Amawulire
Aba NDA bakutte omusuubuzi wéddagala mungeri emenya mateeka
Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byeddagala mu ggwanga ekya NDA kikutte omusuubuzi w’eddagala mu ngeri emenya amateeka wamu ne banne abalala mukaaga e Nabulagala mu Kasubi. Omwogezi we Kitongole kino Abiaz Rwamwiri agamba nti bano basangiddwa nga balina eddagala ery’ekyama omuli neddagala lya gavumenti, […]
Museveni alonze bakamisona basatu ku kakiiko kéddembe lyóbuntu
Bya Benjamin Jumbe, Pulezidenti Museveni alonze abantu 3 okuweereza nga bakamisona mu kakiiko ka Uganda Human rights Commission. Bano kuliko Simeo Nsubuga eyali omwogezi wa poliisi era eyaliko omubaka akiikirira Kassanda South, Col Stephen Basaliza ne Omara Apita. Amannya g’abalondeddwa gaweerezeddwa mu palamenti okwekebejjebwa. Akakiiko […]
Aba UNYPA batongoza empaka za Y plus beauty pageant ezómulundi ogwo 9
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekirwanirira eddembe lya bavubuka abawangala na kawuka ka sirimu mu ggwanga ekya Uganda Network of Young People Living with HIV/AIDS (UNYPA) leero kitongoza empaka za Y plus Beauty Pageant ezomulundi ogwo 9 nómulanga eri abavubuka obutakkiriza nsonga ya kuba na kawuka […]
Kkooti enywezeza ekibonerezo ku musajja eyasobya ku mwana
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejulirwamu nywezeza ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 23 ekyaweebwa omusajja eyasobya ku mwana wa muliraanwawe ow’emyaka 6 n’amusiiga akawuka ka siriimu. Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi mu kiseera ekyo Kaweesa Isabirye Henry, yamusingisa Ronald Mutebi, omusango n’asibwa emyaka 23 mu mwaka gwa […]
Okubala obululu mu kulonda kwa EALA kutandise
Bya Prossy Kisakye, Okulonda abakiise ba EALA kutandise akawungeezi ka leero oluvannyuma lw’okumaliriza kampeyini ezikubiriziddwa amyuka sipiika, Thomas Tayebwa. Abeesimbyewo 28 kati balindirira ebinaava mu kubala obululu. Munna DP Gerald Siranda agamba nti agenda empagi eyesigamwako okuleeta obumu mu mawanga ga nnamukago. Ate ye Mary […]
Kkooti egobye okusaba kwa babaka
Bya Ruth Anderah, Ekiwayi kya Court Enkulu eky’ensi yonna ekiwozesa emisango gyabakalintalo ekya International Crimes Division kiganye okusaba kw’ababaka Mohamad Ssegirinya ne Allan Sswanyana mwebaali bagalira emisango gyabwe gigatibbwe ku file emu basobole okuwozesebwa omulundi guno. Okusalawo kwa Court kitegeeza nti ababaka bano bombiliri bakuwozesebwa […]
Aba PPP bagenda mu kkooti kunsonga zókulonda kwa EALA
Bya Mike Sebalu, Ekibiina kya People’s Progressive Party kigamba kigenda mu kkooti okuwakanya ekya palamenti okuba nobuyinza obutegeka okulonda kwa balina okukikirira Uganda mu palamenti ya EALA songa mungeri yemu era yelonda abagendayo. Bano bavumirira ebikolwa eby’okulya enguzi mu nteekateeka z’okulonda kw’olukiiko lw’ababaka ba Palamenti […]
Mayiga mwenyamivu olwa Gavt okulwawo okuyimbula Ssegirinya ne Ssewanyana
Bya Prossy Kisakye, Kamala Byonna wa Buganda, Charles peter Mayiga alaze obwennyamivu olwa gavumenti okulemwa okuwa obwenkanya eri ababaka ba palamenti ababiri abali ku limanda mu kiseera kino. Ngennaku zómwezi September 7th 2022, lwegwawera omwaka mulamba bukya mubaka wa Palamenti owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya […]
Tayebwa asabye bannauganda okutunda ensi yabwe
Bya Benjamin Jumbe, Amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa asabye Bannayuganda okutunda ensi yaabwe yonna gyebagenda. Tayebwa yabadde akulembeddemu omukolo gwa Tourism night ogw’okujjukira olunaku lw’ebyobulambuzi mu nsi yonna olunaku lw’eggulo mu Kampala. Yagambye nti buli muntu ateekwa okuba Ambassador wa Uganda yonna gy’abeera era […]
Sipiika alabudde abavuganya ku bifo bya EALA kunguzi
Bya Benjamin Jumbe, Sipiika wa palamenti Anita Among alabudde abesimbyewo okuvuganya ku bifo byabanakikirira Uganda mu palamenti ya East Africa okwewala enguzi. Okulabula kuno akukoze ng’ayogera ne bannamawulire mu ofiisi ye akawungeezi ka leero, n’agamba nti engeri yonna ey’okukozesa obubi mu kulonda kuno erina okwewalibwa […]