Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Entekateeka Z’amattikira ga’ Kabaka

Bya Magembe Ssabiiti Entekateeka z’okuza amatikira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 24 mu Ssazza lye Buwekula e Mubende omwezi guno zeyongedemu ebbugumu ngebiyitirirwa bitandise  okuzimbibwa. Ssentebe w’olukiiko olutesiteesi mu Ssazza lino Tonny Ssemmuli ngera ye mubaka wa munispaali eye Mubende ategezeezza ngomulimu gw’okumaliriza enyumba bwegugenda okujibwako engalo. Omwami owe Ssaza Luwekula Imaculate Nantaayi asabye abantu ba ssabasajja okwongera okuwaayo…

Read More

Aba Boda Boda Banazizza Munaabwe

Bya Ivan Ssenabulya Abagoba ba boda boda mu kibuga kye Mukono ku Bishop stage baliko munaabwe gwebanaziza oluvanyuma ngono bagamba abadde asukiridde obukyafu. Akulira eby'okwerinda ku stage eno Issa Kakande ategegezezza nti babadde bamaze omwaka mulamba nga begayirira Sebandeke Christopher omusajja omukulu owemyaka 37 okunaba n'okwoza nayenga balinga abasiwa ensaano ku mazzi. Ono bamugwiridde nebamunaaza nga bagamba abadde atandise nokubagobera abasabaze.

Read More

Besigye Ayozayoza Bobie Wine

Bya Ivan Ssenabulya Munna FDC, Dr.Kiiza Besigye ayogedde ku kulemererewa kwekibiina mu kalulu kenvunula bibya akakomekerezeddwa okujjuza ekiffo kyomubaka wa Kyadondo East mu palamenti. Eyesimbawo kubwa namunigina Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobie Wine yalangiriddwa ku buwanguzi ku bululu emitwalo 2,5000 owa  NRM William Sitenda naddako nobululu 4,552 awo owa FDC Apollo Kantinti nagoberera nobululu 1,832. Dr. Besigye…

Read More

Baryamureeba Tanakiriza

Bya Damalie Mukhaye Eyaliko omumyuka wa ssenukulu we ttendekero lye Makerere Prof Venansius Baryamureeba awakanyizza okulondebwa kwa Prof Barnabas Nawangwe ngomumyuka wa ssenukulu we Makerere omugya. Professor Baryamureeba, nga yoomu ku banatu 4 ababadde bavuganya, ategezezza nti alina obujulizi obumala ntio obukiiko obwabadde bulonda bwakoze kyekubiira, awatabadde mazima na bwenkanya. Olukiiko olwa Makerere University Council olunnaku olwe ggulo…

Read More

Abaana Abatasoma Bakwatiddwa

Bya Magembe Sabiiti Abatwala ebyenjigiriza mu South –Division mu munispaali eye Mubendenga bali wamu nabakulembeze abalala bakoze ekikwekweeto nebafuuza abaana abatasoma mwebakwatidde abaana abasoba mu 30. Mayor wa Division eno Beatress Kasigazi ategezeezza nga bwebakizuula nti abaana bangi tebasoma eky’ongedde ku bumenyi bwa mateeka mu kibuga. Abamu ku baana abakwatiddwa bategezeezza nga bazadde baabwe bwebafa nga tebaliko awerera kwekutandika…

Read More

Museveni Annenyezza Ekitongole Kyabamusiga Nsimbi Olwa ssukaali Okubaluuka

Bya Abubaker Kirunda Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni annenyezza okupaluuka kwemiwendo gya ssukaali mu gwanga ku kitongole kya Uganda Investment Authority, bagamba nti tebakoze mirimu gyabwe bulungi. Museveni agamba ekitongole kino ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi, abakitwala batekeddwa okutuula wansi na bonna abakwatibwako okumalawo embeera egenda mu maaso mu gwanga. Agambye nti ebbeyi ya ssukaali mu gwanga tetekeddwa…

Read More

Besigye Alayidde nti Olwaleero lwerusembye okweyanjula mu kooti

Bya Ruth Andera Munna FDC, eyawanika bendera yekibiina mu kulonda kwa bonna okwaggwa, Dr. Kiiza Besigye nate azeemu okulayira nga bwatagenda kudda mu kooti ye Nakawa gyeyewuubye olwemisango gyokulwa mu nsi ye olukwe egyamuggulwako. Nolunnaku olwaleero omuwaabi wa gavumenti, Caroline Opia ategezezza nti poliisi ekyanonyerereza police ku misango gye. Besigye oluwulidde bino nalangirira nti olwaleero lweriunnaku lwe olusembyeyo…

Read More

Bobie Wine agamba tagenda kwa’bulira Kuyimba olwebyo’bufuzi

Oluvanyuma lw’omuyimbi Bobi Wine amanya amatuufu, Robert Kyagulanyi okuwuuta akalulu ku ekifo ky’omubaka wa Kyaddondo East mu palamenti, abayimbi bagamba nti kino kigenda kubongera amaanyi. Akulira ekibiina ekigatta abayimbi nebannakatemba mu gwanga, Andrew Benon Kibuuka agamba kano kabonero akalaga nti abayimbi nabo basobola okuwa abantu esuubi kale ababadde babayeeya nti ba musomo gwalemwa ensi ye ssaawa…

Read More

Aba Shia Tebakuzizza Eid

Bya Abubaker Kirunda Abayisraamu abekiwayi kyaba-Shia tebakuzizza Eid olwaleero. Bano bagenda kusaala Eid olunaku olwe nkya ku Bbalaza ngennakuz zomwezi 26th. Amawulire agafulumizddwa akulira Ahuru-bite Foundation, Omar Bbongo okuva ku kitebbe Kyaba-Shia mu district ye Mayuge omwezi tegwalabise. Agambye nti bbo Eid bagenda kujikuza olunnaku lwe nkya ng'olwaleero lukomekereza ekisiibo nomwezi omutukuvu.

Read More

Omulangira Kassim Nakibinge ku Kye’kubiira mu Nsimbi za’bavubuka

Bya Sam Ssebuliba Jajja wobuyisiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu asabye okubunya entekateeka yensimbi zabavubuka ezokwekulakulanya nokulwanyisa ebbula lyemirimu awatali kyekubiira. Buno bwebubadde obubaka mu kukuza Eid wakati mu bagenyi abebitiibwa bakyazizza wali mu maka ge e Kibuli. Omulangira Kassim Nakibinge ategezezza nti waddenga kirungi, okuba nti government yataddewo obuwumbi 67 mu mbalirira yomwaka gwebyensimbi 2017/18, eri ensawo yabavubuka…

Read More