Butambala
Bya Sadat Mbogo
Abantu batano (5) bebakakasidwa nti bafiridde mu kabenje nabala 9 banyiga biwundu nga bonna bawagizi bamupiira gamasaza.
Akabenje kano kaagudde mu kibira kye Seenene okulina ne town ye Kibibi ku luguudo lwe Mpigi-Gomba.
Okusinziira ku police bano babadde batambulira mu Taxi number UAZ 212D nga yabadde ekubyeko abawagizi be Ssaza lye Bulemeezi nga babadde bolekera…
MBARARA
Ekifananyi Kijiddwa mu Tterekero.
Poliisi ye Mbarara eriko omusajja owemyaka 37 gwegalidde nga kigambibwa yakidde mussajja munne namusiyaga.
Okusinziira ku poliisi, omukwate mubulizi wa njiri okuva mu kanisa ya Kiryaburo Church of Uganda, nga mutuuze mu ggombolola ye Rugaaga mu district ye Isingiro.
Kigambibwa ono yakidde Moses Ndyamuhaki eyabadde aleese omwana we mu ddwaliro okujanjabibwa namukwenyakwenya namusulika ennenge ku mpaka.
Omwogezi wa…
Bya Ivan Ssenabulya
Omutendesi wa tiimu ye gwanga Micho Sredojevic asazizaamu endagaano ye eyemyaka 3 nekitongole ekiddukanya omupiira mu gwanga ekya Federation of Uganda Football Association, ngagamba abadde ayisibwa bubi atenga akolera mu mbeera mbi, kalenga okuva no’lwaleero tagenda kuddamu kubeera mutendesi wa tiimu ya Uganda.
Micho yasooka nassa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri mu mwaka…
Bya Shamim Nateebwa ne Magembe Ssabiiti
Minister avunanyizibwa ku ntambula za Ssabasajja Kabaka Owek. Mariam Mayanja akakasizza nga Ssabasajja bwagenda okutuuka mu Ssaza lye elye Buweekula ku Sanday, mu gandaalo lya ssabiiti eno wakati we saawa 6-7 ezemisana.
Omutanda wakwanirizibwa ku mugga Nabakazi ku nsalo ye ssaza lye Singo ne Buweekula.
SSabasajja wakulambula omuti gwa Nakayima nga bwanyonyodde entekateeka…
MASAKA
Bya Sam Ssebuliba
E masaka police nate erabudde abawagizi b’omupiira ogw’amasaza okukuuma obukakama, beewale okutuusa kubanaabwe obulabe.
Bino bigidde mukadde nga empaka z’amasaza zituuse ku mutendera gw’oluzanya olwa quarter final, era nga enkya Mawokota yakweriga ne Budu mukisaawe kye masaka.
Twogedeko nayogerera police mu greater masaka Lamecka kigozi nagamba nti bakitegedeko nti abawagiziba buddu beera okukola obulabe kube…
Bya Ivan Ssenabulya
Abagoba bebidduka mu kibuga kye Mukono balazze okutya olwekibba namba puleeti zemotooka ekyeyongedde mu kitundu.
Okwemulugunya kuzze kweyongera mu bagoba be mmotoka, nga bgamba waliwo abababbako namba pulate, oluvanyuma nebabasaba ensimbi okuzbaddiza.
Bbosa Moses nga yoomu ku bakosedwa agambye yabbiddwako namba pulate ye mmotoka ye, wabula abakola kino tebamanyikiddwa wabula baleka wo ebibaluwa ebibatisatiisa nokubasaba ensimbi.
Kino bagamba…
MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
Ba kansala ku lwa district ye Mukono balumbye ekifo kyebagamba nti kyawambibwa okuva ku ttaka lye’kitebe kya district, nebatandika okujjayo ebizimbisibwa ebibadde byatereddwawo.
Ekifo kino kirinanye ekittebbe kya district ngakuliira eby’obulamu mu munisipaali eye Mukono Dr. Anthony Konde agamba nti yakiguula okuva ku bukulembeze obukadde obwali bukulemberwa Francis Lukooya, abakulembeze abaliwo kyebawakanya nti lino…
KYOTERA
Bya Malikh Fahad
Entiisa ebutikidde abatuuze be Kyotera omwana owemyaka 15 bwakubuiddwa amasanyalaze nafa.
Omugenzi aterekese nga Marvin Kateregga ngabadde asoma ekyokutaano ku ssomero lya Kyakuduse Primary school ku kyalo Kyotera mu district ye Kyotera.
Ssentebbe we kyalo Kyakuduse, Joseph Kayiwa omugenzi alinnye ku waaya yamasanyalaze ebadde ensusumbule, ebadd egatta amasanyalaze ku balilwana.
Kati ekitongole kyamasanyalaze ekya UMEME mu…
SSEMBABULE
Bya Malikh Fahad
Kooti yamagye eyatudde mu district ye Ssembaule, esindise omusirikale wa poliisi, Constable Canan Nkamuhabwa atugibwe ku kalabba olwokutta mutabani wa ssentebbe we ggombolola ye Lugusuulu mu ditsirct ye Ssembabule Paul Tumukunde owe’myaka 31, eyakubibwa amasasi mu bbaala ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.
Ate Private Abel Katsigazi mu lutuula lwa kooti yamagye lwerumu, olubadde olwenjawulo…
LUGOGO
Omutendesi wa tiimu ye gwanga, coach Micho Sredojevic munnnsi we gwanga lya Serbia, alangiridde nga bagenda okulekulira omulimu, ngasubiza nti agenda kutekayo ebbaluwa ye erekuira mu ssaawa 48.
Bino abyogedde akawungeezi akayise, oluvanyuma lwomupiira tiimu ye gwanga mwekubidde South Sudan goal 5-1 mu mpaka zokusunulamu abanetaba muza Chan omwak aogujja, omupiira ogubadde ku kisaawe kya Star Times e…
