Amawulire
300 bafunye emidaali
Abantu abasoba mu 300 beebawereddwa emidaali ku mikolo gy’amenunula egibadde e Soroti Akulira akakiiko akagaba emidaali Gen. Elly Tumwine y’asomye amannya g’abatoneddwa okubadde ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda, Ali Kirunda , Joseph Bigirwa, Katumba Wamala,Julius Odwe, John Michael Ariong, n’aba Madvhani. Ng’ayogerera kuno, pulezidenti Museveni asekeredde […]
AKabenje katuze babiri
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akaatuze abantu babiri ku luguudo lw’entebbe olunaku lwajjo. Akabenje kano akaagudde e Katabi keetabiddwaamu motoka no UAV 971 T eyakoonye bodaboda eyabadde etisse abantu basatu Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omu ku bafudde ye dereeva w’emotoka […]
akabenje katuze 15, 14 ba nju emu
Abantu 15 bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyaalo kisibo okuliraana ekibuga kye bombo. 14 babadde ba mu maka gamu nga bava kuziika e Nakaseke Babadde batambulira mu taxi ekonaganye ne Landcruiser ng’eno nayo abadde agivuga afiriddewo
Akakiiko akanaakola ku mazaalibwa g’omutanda kalangiriddwa
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 alonze akakiiko k’abantu 7 akagenda okukulemberamu entekatekz z’amazalibwa ge ag’emyaka 60 egy’obuto. Amazalibwa ga Ssabasajja gakuzibwa nga 13 omwezi ogw’okuna, mu Bulange e Mengo, era Ssabasajja wakukwasibwa ekizimbe kya Masengere, ekizimbibwa mu mbirizi za Bulange. Okusinzira ku […]
Omuliro gukutte amayumba
Omuliro gukutte amayumba ku mwaalo gwe Lambu ebintu bya bukadde be bisanaawo. Amyuka atwala omwaalo guno John Kiyimba agamba nti omuliro guno gusanyizzaawo amayumba agasoba mu 20. Kiyimba agamba nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku sigiri erekeddwa mu emu ku nyumba eziyidde Wabula Kiyimba […]
Kampuni za bettingi zikaligiddwa
Gavumenti eyongezezza ensimbi ezirina okusasulwa ssente za betingi ezitandika Kati abalina kkampuni zino bakusasula obukadde 500 okuva ku bukadde 200 Kino kigendereddwaamu kulaba nti basengejja okujjamu kkampuni eziyinza okuba nga zeenonyeza byaazo. Akulira ekibiina ekirambika emizannyo gya zaala mu ggwanga Manzi Tumwine agamba nti olw’ensimbi […]
Pioneer ekyaali bubi
Ebizibu bya kkampuni ya baasi eya Pioneer easy bus tebiggwa. Kati ab’ekisaawe kye Namboole beebagikubye mu mbuga z’amateeka lwabutasasula webasimba baasi zaawe. KKampuni eno ebanjibwa obukadde 221 ezizze zeetuuma Abe Namboole abakikiriddwa kkampuni ya Egou, Engewau Advocates egamba nti mu mwaka gwa 2012, bategeragana ne […]
Abasiraamu abakwate- gavumenti enyonyodde
Gavumenti enyonyodde okukwatibwa kwabamu ku bakulembeze bab’abasiramu okugenda mu maaso mu ggwanga. Abasiramu 18 bebakakwatibwa kubigambibwa nti benyigira mu kutta sheikh Abdu Kadri Muwaya ne sheikh Mustafah Bahiga abattibwa omwezi oguwedde. Minister w’obutebenkenvu mu ggwanga Muluri Mukasa agambye nti abakwatiddwa betagibwa okuyambako poliisi mu kunonyereza […]
KCCA erumbye abakola ku by’enjigiriza
Ekitongole kya KCCA kinenyeza ministry y’ebyenjigiriza obutakola kimala okutaasa esomero lya Nabagereka primary school. Esomero lino limenyeddwa ku makya galero bawanyondo ba kooti ngabakulembeddwamu omugagga John Bosco Muwonge eyafuna liisi ku ttaka lino okuva mu kitongole kya Uganda Land Commission. Omwogezi wa KCCA Peter Kauju […]
Abavuganya balumbya akakiiko akalondesa ku Busia
Abavuganya bagamba nti ekyabawanguzza e BUsia kutiisibwatiisibwa Munna NRM Stephen Ouma Wanyama yawangudde munna DP Deo Njoki Nampala wa DP mu palamenti Ssebuliba Mutumba agamba nti okukola ennongosereza mu mateeka g’okulonda kulina okubaawo okulonda kwa 2016 bwekuba nga kwakubeera kutangaavu Wabula bbo ab’akakiiko k’ebyokulonda basabazze […]