MUBENDE
Bya Magembe Sabiiti
Abatuuze ku kyalo Katabalanga mu south Division mu kibuga kye Mubende bagudemu ekyekango taata bwakakanye ku muwala we Nalumbugwe Florence ow’emyaka 6 namusalako omutwe nga kigamibwa yasoose kumusobyako.
Kimera Anatoli owemyaka 35 kigambibwa yakakanye ku muwala we abadde omuyizi ku somero lya Katabalanga C/U P/S namusalako omutwe.
Maama w’omwana ono Tebasulwa Jane ategezeeza nga bwaludde nga yayawukana nomusajja oluvanyuma…
KIBUKU
Bya Abubaker Kirunda
Mu district ye Kibuku police ekutte taata owemyaka 27-lwabigambibwa nti yakutte muwala we owe'myaka 2 gyokka namusobyako.
Ayogerera police ye Bukedi Sowali Kamulya agambye nt omusajja ono mulimi, e Tirinyi mu gombolola ye Tirinyi.
Police egamba nti omusajja ono ye nemuganzi we Halima Nabatanzi bagenze okunywamu mu budde bwakawungezi, kyokka omusajja natoloka nadda ewaka okukakana…
LUWERO
Bya Sam Ssebuliba
Ministry yebyobulamu evudeyo newakanya ebigambibwa nti waliwo omuntu omulwadde wa Ebola eyazulibwa mu kitundu kye Luweero gy’ebuvudeko.
Kinajukirwa nti ngennaku zomwezi 7th guno waliwo omukyala eyafa e Luweero wabula ngobubonero bwonna bulaga nti yaffa kirwadde kino kya Ebola ekyaletera abantu okwerarikira.
Ayogerera ministry Vivian Sserwanja agambye nti okunonyereza okwavudde mu Uganda Virus Research Institute, ekkebejjezo lya…
KENYA
Bya Ivan Ssenabulya
Abavuganya gavumenti ye gwanga lya Kenya mu mukago gwa NASA, bafulumizza ebyebwe okuva mu kulonda kwa bonna, nga berangiridde nga bwebali waggulu nga balyeebya no’bululu obukade 8 songa owa Jubilee, omukulembeze we gwanga Uhuru Kinyata yali mu kifo ekyobiri nobululu obukadde obuli mu 7.
Bano akawungeezi kano batuzizza bannamawulire, Musa Mudavadi, omu ku banna-mukago…
Bya Ruth Anderah
Abakwasisa amateeka aba KCCA 4, abagabibwa nti bebagoba omutembeeyi natuuka okugwa mu mwala gwe Nakivubo nafa, avunaniddwa mu kooti mu maaso gomulamuzi we Nakawa.
Bano kuliko, Tito Kagiri, Eria Wasswa, Moses Tebyasa ne Faruk Mpiima nga baleteddwa mu maaso gomulamuzi Lillian Buchana.
Basomeddwa omusango gwa kutta Muntu mu butali bugenderervu, wabula omusango nebagwegaana.
Bano kigambibwa nti…
MAYUGE
Bya Abubaker Kirunda
Waliwo omusajja wa myaka 43 afiride mu kirombe ky’omusenyu, nga kino kidiriidde omusenyu okumubutikira.
Omugenzi etegerekese nga Waiswa Musindike omutuuze we Butte mu gombolola ye Baitambogwe
Abdallah Nasser Mulimira akola ku kunonyereza ku buzzi bwe'misango mu distrct ye Mayuge agambye nti musajja mukulu ono yafudde kiziyiro, bwebabadde bagezaako okumutaasa.
KENYA
Bya Sam Ssebuliba
Eyali Ssabawandiisi we gwanga lya America John Kerry, mutaka mu gwanga lya Kenya, ngono yoomu ku bakalondoozi bebyokulonda abali mu gwanga lino.
Ono yeyakulembeddemu ba kalondoozi bebyokulonda mu mukago gwa Carter.
Ono abadde ayogerako ne bannamwulire emisana ga leero, wabula asabye bonna abesimbyewo okuboberera amateeka.
Ate ba kalabalaba bebyokulonda abalala mu gwanga lya Kenya mu mukago…
MENGO
Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 kikakasidwa nga bwagenda okulabikako eri obuganda, bwanaaba aggulawo olukiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 25 ku balaza ya Ssabiiiti eggya.
Kino kikakasiddwa omukubiriza wolukiiko lwa Buganda Owek. Nelson Kawalya, ngono ategeezeza nti olukiiko luno lw’a nkizo nnyo kubanga waliwo abantu ssabasajja bagenda okuggonnomolako obwami, songa nababaka…
KAMPALA
Bya Damalie Mukhaye
Aba KCCA abakwasisa amateeka nga bawamba ebintu by'abasuubuzi gyebuvuddeko.
Ekitongole kya Kampala capital city authority kitegeezeza nga bwekijuludde abakwasisa amateeka bonna ababde ku nguudo za kampala, ngabamba nti batidde okutusibwako obulabe.
Bano okuvaayo kidiridde eneeyisa ya'bantu bano okuvaako emitawaana, nga bano baatuuse n’okugoba omukyala omutembeeyi okukakana ngaguddde mu mwala naafa
Omwofezi wekitongole kya KCCA Peter Kauju…
MASAKA
Bya Gertrude Mutyaba
Waliwo emmotoka ya poliisi number UP-2583 ngebadde eva Kyotera okudda e Mutukula etomedde omuntu n’emuttirawo mbulaga nga kati eyabadde ajivuga ali mu kunoonyerezebwako.
Omwogezi wa poliisi mu bendo-bendo lya Masaka Lameck Kigozi ategeezezza ng’omusirikale wabwe amanyiddwa nga Rajab Kwakwiyise bweyatomedde Lawrence Siima myaka 54 nga yabadde mutuuze w’e Siima, gombolola ye Kabira mu district ye Kyotera ngono yabadde…
