Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Omutanda e Kyaggwe kugye’Bika

Bya Ivan Ssenabulya Embeera ya Bbugumu mu ssaza lya Ssabasajja erye Kyaggwe, nga’baayo balindirira Omutanda, agenda okulabikako olwaleero luno mu kuggulawo empaka zebika bya Buganda, ku ggombolola ye Nakisunga. Engeeye egenda kwambalagana ne’Embogo. Embuutu zivuga, nagabantu bajudde ku makubo, wakati mu kulindirira. Ebiyitirirwa bizimbiddwa okuva mu Namanve, e Seeta, e Wantino nokutuuka ku Mbuga ye ggombolola e Nakisunga.

Read More

Omugenzi Kaudha ayogeddwako Nga’badde Ayagala Abaana Na’bavubuka

Bya Ivan Ssenabulya Abadde omubaka omukyala owa district ye Iganga mu palalemnti, Grace Hailat Kaudh ayogeddwako ngabadde omukozi ayagala ennyo abaana nabavubuka. Omugenzi ku myaka 30, alese omwana omu, nga yafiridde mu ddwaliro e Kawempe ku ttabi lye Mulago, oluvanyuma lwokufuna obuzibu ku lubuto lwabadde yetisse olwemyezi 5. Kankano abakungubazi beyiye ku ssomero lya Iganga Municipal Council P/S…

Read More

Abakulisitaayo Mulwanyise Enguzi

Bya Moses Ndaye Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda, The Most Reverend Stanley Ntagali asabye abakulistaayo okuyamb ku gavumenti okulwanyisa omuzze gwobuli bwenguzi mu gwanga, kyagamba nti enguzi yeremesa enkulakulana. Bwabadde awa obubaka bwe mu kuggulawo ekkanisa ya St. Francis Chapel eyaziddwa obugya ku kasozi kabayivu e, Ssabalabirizi ategezezza nti abantu 80% mu gwanga bakulisitaayo,…

Read More

Abavubuka Abayitako Emyaka Balabuddwa ku Nsimbi Ezokwekulakulanya

Bya Gertrude Mutyaba Minisita owabavubuka n’abaana Owek. Florence Nakiwala Kiyingi awadde abavubuka amagezi okulonkooma abo ab’erimbuka mu myaka gy’ekivubuka okwezza ebintu byabavubuka. Owek Nakiwala Kiyingi okwogera bino asinzidde Masaka bwabadde asisinkanye abakulembeze b’abavubuka okuva mu districts okubadde Sembabule, Kalangala, Kalungu ne Masaka okutema okuzza ensimbi za Youth livelihood Programme ezabaweebwa gavuenti okwekulakulanya. Agambye nti baliko entekaeeka gyebayiseemu nga…

Read More

Abo’ludda Oluvuganya Bateredde Gavumenti Akaka Olwokufa kw’omubaka we Iganga

Bya Ivan Ssenabulya Aboludda oluvuganya gavumenti mu palamenti bakungubagidde, abadde omubaka omukyala owa district ye Iganga omugenzi kati, Grace Hailat Kaudha. Khauda yafiridde mu ddwaliro e Kawempe ettabi lya Mulago, olunnaku lwe ggulo oluvanyuma lwokufuna ekimbe, ngabadde lubuto lwa myezi 5. Kati bwabadde ayogerako naffe, minister webyobulamu mu gavumenti eyekisikrize omubaka we ssaza lye Kapelebyong County, Julius Peter…

Read More

Owa 50 Yasobezza kuwe 14

Bya Malikih Fahd Poliisi e Lukaya mu district ye Kalungu eriko namukadde owemyaka  50 gwetasizza obutatibwa batuuze oluvanyuma lwokusobya ku mwana owemyaka 13. Okunonyereza kwa poliisi okusooka kulaga nti ono omusanga yaguzizza bazadde bomwana bwebabadde tebaliiwo nga bagenze mu nnimiro. Atwala poliisi ye Lukaya, Vianne Birungi akaksizza okukwatibwa kwono nategeeza nti okunonyererza kukyagenda mu maaso.  

Read More

Olutalo mu Kuziika Omugenzi Ssebaana Kizito

Bya Kyeyune Moses Wabaddewo vvaawo mpitewo mu kuziika eyali ssenkaggale wekibiina kya Democratic Party, omugenzi John Ssebaana Kizito mu Luwero. Okulwanagana kubadde wakati wabavubuka bekibiina kyabamusaayi mutto aba Uganda Young Democrats nabawagizi ba Lord mayor wa Kampala Erias Lukwago. Olutalo lubaluseewo, Erias Lukwago nomubaka omulonde owa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine bwebabadde bakatuuka mu…

Read More

Owo’mwaka Ogumu Afiridde mu Muliro

Bya Magembe Ssabiiti Poliisi e Mubende eliko omukazi gwekute lwakulagajalira mwana we namusibira mu nyumba nalekamu akataala ka munaku tadooba nagenda ewamuliranwa okunyumya ekivirideko omuliro okukwata enyumba omwana ono nafiramu. Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Lwabusaana mu gombolola ye Kiganda e Mubende mu kiro  ekikesezza olwaleero. Abatuuze balumirizza maama w’omwana ono Kyalimpa Juliet obulagajjavvu bweyagalidde omwana Namuyige Florence…

Read More

Abaali Bagenda Okuziika Omukulembeze we gwanga Bayimbuddwa

Bya Ivan Ssenabulya Police mu district ye Mbarara emaze neyimbula abavubuka 3 abakwatibwa nga bagezaako okwekalakaasa nekifananyi kyomulambo gwomukulembeze we gwanga, nga bawakanya ekyokujjawo ekkomo ku myaka gyomukulmbeze we gwanga. Bano ekitongole kya gavumenti ekiwaabi kyawabudde baggulweko omusango gwokujemera gavumenti. Muhumuza Max owemyaka 47, Rogers Asiimwe owemyaka 26 ne Albert Nangumya 20 ngono munnamawulire ku radio emu e…

Read More