Bya Ruth Anderah,
Eyali akulira kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines, Cornwell Muleya asambazze ebigambibwa nti yajeemera biragiro bya Kaliisoliiso wa gavt.
Muleya mukwewoozako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Asuman Muhumuza, agambye nti yafuna ebbaluwa ku email ye etaliiko muntu agisindise yadde ennamba ye simu songa era tebamulagirako kugenda napasipootaye
agasseeko nti olw’okuba yali mugwira yalagira…
Bya Prossy Kisakye,
Ssabasajja kabaka asiimye okulabikako eri obuganda olunaku lwenkya era wakwogera eri obuganda nga asinzira mu lubiri lwe e Mengo wakati mu kufundikira emikolo egyabulungi bwansi nokukuza amefuga ga Buganda agabeerawo buli nga 8th October every year.
Olunaku luno lutera okukuzibwa mu ssaza eriba riwangudde mu mpaka ezokla obulungi emirimu egikulakulanya obwakabaka.
Era omwaka guno Kyaggwe…
Bya Juleit Nalwoga,
Omukulembeze w’eggwanga YK M7 alagidde minister wa Kampala Minsa Kabanda okukola okunoonyereza okuzuula ebigambibwa nti abasuubuzi mu butale bwa Government obwa KCCA babasolozaako ensimbi ezisukiridde.
Okuzinziira ku bbaluwo eyatekebwako omukulembeze w’eggwanga nga 2/10/2002 ngegenda eri Minista Kabanda, President agamba nti yafunye okumanyizibwa nga abasuubuzi b’omubutale abasoba mu mitwalo 40 bwebajjibwako emisolo egisukka mu mulundi…
Bya Damali Mukhaye,
Nga amawanga gateekateeka okukuza olunaku lw’ensi yonna oluwakanya ekibonerezo ekyokuwanika abantu kukalabba, abalwanirizi w’eddembe ly’obuntu okuva mu buvanjuba bwa Afrika basabye ebibonerezo by’okufa bigibwewo mu mawanga gyebikyakola
Bwabadde ayogera mu lukiiko lw’omukago gwa East Africa ogulwanyisa ekibonerezo ky’okufa, Dr Livingstone Ssewanyana, akulira ekibiina kyobwannakyewa ki Foundation for Human Rights Initiative, agamba nti ebikolobero bikyali…
Bya Damali Mukhaye,
Abasomesa abali wansi w’ekibiina kyabwe ekya Uganda National Teachers Union (UNATU) baweze okuddamu okwekalakaasa singa gavumenti egenda mu maaso n’okusirika ku by’okubongeza emisaala.
Abasomesa mu June baakola okwekalakaasa oluvannyuma lwa gavumenti okwongeza emisaala gya basomesa ba sayansi okutuuka ku bukadde 4 buli omu ate aba arts ne tabalowoozako.
Bano Gavumenti yasaba okudda mu bibiina, basomese…
Bya Rita Kemigisa,
Pulezidenti Yoweri Museveni yetondedde Bannakenya ne Bannabuvanjuba bwa Afrika olw’enneyisa ya mutabani we, Gen Muhoozi Kaine-rugaba olwebigambo bye byatasoose kusengeka.
Mu kimu ku biwandiiko bye yafulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter, Muhoozi yagambye nti ng’ali wamu n’amagye ge asobola okuwamba ekibuga ekikulu ekya Kenya Nairobi mu wiiki bbiri.
Mu kiwandiiko kyafulumizza akawungeezi ka leero, pulezidenti…
Bya Prossy Kisakye,
Abamu ku babaka ba palamenti basanyukidde enkyukakyuka mu magye nga bwezalangiriddwa omuduumizi w’amagye owokuntiko Gen. Yoweri Museveni eranga ye pulezidenti wa Uganda.
Pulezidenti yakuzizza mutabani we Muhoozi Kainerugaba okuva ku ddaala lya Lieutenant General okudda ku Jeneraali omujjuvu wabula namugoba ku kifo kyakulira amaggye agómuttaka.
Ono yasikiddwa Maj Gen Kayanja Muhanga nga kati aduumira ekikwekweto…
Bya Rita Kemigisa,
PULEZIDENTI Museveni awolerezza okulinnyisa mutabani we eddala erisinga mu maggye
Olunaku lweggulo Museveni yakuziza mutabani we Muhoozi Kainerugaba okutuuka ku ddaala llya Jeneraali okuva ku lya Lt.Gen
Okukuzibwa kwe okuva olwo kuleetedde bannayuganda bangi n’abakungu b’amaggye abaawummula okutabulwa okusinziira ku nneeyisa ye ku mukutu gwa twitter eyabadde etadde eggwanga ku kabi.
Wabula pulezidenti mu kiwandiiko kyafulumizza…
Bya Prossy Kisakye,
Nga Uganda olwaleero yeegasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’abasomesa mu nsi yonna, gavumenti esabiddwa okulongoosa ensengeka y’emisaala gy’abasomesa mu ggwanga.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda People’s Congress, Jimmy Akena, alaze obwetaavu bwa gavumenti okutumbula embeera z’abasomesa nayo okukwataganya emisaala gy’abasomesa ba ssaayansi…
Bya Mike Sebalu,
Ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National Teachers Union (UNATU) kiwadde gavumenti amagezi okussa mu enkola enkola erungamya abasomesa empya eya teacher’s national policy.
Ekibiina kino kigamba nti enkyukakyuka mu byenjigiriza tegenda kutuukirira awatali nkola erungamya basomesa enzijuvu.
Ssaabawandiisi wa UNATU, Filbert Baguma ategeezezza Dembe FM nti engeri yokka enkola y’abasomesa mu Uganda gy’erina…