KAMPALA
Bya Damalie Mukhaye
Police mu masekati ga Kampala eriko abavubuka 2 begalidde, bwebasangiddwa nga bookya emipiira ne T-Shirt za president Museveni nga bekalakaasa okuwakanya, ennongosereza eziwulirwa mu ssemateeka okujjayo ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Abakwate bebamu ku bavubuka abekiwayi kya Jobless brotherhood, nga babadde bekaaliisa awo ku Mutsasa Kafeero ne T-shirt eza kyenvu okuli ebifananyi bya…
KAMPALA
Bya Rita Kemigisa
Abekibiina kya Democratic Party nabo balangiridde nti bakutongoza kawefube mungeri yokulabula, gwebatuumye Kogitwatako ku Lwokuna lwa wiiki eno nga bawakanya ebiwulirwa okutigatiga ssemateeka we gwanga akawayiro ake 102(b) okujjawo ekkomo ku myaka gyokulembeze we gwanga.
Mu lukungaana lwabanamawulire olutudde ku kitebbekyekibiina mu Kampala, akolanga ssabwandiisi wa DP Gerald Siranda agambye ti kino kigendereddwamu okubeera…
Bya Kyeyune Moses
Omubaka wa Kyadondo East omugya, Robert Kagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ayanukudde omukulembeze we gwanga, Yoweri Museveni eyayogedde ku kulonda kwabwe okwali okwe bbugumu okujuza ekifo kyomubaka kino, mu palamenti.
Kyagulanyi aliko ekiwandiiko kyafulumizza ekyebigambo 2,128 mwatadde obubaka bwe ngayanukula President Museveni gwagambye nti alemereddwa okumanya ebizibu bye gwanga oluvanyuma lwemyaka 30…
MULAGO
Bya Shamim Nateebwa
Omusajja alumyeko munne okutu nga balwanira omukyala.
Mathias Ssempijja 28, akolera ku siteegi ya Kamuli mu Kireka, yalumyeko Stewart Kiyingi okutu ng’amuteebereza okwagala muganzi we bwebabdde mu bbaala ku luguudo lw’e Kamuli e Kireka.
Okusinziira ku Ssempijja, baasoose kulwana buli omu n’akuba munne ebikonde n’oluvannyuma Ssempijja n’abuuka n’alumako okutu.
Wabula Kiyingi agamba nti Ssempijja abadde aludde…
KIBANDA
Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda mu kibiina kya NRM Dr. Tanga Odoi yazimudde ekiragiro kya kooti enkulu eyalagidde okuyimirizza okulonda kwakamyufu ku kifo kyomubaka we ssaza lye Kibanda mu district ye Kiryandongo.
Kooti enkulu e Masindi olunaku Olwo'kutaana yalagidde okulonda okwakamyufu mu kibiina kya NRM kuyimirizibwe oluvanyuma lwomu ku bavuganya ku kifo mu NRM, Sam Otada okudukira mu kooti…
Bya Ivan Ssenabulya
Munna-Uganda omuddusi wemisinde gyabaliko obulemu, eyawangula omudaali gwa silver mu mpaka za Rio Paralympics ezomwaka gwa 2016, David Emong nate awangudde omudaali gwa Gold mu misinde gya T46 mita 1500 mu mpaka za World Para Athletics Championship 2017 mu kibuga London mu gwanga lya Bungereza amakya ga leero.
Emong addukidde eddakiika 3:58:36 okuwangula Samir…
Bya Moses Ndaye
Waliwo ebibiina byobwanakyewa 12 ebivuddeyo okusaba palamenti okuddamu okwkennneya ebbago, erikwata ku birime ebikolerere erya Biotechnology and Biosafety Bill eryomwaka 2012 nga terinayisibwa.
Ku bannakyewa bano kuliko, Action Aid-Uganda, Food Rights Alliance Caritas-Uganda nebiralala nga bgamba abalimi balina okusooka okubebuzaako ku nsonga eno, ngetteeka lino erikyali mu bubage terinayisibwa okufuuka etteeka.
Akulira ebyokukunga abantu mu…
LYANTONDE
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Lyantonde etandise okunonyererza kungeri, omusajja gyeyaseemu mukazi we naye oluvanyuma neyetta.
Entiisa eno ebadde ku kyalo Kilyamenvu mu ggombolola ye Mpumudde mu district ye Lyantonde.
Muhammad Kibaati owemyaka 50, omutuuze we Kilyamenvu kigambibwa yetuze oluvanyuma lwokutta mukyala we Dorcus Mbabaazi owemyaka 48, olwensoga ezitanaba kutegerekeka.
Omusajja yasangiddwa ngalengejjera ku muguwa ku mutti,…
LWENGO
Bya Sam Ssebuliba
Abantu 4 batokookedde mu kabenje ka motoka, tax ne Toyota Premio bwezambalaganye bwenyi ku bwenyi ku luguudop oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Nkalwe mu district ye Lwengo, tax namba UAW 361/S ebadde edda e Kosoro bweyingiridde Premio namba UAY 613/J abantu 4 nebafirawo.
Omogezi wa poliisi mu bitundu bya Masaka Lameck…
Bya Ivan Ssenabulya
Ngegwanga nensi awamu bikyagenda mu maaso okukungubagira Presidenti wa Rotary International omulonde, munna-Uganda, Sam Owori eyafiridde mu gwanga lya America, ngalongosebwa okugulu, kati banna-Rotary bajjukiziddwa okutwala ekyokulabirako kye.
Munna-Rotar Kagimu Fred, nga ye mayor wa munispaali eye Mukono ategezezza nti ekiseera kyekino okulowooza ku bantu abayinza okumuddira mu bigere naddala okuva wano mu Uganda.
Ono…
