Amawulire
NRM tejja kukkiriza bagiyekeera mu kibiina
Ab’ekibiina kya NRM bagamba nti tebajja kukkiriza bannakibiina abamu bannakigwanyizi abagaala okutegeka emikolo egyaabwe egy’amenunula Ng’ayogerako eri bannamawulire , minisita omubeezi akola ku bukuumi, Muruuli Mukasa agambye nti emikolo emikulu gyakubeera Soroti era abategese egyaabwe e Namboole bali ku byaabwe Kiddiridde ekibinja ky’abavubuka mu NRM […]
Nabagereka primary school esendeddwa
Ba wanyondo ba kkooti bakedde kukoona ssomero lya Nabagereka Primary school erisangibwa mu kisenyi. Ettaka okutudde essomero lyaguzibwa omuggagga Bosco Muwonge mu mwaka gwa 2010 era ng’abadde buli lukya ayagala kulisengula. Bawanyondo bano bakedde nawankya era abasomesa abaasuze ku ssomero lino kibaweddeko okulaba nga buli […]
NRM ewangudde Busia
Munna NRM Stephen Oudo Wanyama ye ssentebe wa disitulikiti ye Busia. Oudo y’amezze munnaDP eyasimbiddwawo ab’oludda oluvuganya gavumenti Deo Njoki n’obululu 31443 ku 21844 obwa Njoki. Akulira okulondesa mu mu disitulikiti ye Busia Sam Agaba yeyalangiridde ebyavude mu kalulu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro nga […]
Ab’ebitundu bateese mu luganda- Nambooze
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke ateesezza oluganda lweluba lukozesebwa mu entuula z’enkiiko za municipaali lwo oluzungu lusigale mu kuwandiika biteeseddwako. Bino Nambooze y’abyogeredde mu lukiiko lwa municipaali olusookedde ddala omwaka guno n’anokolayo enyingo namba 6 mu ssemateeka afuga municipaali eno etangaaza ku nsonga eno. […]
Abasomesa batabuse- balumbye minisita
Abasomesa wansi w’ekibiina kyabwe ekibataba balumbye ekitebe kya minisitule y’ebyenjigiriza okubanja ensimbi zaabwe ez’ebibiina by’obwegassi. W’owulirira bino nga batuuse ku kitebe kino okumanya lwaki tebaweebwa nsimbi zaabwe ez’okwekulakulanya Abasomesa ne minisitule bali ku mbiranye olw’obuwumbi 25 obwaweebwa pulezidenti Museveni okugenda eri abasomesa mu bibiiba byawe […]
Essomero limenyeddwa
Waliwo ababbi abatanategerekeka abaalumbye essomero lya Seeta college e Mukono nebabba ebintu by’essomero lino ebibalirirwamu byabukadde okuli compyuta 42. Akulira essomero lino Zawedde Kigoonya ategezezza nga bwebasaanze nga ebisenge ebisinga byawomoddwamu ebituli nga wano ababbi mwebaayise. Yye omukuumi w’assomero lino yamazemu dda omusubi nga kati […]
Abayizi abalala batikkidwa, Nalulungi yoomu ku bo
Senkulu w’ettendekero ekkulu erye Makerere Prof Mondo Kagonyera obuli bw’enguzi obukudde ejjembe mu ggwanga abutadde ku butaba na mpisa. Nga ayogera ku matikkira g’omulundi ogwe 65, Prof Kagonyera ategezezza nga olutalo okulwanyisa amayisa amabi bwelulekeddwa eri gavumenti sso nga abazadde basaana okubuulirira abaana baabwe ku […]
Okulonda e Busia kutambula kasoobo
Abalonzi mu kulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Busia bakyaali baamuswaba. Okuva ku ssaawa 2 okulonda wekwaguddewo, abantu bakyaali baalubatu abajja okusuula akalulu kaabwe. Bbo abesimbye 2 baasudde dda obululu bwabwe. Munna DP Deo Njoki alondedde ku ssomero lya Buhorwe primary ate munna NRM Sam […]
Omu afiiridde mu kabenje
Omuntu omu afiiriddewo n’abalala 36 okubadde n’abaana abawere basatu nebaddusibwa mu malwaliro okuli Gombe ne Nkozi nga bali bubi oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje. Kino kiddiridde bbaasi mwebabadde basaabalira okuseerera wakati mu lukubakuba olubadde luwandagirira neeremerera omugoba waayo neyekatta ennume y’ekigwo. Bbaasi eno No. UAP 889L […]
Abe Nkumba bazzeeyo
Abayizi b’ettendekero lye Nkumba abaali baagobwa olw’okwekalakaasa basambira mageba nga jjanzi oluvanyuma lw’okukkirizibwa okuddayo basome. Yunivasite eno eyise mu munnamateeka waayo Andrew Munanura, awaddeyo ebbaluwa eri omulamuzi wa kkooti enkulu Yasin Nyanzi ekkiriza abayizi bano okudda basome. Omulamuzi kati fayilo y’omusango guno agisindise mu kkooti […]