Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Aba FDC Bajeemye Okutambulira mu Bus ya Poliis

LUGAZI-Mabira Bya Sam Ssebuliba Banna FDC abali eyo mu 59 bajeemye okutambulira mu Bus ya poliisi nebasalwo okutambuza ebigereokuva mu Mabira, kulwe Jinja nga bolekera Kampala. Bano bakwatidde okuva mu bitundu bye Gayaza, olunaku olwe ggulo nebabatwala e Nalufenya, wabula babadde bawereddwa okweyimirirwa nga babakomyawo e Kampala Bus ya Poliisi nefiira mu Mabira enfunda eziwerea kwejeema okuddamu obutaddamu…

Read More

Musisi Bakanyizza ne Hamis Kigundu

KAMPALA Bya Damalie Mukhaye Akulira emirimu gyekikugu mu Kampala, Jenipher Musisi atuuse ku kukukaanya nomugagga Hamis Kiguddu alina okukulakulanya ekibangirizi kya Park Yard, okuliyirira abasubuzi mu kaseera kano abakolera ku kizimbe kye. Bwabadde ayogerera mu lukiiko, olutudde ku Cityu Hall mu Kampala mukyala Musisi ategezezza nti kyandiridde abasbuzi abagobwa okwekubira ebduulu mu wofiisi ye nga bwebakolera mu mbeera…

Read More

Bannakyewa Basabye Presidenti Museveni Yesamule ebye Kkomo ku Myaka

KAMPALA Bya Sam Ssebuliba Ebibiina byobwanakyewa bisabye omukulembeze we gwanga, Yoweri K. Museveni nti ye ssaawa aveeyo yesamule ebiwulirrwa okutigatifga mu ssemateeka we gwanga, okujja ekkomo ku myaka egyomukulembeze we gwanga. Wiiki ewedde waliwo aakunzi bekibiina kya NRM abalaga obumalirivu okukunga banna-Uganda okuwagira ensonga eno. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire Dr. Livingston Ssewanyana akulira abalwanirizi be ddembe lyobuntu mu kibiia…

Read More

Ba Crime Preventer Bagamba Bebalekera zzi Poliis

MUKONO Bya Ivan Ssenabulya Abayambako poliisi okutangira obumenyi bwamateeka ku byalo mu district ye Mukono n’abakulembeze balaze okwemulugunya ku ngeri abasirikale gyebabakolamu emilimu gyabwe. Mu lukiiko olutudde ne DPC we Mukono, Rogers Sseguya gya ku poliisi ye Kyetume bategezezza nti abasirikale mu poliisi z’omubyalo tebakyabeera ku poliisi ng’emilimu gyonna kati bebagikola. Akulira ba crime preventers mu bitundu bye Koome Nalongo…

Read More

Omusirkale Yakubye Omwana wa Ssentebbe Amasasi Namutta

Bya Malikh Fahad Police ye Lugusulu mu district ye Sembabule etandise okunonyereza ku ngeri omusirikale wa poliis gyakubyemu omwana wa ssentebbe we ggombolola ye Lugusulu. Omugenzi ye Paul Tumukunde owemyaka 31, ngabadde mutuuze we Kigando nga mutabani we Fred Kalakule ssentebbe we ggombolola. Omusirkale Canani Nkamuhabwa kigambibwa, yakubye omusajja ono nga kigambibwa basoose kuba noluyombo mu bbaala. Omwogezi wa…

Read More

Poliisi e Masaka Ekubaganye Empawa

MASAKA Bya Gertrude Mutyaba Poliisi e Masaka nekubagana empawa n’omubaka atwala ekitundu kino ku kifo ekyategekeddwa okukuba olukungaana olw’okwebuuza ku bantu ku nongoosereza mu teeka ly’ettaka n’okukyusa ssemateeka ku kawaayiro 102 akokuggya ekkomo ku myaka. Ababaka ba Palamenti aboludda oluvuganya gavumenti n’ebibiina eby’obwanakyewa, basuubira okubeera e Masaka olwaleero okwebuuza ku bantu ekyatumiddwa Advocacy Forum against the proposed amendments. Lameck…

Read More

Ssente Zimpeddeko Okujja mu Kooti-Stellah Nyanzi

KOOTI Bya Ruth Anderah Omusomesa we Makerere, aterya ntama Dr. Stellah Nyanzi asabye kooti ya Buganda Road okulagira ssabawaabi wa gavumenti, era bakwatagane okutekawo olunnakun olwokuwulirirasko omusango gwe ogwa ogwokukozesa obubi computer navuma omukulembeze we gwanga. Agambye nti okukandalirira kwomusango guno, kumukosezza mu byensawo. Nyanzi alabiseeko mu maaso gomulamuzi James Ereemye wabula omuwaabi wa gavumenti, Jonathan Muwaganya ategezezza omulamuzi…

Read More

Kabafunzaki Azeemu Okwegaana

KAMAPALA Bya Ruth Anderah Eyali minister omubeezi owabakozi Hebert Kabafunzaki olwaleero alabiseeko mu kooti ewuliriza emisango, gyobukenuzi nate nayegaana, emisango egyamuggulwako egyokufuna ekyojamumiro ekyobukadde Shs5m okuva ku musiga nsimbi. Kabafunzaki, nomuyambi we Brian Mugabo ne Bruce Lubowa balabiseeko mu maaso gomuamuzi Margaret Tibulya okumanya omusango gwabwe wegutuuse. Wabula okuwlirira omusango tekugenze mu maaso, olwabwaabi ba gavumenti ababdde betaaga yo akadde…

Read More

Abazirwanako Babagumizza nti Bakusasulwa

Luweero Bya Sam Ssebuliba Government etegezeza nti embalirizza entekateeka, ngegenda kuliyirira abazirwanko bonna mu bitundu bye Luweero mu mwaka gwebyensimbi 2018/19. Gavumenti yalaze obweyamu bwayo ku nsonga eno, ngobuwumbi 30 bwebwatekedde mu mbalirira eri ministry yakanyigo ke Luweero. Minister omubeezi owakanyigo ke Luweero Denis Galabuzi ategezezza nti babadde balina ekizibu kyobufunda bwensawo wabulanga balabika bakigonjodde.

Read More

Bamusse Lwakutwala Bibanja Byabwe

MUBENDE Bya Magembe Sabiiti Poliisi ekakanya obujagalalo eyiriddwa mu gombolola ye Madudu mu disitulikiti ye Mubende okukakanya embeera, oluvanyuma lwabatuuze ku byalo 5 abatwalibwako ebibanja byabwe ne bisimbibwako emiti okuva mu mbeera nebakakana ku manager wa kampuni  yaba China esimba emiti mu kitundu, eya Quality-Parts nga ye Tumwine  Stephen nebamutematema ne bamutta. Poliisi ngekulembedwamu omuddumizi waayo, Byaluhanga Patrick nomubaka wa gavumenti…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play