Amawulire
Minisitule ekakasiza okubalukawo kwe kirwadde kye Ebola e Mubende
Bya Ndaye Moses, Ministry y’eby’obulamu ekakasizza okubalukawo kw’ekilwadde ki Ebola mu district y’e Mubende. Kiddiridde abantu 06 okufa mu magomolola ly’e Kiruma ne Madudu nga 3 babadde banna bato ate abalala 3 babadde bantu bakulu nga baafa wakati wa 1-15/09/2022. Kati bw’abadde ayogerako eri ab’abawulire […]
Gavt esabiddwa okugyawo emiziziko erilemesa ebyóbulambuzi
Bya Moses Ndaye, Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’omukago gwa East Africa era omumyuka asooka owa Ssabaminisita Rebecca Kadaga asabye gavumenti eggyewo byonna ebiremesa enkulaakulana y’ebyobulambuzi mu Uganda. Agamba nti gavumenti erina okuwagira abantu b’omu kitundu okuganyulwa mu by’obulambuzi. Kadaga agamba nti abakulembeze abalwanyisa oba okulemesa […]
Minisita alabudde abamasomero abalemedde ku kubba ebigezo
Bya Damali Mukhaye, Ministry eye byenjigiriza erabudde nga bwegenda ku mulundi guno okwasanguza amasomero aganagezako okwenyigira mu kubba ebigezo bya kamaliriizo ebyomwaka guno. Okusinziira ku minisita ow’ebyenjigiriza ebisookerwako, Moricu Kaducu, balabudde amasomero gano ekimala, kale essomero lyonna erigenda okukwatibwa lijja kuteekebwa mu mikutu gy’amawulire ensi […]
Abanonyereza ku byémisota bagala kubongera kunsimbi
Bya Moses Ndaye, Abanoonyereza ku yunivasite y’e Makerere basabye gavumenti okuwaayo ensimbi okuyamba abanoonyereza okuvaayo n’eddagala erikola obulungi eriyinza okukozesebwa okutaasa obulamu bw’abantu abafa olw’okulumwa emisota. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa aba Makerere University school of public health, abantu 101 ku buli bannayuganda 100,000 be bafuna […]
Ababaka 15 basunsuddwa okuvuganya mu banakikirira Uganda mu EALA
Bya Damali Mukhaye ne Prossy Kisakye, Palamenti esunsudde abantu abalala okuvuganya ku bifo ebyabanakikirira Uganda mu palamenti ya East Africa. Omulimo gwokusunsula gutandise nkya ya leero ku palamenti era, omuwandiisi wa palamenti asunsudde abantu 15 okuvuganya ku bifo 9 uganda byerina mu palamenti yomukago. Mu […]
Sipapa addiziddwayo ku alimanda e Luzira
Bya Ruth Anderah, Omudigize womu Kampala, Charles Olimu amanyiddwa nga Sipapa neera adizidwayo kkomera e Luzira ku misango mukaaga egy’obubbi obw’amaanyi. Kino kidiridde oludda oluwaabi okutegeeza kkooti nti okunoonyereza ku musango gwe kukyagenda mu maaso. Mukyala we yali asabye kkooti y’e Makindye emukkirize okweyimirirwa kubanga […]
Ekirwadde kya Tetenansi kyeyongedde mu ggwanga
Bya Prossy Kisakye, Uganda efuna abalwadde b’ekirwadde Kya Tetanansi abali wakati we 3000 ne 5000 buli mwaka okusinziira ku alipoota yékibiina kya Uganda National expanded program on immunization (UNEPI). Bino bikakasiddwa Kenneth wehhonge akulira Ekitongole kyobwannakyewa ki coalition for health promotion and social development (HEPS […]
Omwana akubiddwa Laddu naafa
Bya Abubaker Kirunda, Omuntu omu akakasiddwa okuba nti afudde ate abalala basatu ne balumizibwa oluvannyuma lw’okukubwa Laddu mu disitulikiti y’e Buyende. Bino bibadde ku kyalo Budubi mu gombolola ye Bugaya mu disitulikiti y’e Buyende. Ssentebe wa LC2, Joseph Kitawu agamba nti baana begamye enkuba eyabadde […]
Taxi ezivuga Entebbe Rd zonna ziragiddwa okudda mu Paaka ya Usafi ne Kisenyi
Bya Benjamin Jumbe, Minisitule ya Kampala eragidde mootka zonna eza taxi ezisaabaza abantu nga zikwata ebitundu by’e Ntebe okudda mu Park ya Usafi ne Kisenyi mu bwangu. Minisita wa Kampala Hajat Minsa Kabanda agamba nti eno yengeri yokka egenda okutebenkeza ekibuga n’okumalawo omugotteko mu bitundu […]
Bannaddiini basabiddwa okwengera amaanyi mu kawefube wókulwanyisa Siriimu
Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko akavunanyizibwa kukulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga aka Uganda Aids Commission, kasabye bannaddiini okwongera amanyi mu kawefube owokulaba nti Uganda ekomya okusaasaana kwa kawuka siriimu. Bino byogeddwa Enid Wamani eyakiikiridde Dayirekita omukulu ow’akakiiko kano ku mukolo gw’okutongoza enteekateeka bannaddiini gyebaneeyambisa okukwatizaako […]