POLICE
Bya Benjamin Jumbe
Police esabye abakulembeze mu district ye Wakiso okujiyambako ku basawo be'kinnansi bebagamba nti bebavirideko ebikwola ebyekisadaaka bantu okweyongera.
Police okuvaayo kidiridde etemu mu kitundu okweyongera, ng'abantu bangi abazze batibwa nadala e Nansana ne'walala.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Emilian Kayima agambye nti abantu bangi bazze battibwa, kalega mu kaseera kano betaaga obuyambi bwabasawo bekinnansi…
MASAKA
Bya Gertrued Mutyaba
Police e Masaka ekutte n’eggalira omusajja abadde yeyita muganda w’omugenzi Andrew Felix Kaweesi eranga yeyita amyuka addumira poliisi mu greater Masaka nabba abantu.
Omukwate ye Mubarak Munyagwa Muchunguzi owemyaka 29 nga mutuuze wa Kayirikiti mu gombolola ya Nyendo-Ssenyange mu Municipaali ye Masaka.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu greater Masaka Lameck Kigozi, Omukwate abadde atiisatiisa…
CITY HALL
Bya Ruth Anderah
Makanika wamazzi oba plumber avunaniddwa era nasindikibwa ku alimanda e Luzira.
Musa Matovu owemyaka 28 omutuuze we Kyebando mu divisone ye Kawempe, avuiunaniddwa okubba obutole bwassabbuuni 4, obucupa bwa ssabbuuni ekika kya Dettol owamazzi 4, nobukebe bweddagala lyengatto erya Kiwi 4, okuva mu supermarket.
Ono avunaniddwa mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku City-Hall…
LIRA
BYA BILL OKETCH
Omubaka owa munisipaali eye Lira munna UPC, Jimmy Akena Obote agudde mu kiswalo olwaleero bwebamungodde wali ku ttendekero lya Uganda Technical College, mu kibuga ekye Lira ababaka ba palamenti abava mu kitundu kye Lango bwebabadde batudde, okufuna endowooza zabantu nokubojiwaza ku nnongosererza mu ssemateeka we gwanga ezayanjulwa ezomwaka 2017.
Eyaliko kansala mu lukiiko lwa…
MENGO
Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 akangudde ku ddoboozi ku nsonga z’etteeka ly’etaka, government mweyagalira okwezza ettaka lyabantu mu buwaze nga tesoose n’akubaliyrira.
Bwabadde agulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 25, ssabasajja agambye nti ensonga z’ettaka mu Buganda za nkizo nnyo, nga yenna ayagala okubaako kyakolera ku ttaka agwana okusooka okutuuka ku…
Bya Emma Ssemambo
Police etegeezeza bwegenda okutandika okuwa obukuumu eri abakozi ba KCCA abakwasisa amateeka, nga kidiridde KCCA okutegeeza nti bano bagenda kujibwa ku nguudo olwokutya obulebe bubadde buyinza okubatusibwako.
Kati minister wa Kampala omukyala Betty Kamya asisinkanyemu adumira police ya Kampala ne’miriraano Frank Mwesigwa nebakaanya nti police yakukolera wamu nabakwasisa amateeka.
Kati minister wa Kampala Betty Kamya…
WANDEGEYA
Bya Shamim Nateebwa
Waliwo omukazi kalittima eyakwatiddwa poliisi y'e Wandegeya ngakyaggaliddwa oluvannyuma lw'okwokya omwana wa muganda we akaveera lwa kubba nnusu 1000/-
Specioza Nabuuma yakwatiddwa n'aggalirwa lwa kwokya Carol Nabaweesi owemyaka 10 gyokka.
Kino kidiridde abasomesa ba Nabaweesi okumulaba n'amabwa ku bitundu byomubiri bwebamubuuzizza kye yabadde kwekubagamba nti nnyina yamwokezza.
BUYENDE
Bya Abubker Kirunda
Police mu dstrict ye Buyende eriko omusajja owemyaka 35 gwegalidde, nga kigambibwa yagezezaako okutta mukyala we.
Omukwate mutuuze we Kiwaba mu ggombolola ye Nkondo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha ategezezza nti omukwat yakozesezza ejjambiya natandika okusala mukyala we Esther Namugere owemyaka 27 ne mulamu we Florence Asio nga byonna byekuusa ku butabanguko…
BUYENDE
Bya Abubaker Kirunda
Mu Busoga waliwo omusajja owemyaka 35 akwatidwa poliisi e Buyende nga kigambibwa nti yatulugunyizza omwana we gweyezalira owemyaka 5.
Omukwate etegerekese nga Wilson Kozala omutuuze we Ikamya mu gombolola ye Kidera.
Steven Kidalali nga ye ssentebe we kyalo agambye nti omusajja ono yayokezza omwana mu face yonna, nengalo ng’amulanga kubba nva ezebijanjaalo
Mu kaseera kano ono…
MENGO
Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde Augustine Kizito Mutumba nga Namwama omutaka omuggya ow'ekika kye Kkobe.
Bwabadde alangirira Namwama omugya, Katikkiro Owek. Charles Peter Mayiga asabye abe Kkobe okuwandiika ebyafaayo by'ekika kyabwe bisobole okubeerawo ebbanga lyonna nokubijulizangako.
Owembuga era asabye bazzukulu ba Namwama okubeera obumu okutwala ekika kyabwe mu maaso.
Olunaku lw'enkya Nnamwama omuggya lwagenda okutuuzibwa ku bukulu…
