Bya Shamim Nateebwa ne Samule Ssebuliba
Ba nakazadde abayonsa basabiddwa okwewala ebiberalikriza, banywe nyo amazzi basobole okubeera namabeere agamala.
Obubaka buno buzze, nga Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza wiiki ennmaba eyokuyonsa etandise olwaleero enakomekerezebwa nga 8 omwezi guno.
Omusawo Catherine Nanozi, omukugu mu byendya ategezezza Dembe FM, nti okwerakirira nomutima okwewanika nobutanywa mazzi gamala kivirako amabeere…
MBUYA-KAMPALA
Bya Juliet Kigongo
Abatuuze be Mbuya abali mu 800 batutte ekitongole kya Kampala Capital City Authority mu mbuga zamateeka olwokubasenda, okuva webaali batudde ku ttaka lyekitongole kye ntambula ye ggaali yomukka ekya Uganda Railways Corporation Rift Valley kyebagamba nti kyakoebwa mu bukyamu.
Abatuuze bano abakulembeddwamu Ali Kiberu badukidde mu kooti enkulu ekola kubye ttaka nga bagamba…
LUWEERO
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti ento mu district ye Luweero Charles Sserubuga akirizza omubaka we Ruhinda okweyimirirwa, oluvanyuma lwokumala emyezi 2 mu kkomera.
Doziyo Kahonda okuteebwa amaze kuwaayo akakalu ka kooti ka mitwalo 50 ezitali za buliwo, songa 3 abamweyimiridde basabiddwa obukadde 5 nga tezibadde zabuliwo.
Kati ono alagiddwa okudda mu kooti nga September 14th 2017.
Kahonda avunanibwa…
LUGAZI
Bya Ivan Ssenabulya
Police ye Lugazi mu district ye Buikwe etegeezeza nga bwekutte musajja mukulu owemyaka 50 ngno musawo wakinnansi lwakusobya ku kawala akemyaka 15 ate nakattikka nolubuto.
Omukwate nga mutuuze ku kyalo Musibo , kigambibwa nti yakakana ku kawala kano akaali kasoma mu kibiina ekyokuna ngali ne muganda we nakakweknyakwenya okukajja ewaabwe nakaleeta mu maka ge…
MUBENDE
Bya Alex Tumuhimbise
Poliisi ye Kakumiro etandise okuyigga abantu abatanategerekeka abakakanye ku sentebe w’ekyalo Kadiki nebamukuba amayinja okukakana ng'afudde.
Omugenzi ategerekese nga Kamuseni Katule , ng'abatemu bamulumbye mu baala nebamukuba amayinja okutuusa lw’afudde
Ababadewo bagamba nti abatemu bano basoose kusinziira wala nebatanula okukanyuga amayinja ku baala, bweyafulumye nebamutabukira okukakana ng'afudde.
Ayogerera police mu kitundu kino Julius Hakiza agamye nti…
Kikasiddwa nga munna UPC eyaliko ssentebe w’ekibiina kino mu gwanga lyonna Meja Edward Rurangaranga afudde ku myaka egy’obukulu 85.
Musajja mukulu ono afiiride mu maka ge agasangibwa mu district ye Shema.
Okusinziira ku mukyala we Winifred Rurangaranga, muzeeyi abadde ne'birwadde ebiwera okuli pressure ne sukaali, nga mu kiro ekikesezza olwaleero embeera yatabuse, okukakana ng'afudde ku makya ga leero
Ebyafaayo birega nti…
APAC
Bya PATRICK EBONG
Poliisi mu district ye Apac eriko omusirikale gwetandise okuyigga, ngono kigambibwa yakidde muto we owemyaka 14 namufumita ebiso okutuuka okufa.
Walter Ejon owemyaka 32 kigambibw yafumise muto we, Emmanuel Adoko ekiffomu kifuba, nafa amangu ddala nga yakatusibwa ku ddwaliro lya Ayago health centre 2 mu ggombolola ye Akokoro.
Ekyatakudde ettemu lino, ye mukyala womusirikale wa…
Bya Damalie Mukhaye
Poliisi ekakasizza nti abantu 6 bebafiridde mu kabenja, ddekabusa akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Taxi Number UAF 223/N eyambalaganye nekimotoka ekyettisi FUSO UDI 191.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu tundutndu erya Katonga, Philip Mukasa, akabenje kano kavudde ku kuvugisa kimama.
Kati taxi ebadde eva Mpigi songa Fuso ebadde eyolekera Masaka ngeva…
Bya Sam Ssebuliba ne Ivan Ssenabulya
Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 aliko akaama kakubye abasajja, okwetaba mu lutalo lwokulwanyisa akawuka ka mukenenya mu Buganda ne Uganda awamu.
Omutanda yeyama okubeera omubaka, wekibiina kyamawanga amagatte mu lutalo lwa siriimu.
Omuteregga abadde ayogerako eri Obuganda ku mattikira ge agomulundi ogwa 24th mu ssaza lye erye Buwekula.
Ategezezza…
Obulumbaganyi obwamanyi bukoleddwa ku magye ga UPDF agali wansi womukago gwa AMISOM abajaasi 12 nbafa, songa 7 kati banyiga biwundu.
Ekibinj ekyalumbiddwa kyekya battle group 22, wansi wa abatalin ey’omuisanvu era nga ekiwandiiko kyetufunye okuva mu maggye ge gwanga wano mu uganda kiraga nti abalumddwa babade Mu Company -mukubala okwangu nga bano bali wakaati wa 80–250 .
Tutegeededdwa…
