigenda mu maaso wakati wa Minister omubeezi owebye ttaka Persis Namugaza ne munne owebyamawulire nebyekikugu Aida Nantaba.
Bano abakulembeddwamu Denis Obita ne Ritah Namwenge bagamba Nantaba yaneneyzebwa kuba yaseesa mu ntalo zino.
Wano bawadde ba minister bano amagezi, bakulembeze kya kuwereza bantu ssi…
Bya Benjamin Jumbe
Olukungaana olwobumu olwa Solidarity Summit on Refugees, olwatudde okusala entotto ku katayabaga kababundabunda olubadde lubumbujjira wali e Munyonyo lwabuse akawungeezi akayise.
Ensimbi obukadde bwa dollar 352 nomusobyo zezasondeddwa ku buwumbi bwa dollar 2 ezetagibwa okuyamba ababundabunda, nga zigenda kukola ku nsonga zebyokulya ebyenjigiriza, ebyobulamu nebiralala okwetoola enkambi mu Uganda.
Mu kusooka ssabawandiisi wekibiina kyamawnga amagatte, Antonio…
Bya Shamim Nateebwa
Obumu nokwagalana byebisimbiddwako essira mu bubaka bwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 obwa Eid eri abayisiraamu.
Omutanda agambye nti okwagalana kyekusumuluzo kyobutebenkevu nemirembe mu gwanga lyaffe, kalenga ku Eid eno abayisiraamu bagwana okukyefumintirizaako era okukissa mu nkola.
Binoculars by ebimu ku bigambo ebiri mu bubaka bwa Ssabasajja obwakaba, ngategezezza ngabasiramu mu kiseera bwebolesezza obumu…