Abakyala babiri abagambibwa okuyambako abatujju ba Alshabaab okulumba Uganda omwaka oguwedde bayimbuddwa
Ssabawaabi wa gavumenti Michael Chibita y'abajjeeko emisango ng'agamba nti tekyagulabamu kantu
Mu ssabawaabi abitadde mu bbaluwa eriko ennaku z'omwezi 15th January 2015 ereeteddwa mu kkooti enkya ya leero.
Yasimin Abdullahi Adenne Hodan Ahmed Dahir bonna batuuze mu kisenyi
Kati abavunanaibwa basigadde munaana nga baggulwaako misango gyakuyamba ku…
Ebikumi n’ebikumi by’abatuuze ababeera kumpi n’omwala gwe Nalukolongo basabiddwa okwamuka ekifo kino okusobola okukolebwaako.
Meeya we Lubaga Joyce Ssebugwawo agamba baagala kulaba nga bagaziya omwala guno okulwanyisa amataba agamazeeko abaguliranye emirembe buli lwettonya.
Ssebugwawo agamba omwala guno buli lwegubimba ne mukoko gutawanya n’abatuuze mu bitundu ebiriranyewo okuli Ndeeba ne Nateete mu biseera by’enkuba kale nga basana okugukolako.
Palamenti…
Paapa Francis akomekerezza obugenyi bwe obw’ennaku 5 ku ssemazinga wa Asia mu ggwanga lya Philippines.
Enkumi n’enkumi z’abakulisitu bakwatiridde ku nguudo nga basiibula papa ayolekedde Roma.
Olunaku olw’eggulo abantu obukadde 6 baagumidde obutiti okuwuliriza ekitambiro ky’emmisa ya paapa.
Paapa era y’atuuseko mu ggwanga lya Sri-Lanka gyeyayogeredde ku bumu.
Pulezidenti Museveni asabye abazadde okutwaala abaana baabwe bagemebwe mu kugema poliyo okutandise leero okwetoolola eggwanga lyonna.
Bw’abadde ayogerako eri abantu be Mulo ekisangibwa e Rubanda, pulezidenti agambye nti abazadde basaanye okukulemberamu omulimu gw’okukuuma ebaana baabwe nga balamu
Pulezidenti asoose kugema baana nga tannayogerako eri bantu.
Abaana abali mu bukadde musanvu n’ekitundu beebatunuuliddwa okugemebwa mu nnaku esati era ng’obuwumbi…
Abantu 4 bafiridde mu kwekalakasa mu ggwanga lya Niger ngabawakanya olupapula lw’amawulire mu ggwanga lya Bufalansa olwa Charlie Hebdo okukuba ebifananyi bwa Nabbi Muhamed mu bifanyanyi ba Cartoon.
Amakanisa agawerako wamu n’ebifo ebyobuwangwa bitekeddwa omuliro abantu ababadde bekalakasa.
Okwekalakasa kuno kuzze ngawakayitta weeki emu ngabamukwata mundu balumbye olupapula lw’amawulire luno nebatta banamawulire 12.
Ng’omwaka gwakatambulako mbale emirerembe gyebyetaka gisitudde butto mu district ye Kayunga.
Kino kiddiride amawulire okweyongera okusasaana nga abakulira district ye Kayunga bwebatunda ettaka eriweza acres omutwalo gumi eri kampuni ekonzi ya sukali eyitibwa Kayunga Sugar Ltd kyoka erina office mukibuga Kampala.
Ettaka erigambibwa okutundibwa lizingiramu ebyalo ebisuka 20 okuva mumaggombolola okuli eye Kitimbwa,Wabwoko ne Kayonza era kino…
Ebibiina by’obwanakyeewa bisabye gavumenti okwongezaayo eky’okuwandiisa abantu abafuna endagamuntu.
Omukungu mu bimu ku bibiina by’obwannakyeewa ekya Concern of Uganda agamba nti endagamuntu zino zirina akakwate ka maanyi ku kulonda kwa 2016
Ono agamba nti abantu bangi abaasubwa okuwandiisibwa nga bajja kuba bammibwa omukisa gwokulonda abakulembeze beebagaala
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Walusibi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Akabenje kano kabaddemu amotooka 3 omuli eyekika kya government number UG 2374 etomereganye ne Taxi number UAU 524L ate eno nayo netomeregana ne Toyata Canter number UAN 062J.
Bo abantu abasoba mu 14 bebateberezebwa okulumizibwa mu kabenje kano.
Poliisi ekutte n’eggalira omukozi wa TV Denis Katongole amanyiddwa nga Katongole omutongole.
Kigambibwa okuba nti bwezaali ng’ennaku z’omwezi 10 January, omutongole ono yatwaalako omuyizi we Namilyango owa siniya ey’okubiri eyali ava e Bulenga okudda e bweyogerere kyokka nga yakyaama n’amutwaala mu loogi e Kalerwe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agamba nti Katongole bamujje ku…
Enteekateeka z’amatikkira g’ettendekero ekkulu erya Makerere ag’omulundi ogwa 65,zongeddwamu amaanyi.
Abayizi 13,636 bebagenda okutikibwa weeki ejja okuva nga 21- 23 mu masomo agenjawulo, era ngabakufuna zi Diploma Degree, masters ne PHD.
Okusinzira ku mwogezi w’etendekero lino Ritah Namisango, abaana abawala 6730 bebagenda okutikirwa ate abalenzi bali 6906.
Wabula Namisango ategeza nga university bwetagenda kuttira kuliiso abayizi abalemeddwa okutukiriza…