Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

MUfti yetondedde abayisiraamu

Mufti wa Uganda Sheik Shaban Mubajje olwaleero yetondedde abayisiraamu bonna olw’ensobi z’akoze mu myaka 20 egiyise Mu kusaba okw’enjawulo okw’obumu okubadde ku muzikiti gwa kampala mukadde, Mubajje asuubizza nti essuula empya egenda okuggulwaawo. Mu kusaba kuno Sheikh Sulaiman Kakeeto, Amir Ummah Yahaya Ramathan Mwanje n’owa sipidika balangiridde nga bwebazzeemu okukolagana. Wabula yadde nga bano basabidde obumu, amyuka supreme…

Read More

Eggye ku ba Bokoharam lijja

Omukago gw’amawanga ga Africa guwagidde eky’okutondawo eggye erinalwanyisa aba Boko haram Akulira omukago guno agambye nti akabinja kano kafuuse kamaanyi nga keetaga kukwasisa maanyi. Bano kati bakuwereezaayo abajaasi emitwalo musanvu n’ekitundu Aba Bokoharam bawambye ebifo ebiwera mu Nigeria nga batandise okuyingira mu Benin, Cameroon, Chad ne Niger

Read More

Nabakyala Kemigisha mulimba- Kkooti

KKooti erangiridde nti Nabakyala we Tooro Best Kemigisha mulimba Kiddiridde omulamuzi w’eddaala erisooka Simon Kintu okugoba omusango gweyali yawaaba munnamateeka Bob Kasango nti yamubbako ensimbi. Omulamuzi agambye nti Nabakyala Kemigisha yalimba poliisi bweyategeeza nti Kasango yamuwangako yadde ekikumi kyokka ate mu kkooti n’agamba nti yamuwa ensimbi ezikunukkiriza mu kawumbi. Omulamuzi era agambye nti obujulizi bwa Kemigisha bwaali bujjudde…

Read More

Okulonda e Bugiri gwa mu gwakusatu

Akakiiko akalondesa kalangiridde olunaku lwa nga 19 omwezi gw’okusatu ng’ogw’okulonderako ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri omuggya Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvanyuma lwa ssentebe Marijani Azalwa okusingisibwa omusango gw’okukuba munne bwebaali besimbyeewo David Mulengeni mu kulonda kwa 2011. Akulira akakiiko akalondesa Eng. Badru Kigundu agamba nti abo bonna abagaala okwesimbawo bakuwandiisibwa nga 23 ne 24 era bayigge akalulu…

Read More

Abazigu balumbye abantu- babatemyetemye

Abantu abatannaba kutegerekeka balumbya abantu bana ab’omumaka agamu nebamatemateema n’enju yaabwe nebagiteekera omuliro. Kenneth Kalongo, Geoffrey Ntezimana, Margret Tusimire ne maama waabwe  Molly Kyomugasho beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulumbibwa misana ttuku Bino bibadde ku kyaalo Yibale mu gombolola ye , Ntuusi ng’amaka agalumbiddwa ga Benoni Kazujyuri. Abatemu bano era babbye n’ensimbi enkalu ezitanyiddwa muwendo. Kazujyuri agambye…

Read More

Etteeka ku masimu lijje

Waliwo munnayuganda addukidde mu palamenti ng’ayagala esseewo etteeka erinayamba abakozesa amasimu obutabbibwa. Justus Amanya agamba nti kkampuni z’amasimu zafuuse nzibi zenyini nga zisala n’ensimbi ku masimu agatayiseemu okwo kw’ossa n’emikutu egisakaala Bw’abadde asisinkana sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, Amanya agambye nti n’akakiiko kenyini akakola ku byempuliziganya tekayambye ba kasitoma Kati Kadaga asuubizza ng’ensonga eno bw’agenda okugitegeeza akakiiko akakola…

Read More

Aba dereeva bakwatiddwa lwakulwaana

Abakulembe ba badereeva mu paaka enkadde babiri bagguddwaako emisango nebasindikibwa e Luzira lwakukuba ba dereeva banaabwe Ku basibiddwa kuliko Michael Ssekiziyivu akulira eby’okwerinda aka TAPSCOM era ng’ono mukwasisa mateeka mu KCCA. Basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Pamela Ocaya emisango nebagyegaana Oludda oluwaabi lugamba nti ba dereeva bano nga basinziira mu paaka enkadde baakuba David Mwanje ne Simon…

Read More

Alwanaganye ne poliisi atiddwa

  E Rakai waliwo omusajja akubiddwa amasasi agamutiddewo bw’abadde alwanagana n’abaserikale ba poliisi ababadde bagenze okumukwata. Bernard Kasumba y’atiddwa oluvanyuma lwa lwa poliisi okumuzingako akwatibwe lwakulumba muwalala wa muliraanwa we n’ejambiya n’amutematema era nga kati ye Phionah Namaganda ali muddwaliro mu mbeera mbi. Kusumba abadde yaakayimbulwa okuva mu kaduukulu ka poliisi lwakunywa njaga nga era abadde awera okutema…

Read More

Abakozi ba Speke Hotel bediimye

Poliisi eyiiriddwa okwetolola Hotel ya Speke wano mu Kampala oluvanyuma lw’abakozi okukeera okwediima nga bawakanya embeera embi gyebakoleramu. Poliisi ekulembeddwamu aduumira poliisi mu massekati ga Kampala Henry Kintu nga era agamba nti bafuba kulaba nga abakozi bano abasoba mu 100 teboonona kintu kyonna n’obutakola ffujjo lyonna. Gyebuvuddeko twayogeddeko n’abakozi bano neboogera ekibaluma. Mungeri yeemu ekibiina ekigatta bananyini zi…

Read More

Abasiraamu besunga Juma ebagatta

Eby’okwerinda binywezeddwa ku muzikiti gwa Old Kampala nga ebiwayi by’abasiraamu ebyenjawulo byetegekera swala ya Juma egendereddwamu okugatta abasiraamu bonna. Swala ya Juma yakukulemberwamu Mufti wa Uganda Sheikh Ramadan Mubajje . Mubatalutumidde mwana kwekuli ssentebe wa disitulikiti ye Luwero Haji Abdul Naduli akubirizza abasiraamu bonna okwerabira enjawukana begatte. Wabula kyo ekiwayi ky’Kibuli ekikulembererwamu  Supreme Mufti Sheik Zubairi Kayongo baweze…

Read More