KAMPALA
Bya Ruth Anderah
Abalamuzi nabo bavuddeyo nebawa gavumenti salesale wa mwezi gumu, okutuuka ngennaku zomwezi 23 omwezi ogujja ogwomunaana okuba nga babangozza emisaala nga baweze nga bwebagenda okussa wansi ebikola.
Bino bitukiddwako mu lukiiko lwabalamuzi olwawamu olutudde akawungeezi akayise.
Abalamuzi mu kibiina kyabwe ekibagatta ekya Uganda Judicial officers Association batudde ku kooti enkulu mu Kampala nebasalawo bwebati, obutesalamu.
Bano…
KAMPALA
Bya Ivan Ssenabulya
Aba Boda Boda 4 bebakwatiddwa poliisi mu lutalo olwabaddewo olunaku olwe ggulo wali e Wakaliga, oluvanyuma lwebiwayi ebiri ebitalima kambugu ekya Boda Boda 2010 nekya Cenurty okwegwa mu bulago.
Poliisi yategezezza nti aba 2010 bebalumbye aba Century, nebabulonda mu lutalo kafumuula nkete kyenkana olwakulungudde olunnaku lulamba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Emilian Kayima akaksizza…
SSEMBABULE
Ivan Ssenabulya
Kooti yamagye etude emisana ga leero mu lutuula olwenjawulo ku kitebbe kya district ye sembabule okuwozesa abajaasi bassatu abakwatiddwa ku byekuusa ku ttemu omwafiridde mutabani wa ssentebbe we ggombolola ye Lugusuulu eyakubiddwa amasasi agamusse.
Kigambibwa constable Canan Nkamuhebwa, yakidde Paul Tumukunde namukuba amasasai agamusse bwebafunye obutakanya mu bbaala.
Ono avunaniddwa gwa butemu ate Lass corporal Johnson Abasa ne Private…
MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
Palamenti yayimirizza ebyokumenya amadduuka agali mu kkubo kulwe Jinja, nokusengula paaka ye Mukono, okusobola okugaziya enkulungu egatta oluguudo lwe Kayunga nolwe Jinja.
Kino kyadiridde omubaka wa muniapaali eye Mukono, Betty Nambooze nabumu ku basubuzi okwekubira enduulu eri palamenti nga bagamba nti entekateeka eno erina ebikusikiddwa nebigendererwa ebya'bakulembeze ngabantu okwegaggawaza.
Kati mayor wa munispaali eye Mukono…
MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
Emisango emijweteke abebyokwerinda bategezezza nga bwejeyongedde ennyo.
Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango ku poliisi ye Mukono Batasi Ibrahim ategezezza nti abantu bangi abeyongedde abalimba nokuwayiriza bannaabwe n’addala mu misango ttaka.
Batasi abadde ayogerako eri abatuuze e Kyetume ku mbeera yobumenyi bwamateeka mu kitundu, nagamba nti abamu baleeta nobujjulizi obw’obulimba nekigendererwa okusibya abamu songa tebalina musango.
Alabudde…
WAKALIGA
Bya Ivan Ssenabulya
Wabaddewo okulwanagana mu biwayi byaba Boda Boda wakati wa Boda Boda 2010 naba Century, wali e Wakaliga, nga poliisi eyitiddwa bukubirire okutaasa embeera.
Bano bekubye emiggo egitagambika, okutuusa poliisi lwebaguddemu nebabuna emiwabo, nga amasasi gakubiddwa mu bbanga okubagumbulula.
Kitegezeddwa nti abekiwayi kya Cebutury bakede, nga balina entekateeka okulayiza abakulembeze baabwe, wabula poliisi nebagaana okukungaana kuba…
MULAGO
Bya Shamim Nateebwa
Eddwaliro lya kokolo erya Uganda Cancer institute lyolekedde okutandika okukyusa obusomyo u magumba eri abalwadde ba kokolo owomu magumba oba Leukemia.
Kitegezeddwa nti ngomwaka guno tegunagwako kino kijja kuba kisoboka.
Akulira eddwaliro lino, Dr. Jackson Orem ategezezza bannamwulire nti kino ijja kuba kisoboka.
Okusinziira ku Dr. Henry Ddungu akuliddemu entekateeka eno, bakola bukyubirire omwaka 2017 wegunatukira…
MULAGO
Bya Shahim Nateebwa
Ekyuma ekijanjaba kokolo kisubirwa okutuuka ku mwalo e Mombasa sabiiti ejja ngennaku zomwezi 28th omwezi guno.
Kino kyadirira ekyuma Uganda kyokka kyeyalina okufa, ekyogezza abantu ebigambo nabalwadde ba kokolo okubutabutana okumala ebbanga.
Okusinziira ku akulira eddwaliro lya Uganda Cancer Institute e Mulago, Doctor Jackson Orem, ekyuma kino kyakujja mu bitundutundu.
Ekitundu ekimu kigenda kutekebwa ku nonyi…
MENGO
Bya Shamim Nateebwa
Kamalabyonna wa Buganda owek. Charles Petere Mayiga alangiridde entekateeka, obwakabaka okuwandiika ku byonna ebikwata ku bika byabaganda 52, bisobole okusomwako nabalijja okubaako byebamanya.
Bweyabaddea ayogerako eri abawandiisi, mu mwoleso gwa Buganda ogwabawandiis nabakubi bebitabo ogusookedde ddala e Bulange-Mengo, Kattikiro yategezezza nti tebatudde waliwo ebikolebwa okukuuma ebyafaayo obuwangwa ne nonno obutazaawa, wakiri bisigale mu buwandiike…
MASAKA
Bya Gertrude Mutyaba
Ababaka ba Palamenti ku ludda oluvuganya gavumenti basabye abantu babulijjo, okulwana ennyo okukakasa nti ssemateeka we gwanga takwatibwamu.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Winnie Kizza basinzidde Masaka mu lukungaana lwabwe olwasoose nga bebuuza ku bantu ku nnongosereza mu ssemateeka we gwanga.
Kiiza asabye abatuuze b’e Masaka okusabira ennyo abavuddeyo okulwanirira consititution…
