Amawulire
Ebbula ly’ensimbi likosezza abe Makerere
Ebbula ly’ensimbi ky’ekizibu ekikyasinze okusoomoza entambuza y’emirimu ku ttendekero ekkulu e Makerere. Nga ayogera ku matikkira g’e 65 ag’ettendekero lino, amyuka Kyansala w’ettendekero lino Prof Ddumba Ssentamu ategezezza nga bwebatandisewo emirimu egyenjawulo okukendeeza ku muwaatwa gw’ebbula ly’ensimbi ku yunivasite eno. Ddumba yebazizza pmukulembeze w’eggwanga Yoweri […]
Amir Kamoga akwatiddwa
Omukulembeze w’abayisiraamu omulala akwatiddwa. Amir Umma Yunus Kamoga nga y’omu ku bakulembera abatabuliiki mu ggwanga kigambibwa kuba nga yakwatiddwa okuva ku Hotel ya Equatoria akawungeezi akayise. Ono yeegasse ku bamaseeka 6 abaakwatibwa gyebuvuddeko ku byekuusa ku kutibwa kwa seeka Mustafa Bahiga eyakubwa amasasi. Ono nga […]
Ogw’omwana eyattibwa ku KCCA gulanze
Kkooti kyaddaaki etaddewo olunaku lw’enasalirawo eggoye ku kya dereeva eyatomera omwana n’amuttira ku KCCA. Omulamuzi w’eddaala erisooka Joan Aciro ataddewo olunaku lwa nga 23rd omwezi ogujja okuwa ekyenkomeredde ku nsonga za Baguma Anywali . Kidiridde oludda oluwaabi olukulembeddwaamu Immaculate Nyambajju okutegeeza kkooti nti bakyetaaga okuzzaayo […]
Bannabyabufuzi bagula abalonzi- Alipoota
Alipoota efulumiziddwa ebibiina by’obwa nnakyeewa eraga nti bannabyabufuzi omuli n’aba palamenti basasula abalonzi ensimbi nga bangi bakozesa wakati w’obukadde 4 ne 10 buli lwebayita mu bitundu gyebalondera Alipoota eno efulumiziddwa ab’omukago ogulondoola ensasnya mu byobufuzi ng’eraga nti abalonzi basaba ababaka ba palamenti ensimbi okumaliriza ebizibu […]
Gwebakutte abba bamusse
Abantu ababadde bataamye obugo ku kyaalo Malongo mu disitulikiti ye Lwengo baliko omusajja gwebafumise ebiso ebimusse nga bamulanga kubba mairungi Omusajja onoa tegerekeseeko lya Mande ng’asingiddwa nga mufu wa jjo ng’omulambo gwe gugangalamye mu ssamba ya mayirungi esangibwa e Malongo. Mande ono yattiddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa […]
Bana bafiiridde mu kwekalakaasa
Abantu bana beebafiridde mu kwekalakaasa okubaadde mu ggwanga lya Democratic Republic eya Congo Bano babadde bawakanya eky’omukulembeze ali mu ntebe Joseph Kabila okweyongeza ekisanja Okwekalakaasa kuno kubadde mu kibuga ekikulu Kinshasa
Poliisi efulumizza amateeka ku bye Makerere
Poliisi efulumizza amateeka aganagobererwa abo abalina abaana abatikkirwa e Makerere okuva olunaku lw’enkya Abayizi 13,636 beebagenda okutikkirwa okuva nga 21 okutuuka nga 23 omwezi guno mu masomo agatali gamu nga bakufuna dipulooma, degree, n’ebirala. Geeti enkulu eyingira ettendekero egenda kukozesebwa bazadde n’abagenyi abayite ate bbo […]
Akalulu ke Busia kakutte akati- abeesimbyeewo bawera
Akakiiko akalondesa kamaze okuweereza ebinakozesebwa mu kulonda ssentebe wa distulikiti ye Busia ku lw’okuna. Okuddamu okulonda mu kitundu kino kwaddirira kkooti okugoba Ouma Adea eyali ssentebe nga bamulanga kuvvoola ofiisi ye. Akulira akakiiko kano Eng Badru Kiggundu agamba nti okulonda kwakutambulirira ku mazima na bwenkanya […]
Basalirwa azzeeyo mu ofiisi
Akulira ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa olwaleero ezzeeyo mu ofiisi ye Abavubuka b’ekibiina ky’akulira olunaku lwajjo baawambye ofiisi ye nebalangirira nga bwebagobye abakulembeze bonna. Ng’ayogerako eri bannamawulire ng’asinziira mu ofiisi ye, Basalirwa agambye nti ataddewo okunonyereza okuzuula abatuufu abaakoze akavuyo k’okuwamba ekibiina. Basalirwa agamba nti […]
Abavubuka bakwatiddwa
Abavubuka 6 abegattira mu kibiina kyaabwe eky’abatalina mirimu bakwatiddwa. Abakwatiddwa kuliko Rashid Serunjogi, Fionah Asiimwe, Prince Babi Kahemba, Robin Wabulembo, Habib Buwembo ne Bethel Awungi. Bano babadde bakulembeddwamu Doreen Nyanjura wabula poliisi ebasaliddeko wali ku shoprite nga bakumba boolekera ku kitebe kya poliisi e Naguru […]