JINJA
Bya Abubaker Kirunda
Ekifananyi Kijiddwa mu Bikadde
Waliwo omwana owe myaka 7 akubiddwa amasanyaraze n’afirawo mu district ye Jinja ku kyalo Wansimba mu gombolola ye Butagaya .
Omugenzi ategerekese nga Abdu Kyakulandaba mutabani wa Muhammad Kyakulandaba nga bano batuuze be Butagaya.
Ssentebe wa LC3 mu kitundu kino Abdallah Suta agamba nti omwana akubiddwa amasanyaraze nga kivudde ku masanyaraze agabadde…
MULAGO
Bya Shamim Ntaeebwa
Waliwo omukazi, ategerekese nga Anent Kalungi omutuuze we Buwaatte, ali ku kisituliro mu ddwaliro e Mulago anyiga biwundu oluvanyuma lwomwami we okumukaka omukwano.
Ono atagezezza nti ali mu bulumi, wabulanga omumwami we Johnson Musiime yeyakimutisizaako nga kati takyasobola kutambula.
Ategezezza nti guno si gwegwabadde omulundi ogusoose.
Ono takyasobola kutambula yadde okutul;a b aganzika muganzike.
Yye omusajja mu…
KAMPALA
Bya Moses Kyeyune
Abakwasisa abamateeka aba KCCA bagobye omutembeeyi nagwa wano mu mwala gwe Nakivubo nafa.
Omukazi ono atanaba kugerekeka, abadde atunda butambaala.
Kati oluvanyuma waliwo ekibinja kyabagoba ba boda-boda abazinzeeko ekitebbe kya KCCA, ku City Hall mu Kampala, nga bawakanye engeri eyobukambwe abakozi baabwe gyebayisaamu abantu.
Omulabo gwomuwala gujiddwayo aba Boda Boda nebagutwala ppaka ku kitebbe kya KCCA.
Wabula…
KAMULI
Bya Abubaker Kirunda
Police mu distrct ye Kamuli eriko omusajja owemyaka 50 gwegalidde, oluvanyuma lwokusalako mutabani we owemyaka 12, okugulu nekugwa wali.
James Kalema omutuuze we Gwase mu ggombomola ye Bugaya mu dustrct ye Buyende yakwatiddwa.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha akaksizza ngomukwate bweyasazeeko mutanai we David Mutekanga okugulu oluvanyuma lwakabenje keyafuna omwezi oguwedde songa…
NAMAYINGO
Bya Abubaker Kirunda
Omuntu omu yafudde omulalal nasigala nga talina kugulu, afuuse kongojjo bwebalumbiddwa ggoonya wali mu distrct ye Namayingo district.
Omugenzi aterekese nga Banabus Basobona songa Samuel Wesike, yeyalumiddwako okugulu.
Bano babdde baana ba Moses Ouma omutuuze we Lwanda mu ggombolola ye Buyinja mu distrct ye Namyingo.
Kigambibwa ggoonya yalumbye abaana, bano bwebabadde bakedde okukima amazzi ku Nyanja…
KITANTE-KAMPALA
Bya Benjamin Jumbe
Banansi be gwanga lya Rwanda abawangaliira mu Uganda baakedde kweyiwa ku kitebbe kye gwanga lyabwe mu Kampala, mu bungi, okulonda omukulembeze we gwanga.
Bano bakedde ku maliiri okulinda, okulonda kuggulwewo nga kankano kugenda mu maaso wali ku luguudo lwa Nakayima e Kitante.
Aba-Nyarwanda abali ebweru we gwanga bonna balonda olwaleero mu kulonda kwa bonna, songa…
KALANGALA
Bya Gertrude Mutyaba
Poliisi e Kalangala eriko abasajja bana begombyemu obwala ababadde bayimbya abavubi ku myalo endubaale nga babanyagako ebyabwe okuli amaato, engine, obutimba n’ebirala.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu masekati ga Uganda Lameck Kigozi, agamba nti abakwate babadde bakozesa emmundu gyebatanazuula nga kigambibwa nti abavubi ku myalo bazze beekubira enduulu mpaka abana bano webaakwatiddwa.
Abakwate kuliko…
KAMPALA
Bya Ruth Anderah
Eyali akulira omukutu gwa gavumenti ogwa mawulire ogwa Uganda Broadcasting Co-operation Paul Kihika avunaniddwa kooti ewuliriza abalyake nabakenuzi era nasindikibwa ku alimanda e Luzira bweyganye emisango gyokubulankanya ensimbi za gavumenti ekyaletawo okufirizibwa.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Mugisha lutegezezza nti wakati womwezi Ogwokutaano nogwomunaana mu mwaka gwa 2014, yakozesanga ekiffo ngakulira UBC nabulankanya dollar…
MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
Abaana be ssomero lya Nursery e Seeta babbiri bebafiridde mu kabenje, ekimotoka ki lukululana kwekiwabye nekiyingirira akasomero akali ku kkubo.
Omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Ssebambuliidde ategezezza nti ki lukululana kibadde kiyimiridde ku kubo, kyoka omugoba wakyo teyakitaddemu Handa Buleeki, nga kyetegudde nekitomera emmotoka noluvanyuma nekirumba essomero abaana ababadde bayingira nekibagoya.
Abaana abafudde kubadeko Joseph…
Bya Ndaye Moses
Abasabaze abadda mu Bugwanjuba bwe gwanga basobeddwa, wali mu paaka enkadde, oluvanyuma lwabagoba ba taxi okwediima nebawumuza emmotoka zaabwe.
Bano bawakanya ekyobukulembeze mmotoka zaabwe yonna gyeziyita okubasoloozanga omusolo ogwemitwalo 8 buli mwezi.
Bano bajibwako omusolo abobuyinza e Mukono, e Jinja, Iganga nawalala kyebagamba ntikubanyigiriza.
Kati akediimo ka bano kasanyalazza, ebyentambula, emirimu nebyobusubuzi mu paaka ya taxi…
