Amawulire
Eyakuba ow’amawulire yeeyimiriddwa-Bannamawulire bekandazze
Omupoliisi eyakuba munnamawulire emiggo yeyimiriddwa oluvanyuma lw’okulabikako mu kkooti ya Buganda road olunaku lwaleero. Jorum Mwesigye agguddwaako misango gyakulumya Muntu, okumutusaako ebisango n’okwonoona ebintu. Kigambibwa nti emisango gino yagizza nga 12 omwezi guno bweyali mu maaso g’ebbaala ya Florina esangibwa ku luguudo lwe Namirembe. Avunaniddwa […]
Eyatuula ne muwala ebigezo ayise
Omusajja ow’emyaka 50 eyatuula ne muwala we ow’emyaka 13 ebigezo e Mayuge amuwangudde ng’ayitidde mu ddaala lisooka Awali Tezikuba nga mutuuze ku kyaalo bufulubi afunye obubonero 11 ate muwala we Janat Mukisa ayitidde mu ddala lya kubiri n’obubonero 20. Tumusanze mu maka ge ng’ali mu […]
Ekikwekweto ku Boda kiyodde eziwera
Poliisi y’ebidduka wano mu Kampala etandise ebikwekweto byaayo nga eyambibwako abakulembeze b’aba boda bano okukwata abo bonna aba boda abamenya amateeka gokunduudo. Mu bikwekweto bino ebyakamala ennaku 3, abagoba ba bodaboda 800 beebakagwa mu kitimba. Kino kidiridde ensisinkano wakati w’abakulembeze bano ne poliisi nebasalawo okukolera […]
Ab’enganda za Omuyekeera Ongwen bakukkulumye
Ab’enganda b’eyabadde omu ku baduumizi b’abayeekera ba LRA abakulemberwa ssabayeekera Joseph Kony nga ono ye Dominique Ongwen baagala basooke bamukoleko emikolo gy’obuwangwa bamwambulule emizimu emibi nga tanatwalibwa kuwozesebwa mu kkooti y’ensi yonna. Bano bagamba nti emikolo gino mu Acholi bagikola ku bantu abaali baawambibwa nebayingizibwa […]
PLE- ebigezo 1,344 bikwatiddwa, abalenzi bakubye abawala
Ebyava mu bigezo by’ekibiina ky’omusanvu eby’omwaka oguwedde bufulumiziddwa nga biraga nti abayizi baakoze bulungi okusingako ate omwaka gwa 2013. Abayizi abawerera ddala 60,956 bayitidde mu ddaala erisooka, 253,546 babadde mu ddaala lya kubiri, 127,350 babadde mu ddaala lya kusatu, 475,009 mu ddaala ly’okuna abayizi 68,759 […]
Paapa ali mu Phillipines
Papa Francis w’wowulirira bino nga ayolekedde eggwanga lya Philippines wakati mu kulindirirwa obukadde bw’abakulisitu aabsoba mu 80 . Papa wakutuukira mu kibuga ky’e Manila nga eno wakukubayo ekitambiro ky’emmisa. Oluvanyuma paapa wakwolekera ekitundu kya Tacloban okulaba ku bakaawonawo b’omuyaga ogwagoya ekitundu kino mu November wa […]
Lwakataka akomawo mu kooti leero
Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Posiano Lwakataka adda leero mu kkooti mu kkooti enkulu e Masaka okulaba oba anakirizibwa okweyimirirwa kweyasaba wiiki ewedde. Omulamuzi wa kkooti eno Margret Oumo Oguli olwaleero asuubirwa okusalawo oba Lwakataka avunanibwa okwetaba mu kutta abantu omwaka oguwedde mu disitulikiti ye […]
Mulangirire ebivudde mu kunonyereza ku ttemu
Mufti Wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje asabye ebitongole ebikuuma ddembe ebinonyereza ku kuttibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga okulangirira byebazudde mu lwaatu. Sheikh Mubaje agamba kino kyakuyamba okuleetawo obukkakkamu n’okulaba eky’okukola oluvanyuma . Mubajje agamba okuttibwa kw’abamaseeka kusajjudde enjawukana mu basiraamu kale nga singa kino tekikoma […]
Ebigezo bifuluma essaawa yonna
Essaawa yonna okuva kati ekitongole ky’ebyebigezo kyakufulumya ebyavudde mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo eby’omwaka oguwedde. Abayizi abasoba mu mitwalo 60 okuva mu bifo 3000 bebatuula ebigezo bino nga era banji okusinga ku batuula mu 2013 n’emitwalo egisoba mu 2. Ssabwandiisi w’ekitongole kino Mathew Bukenya agamba […]
Bannamateeka batabuse ku ssabalamuzi
Ekibiina ekigatta bannameteeka ekyaUganda Law Society kirangiridde nga bwekitagenda kwetaba mu mikolo gyakuggulawo mwaka gwa mateeka omuggya Bano beemulugunya ku kubulawo kwa ssabalamuzi omujjuvu. Akulira bannamateeka bano Ruth Sebatindira atandise okukunga bannamateeka bonna obutetantala kwetaba ku mikolo okulaga nti ssi basanyufu ne kya pulezidenti Museveni […]