Amawulire
Sipiika Among akungubagidde Kwiini Elizabeth 11
Bya Damali Mukhaye, Sipiika wa Palamenti, Anita Among asiimye Nnabagereka wa Bungereza, n’amwogerako ng’omukyala ebadde omwagazi wóbumu n’emirembe era nga abadde kyakulabirako eri abakyala bangi okwetoloola ensi yonna. Bino Among abyogedde akyaddeko ku kitebe kya bungereza mu Kampala okussa omukono mu kitabo ekikubagira Nnaabagereka Elizabeth […]
Omusajja awalampye ekizimbe neyekasuka wansi naafa mu ddwaliro e Mulago
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi e Wandegeya etandise okunoonyereza ku kibagudde omusajja omutuuze w’e Kyebando, mu Kampala ogugenda yettire e Mulago mu ddwaliro. Amyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya kampala ne miriraano, Luke Owoyesigyire agamba nti omugenzi ye Joseph Waswa ngono teyabadde mulwadde mu ddwaaliro […]
Ssegirinya yejerezebwa omusango ogw’okukuma omuliro mu bantu
Bya Ruth Anderah, Court y’okuluguudo Buganda yejjeereza Omubaka wa Parliament Mohammad Ssegirinya nga mu kiseera kino atemeza mabega wa mitayimbwa emisango gy’okukuma mu bantu omuliro egyamuggulwako oluvanyuma lw’okulonda okwa bonna okwaliwo ku ntandikwa y’omwaka gwa 2021. Kigambibwa nti alina obubaka bweyayisa ku mukutu gwe ogwa […]
Entiisa ebutikidde abatuuze e Mayuge omukazi akubiddwa amasanyalaze naafa
Bya Abubaker Kirunda, Entiisa ebutikidde abatuuze kuyalo Katonte mu tawuni kanso ye Magamaga e Mayuge omukyala atemera mu gyobukulu 45 bwakubiddwa amasanyalaze nafiirawo. Omugenzi ye Rechael Mbaiza ngono amasanyalaze gamukubye agenda mu nnimiro. Ssentebe wekyalo kino Mawazi Izimba, agambye Mbaiza yalinye ku waya ya masanyalaze eyita […]
Abébyóbulamu bawabudde bannauganda okugenda okwekebeza obulwadde bwa TB
Bya Prossy Kisakye, Abakugu mu by’obulamu balabudde abantu bulijjo okugenda okwekebeza akafuba (TB) kisobozese okukkakkanya omuwendo gw’abalwadde ogweyongera buli lukya mu ggwanga. Alipoota y’ensi yonna eya WHO eyomwaka 2017 ku bulwadde bwa TB yalaga nti omuwendo gwa Bannayuganda abawangaala n’akafuba gweyongera ebitundu 60%. Alipoota yaraga […]
Bannamateeka balonda leero pulezidenti wa ULS
Bya Juliet Nalwooga, Olwaleero bannakibiina kya Uganda Law Society (ULS) bagenda kulonda pulezidenti omuggya mu lukiiko olugenda okubeera Entebbe. Akulira ebyokulonda mu kibiina kino, George Omunyokol agamba nti abantu mukaaga bebasunsuddwa okuvuganya kuntebe. Ku bano kuliko Karemire Mukuve, Bernard Oundo, Diana Angwech, Rayan Chemisto, Diana […]
Omubaka Nkunyingi awakanyiza ebyayogedwa Minisita ku Bankuba kyeyo
Bya Prossy Kisakye, Minisita mu gavumenti ey’ekisiikirize ow’ensonga ez’ebweru weggwanga eranga ye mubaka wa Kyadondo East, mu lukiiko lweggwanga olukulu, Muwada Nkunyingi, awakanyiza ebyayogeddwa minisita ew’ekikula ky’abantu nábakozi ku bakozi bannayuganda abanobabonera mu ggwanga lya United Arab Emirates. Bwayabadde ayogera eri bannamawulire mu mu ssabiiti […]
Agambibwa okubba ebisawo byéngoye asibiddwa
Bya Ruth Anderah, Agambibwa okubba ebisawo by’engoye 2 okuva ku musubuzi omu wano mu Kampala agombeddwamu obwaala. Mwesigwa Sam asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Court Siena Owomugisha amusomedde omusango gw’obubbi nagwegaana. Amangu ddala oluvanyuma lw’okwegaana omusango omulamuzi amusindiise ku meere […]
Abasajja 3 basindikibwa mu kkomera lwakulekanira mu katale
Bya Ruth Anderah, Abasajja 3 abasangiddwa ku Katale ke Nakasero nga balekanira wagulu basuze Luzira lwakweyisa mungeri etagasa mu bantu. Abassatu bano nga bakulembeddwamu Kawuma Godfrey basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Siena Owomugisha abasomedde omusango nebagukiriza. Wabula omulamuzi abasindise mu […]
Ababaka ba DP baddukidde mu Kkooti ku ndagano ya Mao ne Museveni
Bya Ruth Anderah, Abamu ku babaka ba palamenti mu kibiina kya Democratic Party ekiri kuludda oluvuganya gavumenti bawaddeyo okusaba mu kkooti ejulirwamu mu Kampala nga bawakanya endagaano eyakolebwa wakati wa Pulezidenti wa Democratic Party Norbert Mao, ku lw’ekibiina kino nómuk weggwanga Museveni. Mu kiwandiiko ky’eyafulumya […]