Amawulire
Bannauganda boogedde ebikankana ku bukadde 15 obugenda okuweebwa Mutembeya
Bya Rita Kemigisa, Obukadde bwa siringi za uganda 15 obusasulwa omuwi wa magezi eri pulezidenti Museveni kubikwata nteeze,nakati bukyagenda mu maaso okwewunyisa bannauganda. Dr Nassan Mutembeya, eyalondebwa pulezidenti nga 31st july, okuba omuwabuziwe ow’enjawulo ku nteeze agenda kufunanga omusaala ogukubisa emirundi ebiri kugw’omusawo asinga okusasulwa […]
Aba FDC bemulugunyiza okwa abakuuma ddembe okubalemesa okukola emirimu gyabwe
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change kivumiridde amagye okugenda mu maaso n’okuyingirira emirimu gy’ekibiina kino. Kino kiddiridde nga 6th October poliisi okulemesa pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat n’abakulembeze b’ekibiina abalala okutuusa obuyambi eri abantu abaakosebwa amataba e […]
Ssabalamuzi ne banne bakutekayo okwewozako kwabwe mu musango gwa Kisaakye
Bya Ruth Anderah, Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo nábalamuzi abalala 5 banatra okuteekayo okwewozaako kwabwe mu musango ogubavunanwa mulamuzi munnabwe owa kkooti ensukulumu Esther Kisakye. Kisaakye yaloopa ssabalamuzi ne banne nga ayagala kkooti ebakugire okumumma ebyetaagisa mu kuwulira emisango gyalina okukwasaganya, okumulemesa okufuna omusaala ne nsimbi […]
Abayizi abagenda okukola ebyakamalirizo bakubirizibwa okwewala okukopa ebigezo
Bya Dennis Ozima, Omumyuuka owokubiri owa Mufti wa Uganda Muhammad Ali Waiswa akubiriza abayizi abagenda okutuula ebigezo ebyakamalirizo ebya S4 okwewala omuzze ogwokukopa ebigezo. Waiswa agambye nti omuzze guno guvirideko eggwanga okufulumya abayzi abekibogwe ne balemererwa okukola emirimu nobukugu nga bamaliriiza emisomo gyabwe. Awadde ekyokulabilako ekye bizimbe ebiggwa […]
Agambibwa okwagala okussaddaaka omuwala asimatuse okuttibwa
Bya Abubaker Kirunda, Omusajja mu disitulikiti y’e Buikwe asimatuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Nakalang mu Divizoni y’e Wakisi kubigambibwa nti yabadde agezaako okusaddaaka omuwala ow’emyaka 16. Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Haruna Basajasubi atubuulidde nti poliisi etuuse mu budde okutaasa omutemu. Ono agambye nti […]
Aba FDC bagala Muhoozi agobwe mu Magye
Bya Damali Mukhaye, ne Rita Kemigisa, Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) kisabye mutabani wa pulezidenti Muhoozi Kainerugaba agobwe mu magye nga kigambibwa nti yaswaza eggwanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC, Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti […]
Ssabasajja akubiriza abantube okukuuma obutonde bwensi
Bya Prossy Kisakye, Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, ayongedde okukubiriza abaddu na bazaanabe okwongera amaanyi mu kukuuma Obutondebwebsi. Bino abyogedde bwabadde ayogerako eri obuganda ku lunaku olufundikira ssabiiti ya bulungi bwansi nókukuza amefuga ga Buganda. Omutanda agambye ebbanga Buganda lyemaze nga ekuza […]
Alupo akubiriza abakulembeze babavubuka
Bya Benjamin Jumbe, Omumyuka wa pulezidenti Jessica Alupo asabye abavubuka okulonda abantu abalina endowooza n’okwolesebwa okutegeerekeka okusobola okutuuka ku nkulaakulana ey’olubeerera. Yabadde akubiriza omusomo gwa Golden Youth Symposium ogwategekebwa ku yunivasite y’e Soroti ogwasikiriza abakulembeze b’abavubuka okuva mu matendekero aga waggulu okuva mu ggwanga lyonna […]
Agambibwa okuba omubbi wémotoka attibbwa
Bya Prossy Kisakye, Omuntu omu afiiriddewo olw’ebisago by’afunye oluvannyuma lw’okukubwa amasasi abaserikale ba flying squad mu kikwekweto ekikoledwa ku kyalo Gganda mu Munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso. Okusinzira ku amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne mirirano, Luke Owoyesigire, ekikwekweto kino kiddiridde okubba […]
Gavt efulumiza ekitundu ekyókubiri kunsimbi zókudukanya emirimu
Bya Benjamin Jumbe, Minisitule y’ebyensimbi efulumizza obuwumbi musanvu n’obukadde 300 ez’ekitundu eky’okubiri mu mwaka gwe byensimbi 2022-23 nga kuliko n’ensimbi ezigenda okulinnyisa emisaala gya Bannasayansi. Kiddiridde gavumenti okweyama ng’omwaka gw’ebyensimbi oguwedde gunaatera okuggwaako nti yakulinnyisa emisaala gya Bannasayansi okuli abasomesa, abasawo, Bayinginiya n’abaserikale ba UPDF […]