Amawulire
Abantu 2 bafudde Ebola mu disitulikiti y’e Kassanda
Bya Mike Sebalu, Mu disitulikiti y’e Kassanda abakulembeze bali mu kasattiro abantu 2 bwebafudde n’omulala naddusibwa mu dwaliro e Mubende nga biwala ttaka nga kigambibwa bano basangiddwa n’obubonero obw’ekilwadde kya Ebola. Ssentebe wa district Fred Kasirye Zzimula atubuulidde nti bino bigudde ku kyaalo Kalama mu […]
Abobuyinza e Kassanda bagala kuteekawo kaafyu mu kwerinda Ebola
Bya Mike Sebalu, Abakulembeze mu Disitulikiti y’e Kassanda batandise okulowoozezza kukyokussaawo kaafyu okukendeeza ku ntambula y’abantu okuva mu disitulikiti y’e Mubende ewagudde olunabe lwe Ebola okuyingira Kassanda. Okusinzira ku Ssentebe wa disitulikiti ye Kasanda abantu bangi ababadde bava e Mubende okudda e Kassanda okwengiyira mu […]
Uganda erina obusobozi okulwanyisa Ebola-Abakugu bogedde
Bya Prossy Kisakye, Abakugu mu by’obulamu balina bakkakafu nti ekirwadde kya Ebola ekyalumbye eggwanga tekijja kukosa bantu bangi ng’ekyasooka. Okusinzira kwátwala ettendekero lya basawo ku university e Makerere, Prof. Damali Nakanjako okusinziira ku kunoonyereza okuliwo Uganda kati eri mu mbeera nnungi okukwata ekirwadde kino singa […]
Omuwendo gwábalina Ebola gutuuse ku bantu 7
Bya Nalwooga, Omuwendo gw’abantu abakakasibwa nti balina obulwadde bwa Ebola kati gulinnye okutuuka ku 7. Bino bitegeezeddwa Dr Henry Bbosa akwasaganya obulwadde bwa Ebola mu minisitule y’ebyobulamu mu lukung’aana lw’eby’ekikugu. Agamba nti n’okutuusa kati abakugu mu byobulamu, nga bakolagana n’abakugu mu ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna […]
Omuntu omulala afudde Ebola e Mubende
Bya Barbara Nalweyiso, Disitulikiti y’e Mubende ekakasiza nga bwe waliwo omuntu omulala afudde ekirwadde kya Ebola. Ono ye muntu owokubiri okufa bukya kitrwadde kyalangiriddwa olunaku lweggulo. Akulira eddwaliro ly’e Mubende, Paul Batiibwe ategeezezza nti omugenzi mutuuze w’e Ngabano mu gombolola ye Madudu e Mubende. Ono […]
Abakulu bamasomero balinze kulungamizibwa ku kirwadde kye Ebola
Bya Damali Mukhaye ne Prossy Kisakye, Abakulu bamassomero okwetoloola eggwanga bagamba nti balinze kufuna kuwabulwa okuva eri minisitule eye byobulamu kukyebalina okukola okulaba nti abayizi bakuumibwa okuva eri ekirwadde kye Ebola ekyabaluseewo mu ggwanga. Minisitule y’ebyobulamu eggulo yakakasizza mu butongole okubalukawo kw’ekirwadde kya Ebola mu […]
Mao asabye Museveni okunonya ebisigalira bya Benedicto Kiwanuka
Bya Ruth Anderah, Minisita w’ebyamateeka eranga ye pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party (DP) Nobert Mao azzeemu okusaba gavumenti okunoonya ebisigalira by’omugenzi eyaliko Ssaabalamuzi weggwanga lino Benedicto Kiwanuka. Omugenzi Kiwanuka eyaliko omukulembeze wa DP era nga ye Ssaabalamuzi wa Uganda eyasooka mu 1972, abajaasi […]
Abakulu bamasomero e Bukedea balagidde abayizi okudda eka lwa mataba
Bya George Emuron, Abakulira amasomero mugombololaye Kamutur mu disitulikiti ye Bukedea, balagidde abayizi okudda eka oluvanyuma lwa mataba okwanjalira mu bibiina nga nentindo kwebabadde bayita okutuuka ku masomero zasanyiziddwawo amataba. Amasomero agakosebwa kuliko, Acomai primary school, Tajar primary school, Akakaat primary school ne Aerere primary […]
Omubaka Ssewungu awakanyiza ebyobusasuza abazadde sente zámata gábayizi
Bya Prossy Kisakye, Omubaka wa Kalungu west, Joseph Ssewungu asabye minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, annyonnyole palamenti ensonga lwaki abazadde babakaka okusasula amata gaweebwe abaana baabwe ku massomero. Kino kiddiridde gavumenti okusalawo nti enteekateeka y’okuwa abayizi amata kubuwaze etandika n’’ettaamu eno mu masomero aga gavumenti ez’ebitundu 13 […]
Banauganda beekalakaasiza lwa Bazungu kweyingiza munsonga zókusima amafuta
Bya Mike Sebalu, Waliwo ekibinja kya banna Uganda ababitaddemu engatto neboolekera Parliament n’ekiwandiiko ekivumilira ebikorwa by’abasajja abeeru luno gyolyabalamu bwebavuddewo nebawakanya eky’okuzimbibwa kw’omukutu ogunatambuza amafuta okugajja e Hoima okugatuusa e Tanga mu Tanzania. Bano ekiwandiiko babadde bakitwal ku kitebe ky’Omukago gwa Bulaaya wano mu Uganda […]