Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Museveni alonze bakamisona basatu ku kakiiko kéddembe lyóbuntu

Bya Benjamin Jumbe, Pulezidenti Museveni alonze abantu 3 okuweereza nga bakamisona mu kakiiko ka Uganda Human rights Commission. Bano kuliko Simeo Nsubuga eyali omwogezi wa poliisi era eyaliko omubaka akiikirira Kassanda South, Col Stephen Basaliza ne Omara Apita. Amannya g’abalondeddwa gaweerezeddwa mu palamenti okwekebejjebwa. Akakiiko kabadde kalwanagana n’emisango egyali giddirira n’abakozi abatono oluvannyuma lw’okufa kwa Rev Father Simon Lokodo…

Read More

Aba UNYPA batongoza empaka za Y plus beauty pageant ezómulundi ogwo 9

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekirwanirira eddembe lya bavubuka abawangala na kawuka ka sirimu mu ggwanga ekya Uganda Network of Young People Living with HIV/AIDS (UNYPA) leero kitongoza empaka za Y plus Beauty Pageant ezomulundi ogwo 9 nómulanga eri abavubuka obutakkiriza nsonga ya kuba na kawuka ka sirimu kugotanya biseera byabwe eby’omumaaso. Kawefube ono agenderedde kulwanyisa muzze ogw’okusosola…

Read More

Kkooti enywezeza ekibonerezo ku musajja eyasobya ku mwana

Bya Ruth Anderah, Kkooti ejulirwamu nywezeza ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 23 ekyaweebwa omusajja eyasobya ku mwana wa muliraanwawe ow’emyaka 6 n’amusiiga akawuka ka siriimu. Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi mu kiseera ekyo Kaweesa Isabirye Henry, yamusingisa Ronald Mutebi, omusango n’asibwa emyaka 23 mu mwaka gwa 2019. Wabula Mutebi olw’obutamatira nakibonerezo ekyamuweebwa yaddukira mu kkooti okukiwakanya nga agamba nti…

Read More

Okubala obululu mu kulonda kwa EALA kutandise

Bya Prossy Kisakye, Okulonda abakiise ba EALA kutandise akawungeezi ka leero oluvannyuma lw’okumaliriza kampeyini ezikubiriziddwa amyuka sipiika, Thomas Tayebwa. Abeesimbyewo 28 kati balindirira ebinaava mu kubala obululu. Munna DP Gerald Siranda agamba nti agenda empagi eyesigamwako okuleeta obumu mu mawanga ga nnamukago. Ate ye Mary Mugyenyi okuva mu kibiina kya NRM agamba nti akkiririza mu kwegatta kw’ekitundu kya East…

Read More

Kkooti egobye okusaba kwa babaka

Bya Ruth Anderah, Ekiwayi kya Court Enkulu eky’ensi yonna ekiwozesa emisango gyabakalintalo ekya International Crimes Division kiganye okusaba kw’ababaka Mohamad Ssegirinya ne Allan Sswanyana mwebaali bagalira  emisango gyabwe gigatibbwe ku file emu basobole okuwozesebwa omulundi guno. Okusalawo kwa Court kitegeeza nti ababaka bano bombiliri bakuwozesebwa emilundi 2 ku misango egyali e Masaka wamu n’egyo egyaali e Lwengo…

Read More

Aba PPP bagenda mu kkooti kunsonga zókulonda kwa EALA

Bya Mike Sebalu,  Ekibiina kya People’s Progressive Party kigamba kigenda mu kkooti okuwakanya ekya palamenti okuba nobuyinza obutegeka okulonda kwa balina okukikirira Uganda mu palamenti ya EALA songa mungeri yemu era yelonda abagendayo. Bano bavumirira ebikolwa eby’okulya enguzi mu nteekateeka z’okulonda kw’olukiiko lw’ababaka ba Palamenti mu East Africa ezigenda mu maaso mu Palamenti. Okusinziira ku akola nga Ssentebe…

Read More

Mayiga mwenyamivu olwa Gavt okulwawo okuyimbula Ssegirinya ne Ssewanyana

Bya Prossy Kisakye, Kamala Byonna wa Buganda, Charles peter Mayiga alaze obwennyamivu olwa gavumenti okulemwa okuwa obwenkanya eri ababaka ba palamenti ababiri abali ku limanda mu kiseera kino. Ngennaku zómwezi September 7th 2022, lwegwawera omwaka mulamba bukya mubaka wa Palamenti owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya ne munne owa Makindye West Allan Ssewanyana basindikibwa mu kkomera ku byekuusa…

Read More

Tayebwa asabye bannauganda okutunda ensi yabwe

Bya Benjamin Jumbe, Amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa asabye Bannayuganda okutunda ensi yaabwe yonna gyebagenda. Tayebwa yabadde akulembeddemu omukolo gwa Tourism night ogw'okujjukira olunaku lw'ebyobulambuzi mu nsi yonna olunaku lw'eggulo mu Kampala. Yagambye nti buli muntu ateekwa okuba Ambassador wa Uganda yonna gy’abeera era eyo y’emu ku ngeri y’okutumbula eby’obulambuzi mu Uganda. Omumyuka wa Sipiika era yeeyamye nga…

Read More

Sipiika alabudde abavuganya ku bifo bya EALA kunguzi

Bya Benjamin Jumbe, Sipiika wa palamenti Anita Among alabudde abesimbyewo okuvuganya ku bifo byabanakikirira Uganda mu palamenti ya East Africa okwewala enguzi. Okulabula kuno akukoze ng’ayogera ne bannamawulire mu ofiisi ye akawungeezi ka leero, n’agamba nti engeri yonna ey’okukozesa obubi mu kulonda kuno erina okwewalibwa nábakuutira okuleka manifesito zaabwe zibogerere. Akubirizza ebibiina by’obufuzi ebirina abesimbyewo okwenyigira ennyo mu…

Read More

Aba DP basabye Gavt eyongere kunsimbi z’eteeka mu IPOD

Bya Prossy Kisakye, Banna kibiina kya Democratic Party basabye Government okwongera ku nsimbi zeteeka mu mukago omwegatira ebibiina byobufuzi ebirina abakiise mu palamenti ogwa IPOD, Bino webijidde ng’ababadde bawagira IPOD mu byensimbi aba Netherlands Institute for Multi-Party Democracy balangiridde nga bwebayinza okulemererwa okudamu okuwagira kuba nabo ababatekamu ensimbi okuva mu gavt ya budaaki balowooza nti omukago gwa…

Read More