Amawulire
Gavt ezimbye appu egenda okulondoola bannauganda bankuba kyeyo
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti etadewo enkola eyókuyita ku mutimbagano okutaasa bannuganda abanonyabonyezebwa mu mawanga agebweru gye baddukira okukuba ekyeyo. Kino kiddiridde bannauganda abali kukyeyo okukaaba entatera kungyeri embi bakama babwe gyebabayisamu ekivirideko ne banabwe okufiira ku mawanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda media center […]
GISO ne Bassentebe 2 bakwatibwa lwakwekobaana nábamenyi bamateeka
Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu district y’e Jinja ekutte ba sentebe b’ebyaalo 2 ne GISO lwakwekobaana n’abamenyi b’amateeka ne balemesa Poliisi okukola ogwaayo. Abakwate kwekuli George Waiswa Matende ow’ekyaalo Budhumbuli Commercial Zone ekisangibwa mu Bugembe mu kibuga Jinja wamu ne Hamid Musika, sentebe w’ekyaalo Wanyange […]
Ababaka beewunyiza olwa Gavt okukkiriza ekivvulu kya Nyege Nyege
Bya Rita Kemigisa ne Benjamin Jumbe, Ababaka ba palamenti beebuziza ekyabagudde gavumenti okukkiriza ekivvulu kya Nyege Nyege ekyabadde kiyimirizibwa ekigenda okubeera e Jinja mu wiiki ejja. Enkya ya leero Ssaabaminisita Robinah Nabbanja atuuzizza olukiiko ne baminisita okuva mu minisitule y’ebyobulambuzi, eyekikula ky’abantu, ekola kunsanga ezomunda […]
Mpuuga mwenyamivu olwa Gavt okukuumira Babaka banne mu Kkomera
Bya Rita Kemigisa, Omukulembeze w’oludda oluvuganya, Mathias Mpuuga avuddeyo n’alaga obweraliikirivu olwababaka bannabwe 2 okusigala nga bakuumibwa mu kkomera asabye omusango gwabwe gulamulwe mu bwangu. Olwaleero guweze omwaka mulamba bukya omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana ne munne Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North bakwatibwa ne […]
Gavt eragidde ebyapa bya Ham ku ttaka lya Kabaka bisazibwemu
Bya Prossy Kisakye, Kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ettaka aragidde ebyapa bina ebyafunibwa omugagga w’omu kampala, Hamis Kiggundu ku ttaka lya Kabaka erya Mailo ettongole e Kigo bisazibwemu. Okusinziira ku nsala eyassibwako omukono Mugaino Baker nga September 6, 2022 ku lwa Commissioner, eragidde ebyapa bya Ham […]
KCCA ereese Kamera okuketta abasirikale babwe abakwasisa amateeka mu kibuga
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ki Kampala Capital City Authority kitegeezezza nga bwekimaze okugula camera ezigenda okuketta abakozi békitongole abakwasisa amateeka nga bali ku milimu era zigenda kuteekebwa mu bitundu byébibuga ebyénjawulo. Akulira entambuxza yémilimu mu Kampala Dorothy Kisaka, agamba nti kino kyakubayamba okulaba butya bano […]
Abantu 15 bafiridde mu kubumbulukuka kwéttaka e Kasese
Bya Mike Sebalu, Omwendo gwábantu abafiiridde mu bifunfugu gulinnye nga kati baweze 15, oluvanyuma lwéttaka okubumbulukuka mu kiro ekikeesezza leero mu district yé Kasese olwa namutikwa wénkuba afudembye. Abantu abalala 6 baddusiddwa mu dwaliro nga biwala ttaka ate nga nómuwendo omulala ogutamanyiddwa negyebuli eno tegunnamayikako […]
Abazadde bakusasula ensimbi abaana banywe amata kussomero
Bya Damali Mukhaye, Minisitule y’ebyenjigiriza etegeezezza nga abazadde bwebagenda okusasula ensimbi okusobozesa abaana babwe okunywa amata ku massomero ng’emu ku ngeri y’okutumbula omutindo gw’abayizi. Kaminsona w’amasomero g’obwananyini George Muteekanga, agamba nti amasomero gakuteekawo obukiiko obuvunanyizibwa kundya yábayizi era bwebunagereka ebisala abazadde bye balina okusasula abaana […]
Abali mu byembaawo baweereddwa ebiragiro ebigya
Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde bw’ensi mu ggwanga kifulumizza ebiragiro ebipya mu kaweefube w’okwongera okukuuma obutonde bw’ensi n’okuzzaawo ebibira mu ggwanga. Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero, okusaba okukkiriza amakolero agakola embaawo kijja kugetaagisa okuba n’obukakafu obulaga nti wa gyebagya emiti gyebakolamu embaawo. Okusinzira […]
Mpuuga akuutidde abavubuka
Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze w’oludda oluvuganya mu palamenti, Mathius Mpuuga asabye abavubuka abali mu bibiina by’obufuzi eby’enjawulo, okubuuza abakulembeze baabwe ku biseera by’eggwanga lino eby’omu maaso. Bino yabyogedde mu kuwa obubakabwe ng’omugenyi omukulu ku mukolo gw’okutongoza ekibiina kya Multiparty Youth Forum mu Kampala. Mpuuga agambye […]