Bya Damlie Mukhaye
Egye lye gwanga erya Uganda People’s Defence Force linyonyodde ku kulwawo okusasula abasirikae abasindikibwa u gwanga lya Somalia abasindiibw okukuuma amirembe.
Kino kidiridde, ebyafulumidde mu maluwilire, ebyalaze nti abamu ku bajaasi ba Uganda mu Somalia, tebanasasulwa nsako zaabwe mu budde.
Omwogezi wa UPDF, Richard Karemire ategezezza nti ssi bebasasula bajaasi bano, ngensimbi ziva mu mukago…
PALAMENTI
Bya Sam Ssebuliba
Okweyongera kwababaka ba nampa wengwa mu palamenti kitereddwa, ku gavumenti engeri gyezze egotanyamu nokunyigiriza abajivuganya gavumenti.
Mu kaseera kano ababaka 65 bebakiika mu palalmenti kubwa namunigina nga basing nabavuganya gavumenti abajira mu bibiina abali 51 bokka.
Kati okusinziira ku Godbar Tumushabe omutapusi webyobufuzi, gavumenti ekifudde kizibu nnyo omuntu okwesimbawo ngajidde mu kibiina ekivuganya, era bangi…
MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munispaali eye Mukono Betty Nambooze asabye gavumenti okufuula ekyo’buwaze abaana okusoma olulumi olwo’bubonero oba ‘’Sign Language’’ naddala mu bibiina ebisooka.
Nambooze abadde ku mukolo ogwatagekeddwa okumanyisa abantu ku bakiggala ogubadde mu bimuli bya Mayor e Mukono.
Abekibiina ekigatta abazadde abalina abaana bakiggala ekya National Association of Parents with Deaf Children, bebategese omukolo.
Bya Ritah Kemigisa
Abekibiina kya Rotary mu nsi yonna, bakusaawo ensawo okusonda ensimbi okujjukira pulezidenti wabwe mu nsi yonna Munna-Uganda abadde yakalondebwa, Sam Owori nga ono yafudde oluvanyuma lwokulongosebwa okuggulu mu America olunaku olwokuna.
Kino kikakasiddwa Pulezidenti wa Rotary Internatiola aliko gwabadde agenda okuddira mu bigere, Ian Riseley.
Omugenzi Owori mu mwaka gwa 2016 mu mwezi gwomunana yalondebwa…
KAMPALA
Bya Ritah Kemigisa
Police ya Uganda esambazze ebyafulumidde mu lupapula lwamwulire, ebyalaze nga Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura bweyaweze okukubaganya ebirowoozo nobuttaddamu kwogera ku kyokujja ekommo ku myaka gyo'mukulembeze we gwanga naddala mu matendekero aga waggulu.
Mu kiwandiiko ekifulumizidwa ssekamwa wa poliisi mu gwanga, Asan Kasingye bino babiwakanyizza nti tebyogeddwako.
Kasingye ategezezza nti ebyawandikidwa byonna bwabadde bulimba kuba…
KYAGGWE
Bya Ivan Ssenabulya
Abaana abobuwala bakubiriizddwa obutekumiranga mabega, wabula bafeeyo okuzuula ebitone byabwe ebinabatuusa waggulu.
Buno bwebubadde obubaka bwa Fredrick Musoke Mulamba, omwami wa Ssabasajja owe gombolola ya ya Mituba 9 e Goma mu Kyaggwe, wakati mu kwetegekera empaka zaba-Nalulungi, mu ssaza lino ezolunnaku olwe nkya wali e Mukono.
Aavumiridde endowooza eziri mu bantu nti empaka nga zino…
LUUKA
Bya Abubaker Kirunda
Musajja mukulu owemyaka 40 akwatiddwa nebamuggalira ku poliisi ye Luuka nga kigambibwa yakidde kawaala ke akemyaka 13 nakasobyako.
Omukate mutuuze ku kyalo Nawansega mu ggombolola ye Bukoma mu district ye Luuka.
Atwala poliisi yomu kitundu, Sarah Ambeta ategezezza nti Kaggwa ensonyi ono yalabirizza nga mukyala we agenze mu town okulaba abayimbi babadde baleese ebiddongo mu kitundu,…
NANSANA
Bya Shamim Nateebwa
Omuvubuka aludde nga'noonyezebwa poliisi ku musango gw’okubba obukadde 25 bamukwatidde Nansana mu bubbi bwenkoko.
Ronald Katurebe owemyaka 21 owe Nansana nga'kola gwa kutunda bikajjo e Mulago akwatiddwa poliisi y’e Nansana oluvannyuma lw’okumenya ekiyumba kya George Mayanja omutuuze w’e Nansana West zooni II mu disitulikiti y’e Wakiso n’abbamu enkoko ezisoba mu 20.
Mayanja nnannyini nkoko ategeezezza…
Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti esabiddwa okukola okunonyereza okwa namaddala ku biyitingana nti abekibiina kya Boda Boda 2010 tebatyobodde ddembe lya banaabwe basula ntebe omuli nebikolwa ebyokutulugunya.
Omulanga guno, gukubiddwa abalwanirizi be ddembe lyobuntu aba Foundation for Human rights Initiative.
Bino webijidde nga omubaka we Bunya East, Waira Kyewalabye Majegere yemuugunyizza ku nsonga yeemu nabaako byayanjulira palamenti ku mbeera…
KAMPALA
Bya Ruth Anderah
Okuwumiriza emisango kuyimiriziddwamu, okutandika no'lunnaku olwaleero nga'bakozi ba kooti batandise oluwummula lwabwe.
Okusinziira ku mwogezi we ssiga eddamuzi, Solomon Muyita abagenda okuwmmula kuliko abazzi kooti ento oba Magistrates ne kooti enkulu.
Bano bagenda kuwumulamu okumala omwezi mulamba, okuva olwaleero ngennaku zomwezi 15th okutuuka nga 15th omwezi ogujja.
Kitegezeddwa nti mu luwummula luno abalamuzi nabalala bagenda kuba,…
