Amawulire
Abagambibwa okubeera abatujju bali mu kkooti- eby’okwerinda kasiggu
Poliisi ekkakanya obujagalalo eyiiriddwa okwetolola kkooti enkulu mu kwetegekera okuddamu okuwulira omusango gw’abantu 12 abavunanibwa okutega bbomu ne zitta abasoba mu 70 ku Kyaddondo Rugby Grounds ne ku baala ya Ethiopian Village. Wowulirira bino nga abavunaanwa batuuse wakati mu bukuumi obwekitalo nga era baasi mwebabadde […]
Emirambo ginyuluddwa mu mazzi
Poliisi eriko emirambo ebiri gy’enyuludde mu mazzi mu bitundu bibiri ebyenjawulo. Omulambo ogumu gunyuluddwa mu kidiba ky’amazzi e Luweero nga gwa musajja mukadde wa myaka 70 ng’ategerekese nga Musisi Kalema Ogw’okubiri gujjiddwa mijeera Nakasongola ng’ono yye yabadde agenze kuwuga era nga ye Lawrence Ola Omwogezi […]
Abakwatibwa ku basiraamu bagguddwaako gwa butujju na ttemu
Abakulembeze b’abayisiraamu omukaaga abakwatiddwa olw’okutta banaabwe bagguddwaako gya butujju Ku bano kwekuli Sheikh Siraje Kawooya, Abdul Salam Sekayanja Abdul Sematimba, Rashid Jjingo ,Twaha Ssekitto ne Yusuf kakande. Bavunaaniddwa mu maaso gw’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakawa Timoth Lumunye atabakkirizza kunyega kintu kyonna kubanga emisango gyebaliko gyannaggomola […]
KCCA yeddizza paaka
Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority olwaleero mu butongole beddizza entambula ya Taxi mu kibuga Abasirikale b’ekitongole kino balabiddwaako ku miryango gya paaka enya okuli enkadde n’empya, eya USAFI ne mu Kisenyi. Bano babadde bambadde yunifoomu za KCCA era nga babadde ne ku siteegi ezitali […]
Aba Bokoharam babasinzizza amaanyi
Abantu 20 ku abo ekinaana abawambibwa bamukwatammundu ba Bokoharam mu Cameroun bayimbuddwa Minisita wa Cameroun akola ku nsonga z’eby’okwerinda ategeezezza nti abawambibwa bayimbuddwa amaggye bwegatandise okulumba enkambi yaabwe nga kati batandise okudduka okuddayo mu Nigeria. Abasinga ku bawambibwa baana bato. Bano beebantu abakasinga okubeera abangi […]
Abawolereza Ongwen beeyongedde
Bannamateeka abasoba mu 30 beebakasaba gavumenti okuwolereza eyali omuduumizi wa LRA Dominic Ongwen mu kkooti y’ensi yonna. Minisita omubeezi akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Oryem ategeezezza bannamawulire nti bannamateeka ba bawandiikidde ssabwolereza wa gavumenti Oryemu agamba nti Ongwen wakukkirizibwa okubeera nebannamateeka okusobola okwewozaako. Ono […]
Munnamawulire eyakubwa yandisiibulwa enkya
Munnamawulire eyakubwa omu poliisi bweyali ali ku gigye yandisibuulwa olunaku lw’enkya. Andrew Lwanga tumulambuddeko olwaleero n’atutegeeza nti kati ajja atereera yadde ng’amagulu ggo gakyesibye olw’okusanyalala. Lwanga agamba nti asuubira olunaku lw’enkya okuweebwa olukalala okuli ensimbi ezimubanjibwa luweebwe poliisi esasule nga bweyasuubiza Lwanga yakubwa wamu n’owa […]
Babasenze ku kibira
Poliisi mu disitulikiti ye Mukono ekutte abantu 112 abaali besenze ku kibira kye Namanve mu bukyaamu Abantu bano ng’abasinga bazirwanako , bamulekwa ne bannamwandu b’abazirwanako babadde batandise okulimira ku kibira nga bagamba nti nabo balina okuganyulwa mu kununula eggwanga. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred […]
yekyaaye neyetuga
Ebadde ntiisa eri abatuuze be Kyabi e Lugusulu Sembabule, omusajja ow’emyaka 33 bw’asangiddwa ku muti ng’alebeeta. Omulambo gwa Hassan Majwiga gusangiddwa mu nimiro y’omu ku batuuze John Bbaale . Muganda w’omugenzi Boniface Bwowe agambye nti omugenzi yababulako olw’okusatu oluwedde era babadde bamunoonya okuva olwo. Bwowe […]
Wetonde- Pulezidenti Museveni assiddwa ku nninga
Ssentebe w’akakiiko akagatta eddiini ez’enjawulo mu kitundu kya Kigezi Fr Geatano Batanyenda atadde omukulembeze w’eggwanga ku ninga Yoweri Museveni yetondere bannayuganda olw’okuyita ab’oludda oluvuganya gavumenti emisege , n’okuyita eggye ly’eggwanga eggye lye. Fr Geatano agamba bino byonna binyomoola ssemateeka w’eggwanga n’enkola ey’ebibiina ebinji. Agamba ab’oludda […]