Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi e Wandegeya etandise okunoonyereza ku kibagudde omusajja omutuuze w’e Kyebando, mu Kampala ogugenda yettire e Mulago mu ddwaliro.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya kampala ne miriraano, Luke Owoyesigyire agamba nti omugenzi ye Joseph Waswa ngono teyabadde mulwadde mu ddwaaliro e Mulago wabula yagingidde eddwaliro nawalampa ekizimbe kya kalian ku mwaliro ogwokutaano…
Bya Ruth Anderah,
Court y’okuluguudo Buganda yejjeereza Omubaka wa Parliament Mohammad Ssegirinya nga mu kiseera kino atemeza mabega wa mitayimbwa emisango gy’okukuma mu bantu omuliro egyamuggulwako oluvanyuma lw’okulonda okwa bonna okwaliwo ku ntandikwa y’omwaka gwa 2021.
Kigambibwa nti alina obubaka bweyayisa ku mukutu gwe ogwa facebook obwali bukuma omuliro mu bantu ku byekuusa ku byali bivudde mu…
Bya Abubaker Kirunda,
Entiisa ebutikidde abatuuze kuyalo Katonte mu tawuni kanso ye Magamaga e Mayuge omukyala atemera mu gyobukulu 45 bwakubiddwa amasanyalaze nafiirawo.
Omugenzi ye Rechael Mbaiza ngono amasanyalaze gamukubye agenda mu nnimiro.
Ssentebe wekyalo kino Mawazi Izimba, agambye Mbaiza yalinye ku waya ya masanyalaze eyita mu nnimiro ye, egambibwa okuba nti yaterwamu ababbirira amasanyalaze.
Omulambo gwe poliisi ye kitundu…
Bya Prossy Kisakye,
Abakugu mu by’obulamu balabudde abantu bulijjo okugenda okwekebeza akafuba (TB) kisobozese okukkakkanya omuwendo gw’abalwadde ogweyongera buli lukya mu ggwanga.
Alipoota y’ensi yonna eya WHO eyomwaka 2017 ku bulwadde bwa TB yalaga nti omuwendo gwa Bannayuganda abawangaala n’akafuba gweyongera ebitundu 60%.
Alipoota yaraga nti abantu 253 ku buli bantu 100,000 mu 2017 baalina akafuba bw’ogeraageranya ne…
Bya Juliet Nalwooga,
Olwaleero bannakibiina kya Uganda Law Society (ULS) bagenda kulonda pulezidenti omuggya mu lukiiko olugenda okubeera Entebbe.
Akulira ebyokulonda mu kibiina kino, George Omunyokol agamba nti abantu mukaaga bebasunsuddwa okuvuganya kuntebe.
Ku bano kuliko Karemire Mukuve, Bernard Oundo, Diana Angwech, Rayan Chemisto, Diana Ninsiima, ne Olivia Matovu mu kulonda kuno.
Anawangula agenda kudda mu bigere bya Pheona…
Bya Prossy Kisakye,
Minisita mu gavumenti ey’ekisiikirize ow’ensonga ez’ebweru weggwanga eranga ye mubaka wa Kyadondo East, mu lukiiko lweggwanga olukulu, Muwada Nkunyingi, awakanyiza ebyayogeddwa minisita ew’ekikula ky’abantu nábakozi ku bakozi bannayuganda abanobabonera mu ggwanga lya United Arab Emirates.
Bwayabadde ayogera eri bannamawulire mu mu ssabiiti eno, Betty Amongi yategeezezza nti abakozi ababonabonera mu UAE bali 452 bokka…
Bya Ruth Anderah,
Agambibwa okubba ebisawo by'engoye 2 okuva ku musubuzi omu wano mu Kampala agombeddwamu obwaala.
Mwesigwa Sam asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Court Siena Owomugisha amusomedde omusango gw'obubbi nagwegaana.
Amangu ddala oluvanyuma lw'okwegaana omusango omulamuzi amusindiise ku meere e Luzira ajira yebakayo okutuusa September 23rd 2022 lwanadizibwa omusango gutandike okuwulirwa.
Kino kidiridde…
Bya Ruth Anderah,
Abasajja 3 abasangiddwa ku Katale ke Nakasero nga balekanira wagulu basuze Luzira lwakweyisa mungeri etagasa mu bantu.
Abassatu bano nga bakulembeddwamu Kawuma Godfrey basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Siena Owomugisha abasomedde omusango nebagukiriza.
Wabula omulamuzi abasindise mu kkomera e Luzira okutuusa September 20th 2022 lwebanadizibwa baweebwe ekibonerezo ekinaaba kibagwanidde.
Kigambibwa abassatu…
Bya Ruth Anderah,
Abamu ku babaka ba palamenti mu kibiina kya Democratic Party ekiri kuludda oluvuganya gavumenti bawaddeyo okusaba mu kkooti ejulirwamu mu Kampala nga bawakanya endagaano eyakolebwa wakati wa Pulezidenti wa Democratic Party Norbert Mao, ku lw’ekibiina kino nómuk weggwanga Museveni.
Mu kiwandiiko ky’eyafulumya ku mukutu gwe ogwa Twitter, oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano eno, Pulezidenti…
Bya Author Wadero ne Prossy Kisakye,
Ababaka ku kakiiko ka Palamenti akakola ku nkyukakyuka y’obudde bali mu kutegeka etteeka erigenda okubonereza abaserikale ba gavumenti abagaba obutereevu olukusa lw’okukola emirimu mu ntobazi.
Ababaka beeraliikirivu olwempisa eya bakungu ba gavt okuwa pamiti abantu buli lukedde ezibakkiriza okwesenza mu ntobazi ekivirideko enkyukakyuka mu mbera yobudde.
Kino kijjidde mu kiseera nga govt…