Amawulire

Abavubuka ba JEEMA bagobye abakulembeze baabwe

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya  JEMA abalumbye ekitebe ky’ekibiina kino e  Kamwokya nebeddiza obuyinza ku nzirukanya y’emirimu gy’ekibiina. Bano balumiriza abakulembeze baabwe abakulirwa ssenkagale w’ekibiina  Asuman Basalirwa nti emirimu gibalemye nga balemereddwa n’okutegeka ttabamiruka w’ekibiina. Wowulirira bino nga abavubuka bano bebaddukanya emirimu mu kaseera kano […]

Abakyala abagambibwa okuba abatujju bayimbuddwa

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Abakyala babiri abagambibwa okuyambako abatujju ba Alshabaab okulumba Uganda omwaka oguwedde bayimbuddwa Ssabawaabi wa gavumenti Michael Chibita y’abajjeeko emisango ng’agamba nti tekyagulabamu kantu Mu ssabawaabi abitadde mu bbaluwa eriko ennaku z’omwezi 15th January 2015 ereeteddwa mu kkooti enkya ya leero. Yasimin Abdullahi Adenne  Hodan Ahmed […]

Ababeera okumpi n’omwala gwe Nalukolongo baakusengulwa

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Ebikumi n’ebikumi by’abatuuze ababeera kumpi n’omwala gwe Nalukolongo basabiddwa okwamuka ekifo kino okusobola okukolebwaako. Meeya we Lubaga Joyce Ssebugwawo agamba baagala kulaba nga bagaziya omwala guno okulwanyisa amataba agamazeeko abaguliranye emirembe buli lwettonya. Ssebugwawo agamba omwala guno buli lwegubimba ne mukoko gutawanya n’abatuuze mu bitundu […]

Paapa akomekkerezza obugenyi bwe mu Asia

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Paapa  Francis akomekerezza obugenyi bwe obw’ennaku 5 ku ssemazinga wa Asia mu ggwanga lya Philippines. Enkumi n’enkumi z’abakulisitu bakwatiridde ku nguudo nga basiibula papa ayolekedde Roma. Olunaku olw’eggulo abantu obukadde 6 baagumidde obutiti okuwuliriza ekitambiro ky’emmisa ya paapa. Paapa era y’atuuseko mu ggwanga lya  Sri-Lanka […]

Mutwale abaana bagemebwe- Museveni

Ali Mivule

January 17th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni asabye abazadde okutwaala abaana baabwe bagemebwe mu kugema poliyo okutandise leero okwetoolola eggwanga lyonna. Bw’abadde ayogerako eri abantu be Mulo ekisangibwa e Rubanda, pulezidenti agambye nti abazadde basaanye okukulemberamu omulimu gw’okukuuma ebaana baabwe nga balamu Pulezidenti asoose kugema baana nga tannayogerako eri bantu. […]

Okwekalakaasa kusse bana

Ali Mivule

January 17th, 2015

No comments

Abantu 4 bafiridde mu kwekalakasa mu ggwanga lya Niger ngabawakanya olupapula lw’amawulire mu ggwanga lya Bufalansa olwa Charlie Hebdo okukuba ebifananyi bwa Nabbi Muhamed mu bifanyanyi ba Cartoon. Amakanisa agawerako wamu n’ebifo ebyobuwangwa bitekeddwa omuliro abantu ababadde bekalakasa. Okwekalakasa kuno kuzze ngawakayitta weeki emu ngabamukwata […]

Enkayaana z’ettaka zibigudde e Kayunga

Ali Mivule

January 17th, 2015

No comments

Ng’omwaka gwakatambulako mbale  emirerembe gyebyetaka gisitudde butto mu district ye Kayunga. Kino kiddiride  amawulire okweyongera okusasaana  nga abakulira district ye Kayunga bwebatunda ettaka eriweza acres omutwalo gumi eri kampuni ekonzi ya sukali eyitibwa Kayunga Sugar Ltd kyoka erina office mukibuga Kampala. Ettaka erigambibwa okutundibwa lizingiramu […]

Mwongezeeyo okuwandiisa abagaala endagamuntu

Ali Mivule

January 17th, 2015

No comments

Ebibiina by’obwanakyeewa bisabye gavumenti okwongezaayo eky’okuwandiisa abantu abafuna endagamuntu. Omukungu mu bimu ku bibiina by’obwannakyeewa ekya Concern of Uganda agamba nti endagamuntu zino zirina akakwate ka maanyi ku kulonda kwa 2016 Ono agamba nti abantu bangi abaasubwa okuwandiisibwa nga bajja kuba bammibwa omukisa gwokulonda abakulembeze […]

Babiri bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

January 17th, 2015

No comments

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Walusibi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja. Akabenje kano kabaddemu amotooka 3 omuli eyekika kya government number UG 2374 etomereganye ne Taxi number UAU 524L ate eno nayo netomeregana ne Toyata Canter number UAN […]

Katongole omutongole akwatiddwa

Ali Mivule

January 16th, 2015

No comments

Poliisi ekutte n’eggalira omukozi wa TV Denis Katongole amanyiddwa nga Katongole omutongole. Kigambibwa okuba nti bwezaali ng’ennaku z’omwezi 10 January, omutongole ono yatwaalako omuyizi we Namilyango owa siniya ey’okubiri eyali ava e Bulenga okudda e bweyogerere kyokka nga yakyaama n’amutwaala mu loogi e Kalerwe. Amyuka […]