Amawulire
Omwana asangiddwa nga mufu
Ku kyaalo Tekulu mu minicipaali ye Lira, waliwo omwana w’ekibiina ekisooka asangiddwa nga mufu wajjo Omwana ono abadde yeebase mu kayumba okuliraana essundiro la Gapco kilomita nga 70 okuva ku nju yaabwe Mwanyina w’omugenzi Monica Akao agambye nti mutabani we yavudde ewaka ssaawa nga emu […]
Omulambo e Namugongo- attiddwa banyina
Abatuuze be Kyaliwajjala Namugongo baguddemu entiisa bwebasanze omu ku munaabwe ng’agalamidde mu kitaba ky’omusaayi nga mufu wajjo Omukyala ono abadde n’ebiwundu ebya maanyi ku mubiri gwe gwonna. Kiteberezebwa nti omukyala ono atemeddwatemeddwa banyina ng’obuzibu bwonna nkayaana za ttaka Atwala poliisi ye Kiira Peter Nkulega agamba […]
Palamenti eddamu nkya
Palamenti ya yuganda olunaku olw’enkya lw’etegese okuddamu okukakkalabya emirimo gyaayo, ng’eva mu luwummula lw’emazeemu ebbanga okuviira ddala mu December. Agavaayo galaga nga palamenti egenda okutandikira mu ky’okuteesa ku bbago erirambika okuwandiisa abantu n’eryo erissaawo ebibonerezo ebikakali eri abalya enguzi Ng’ayogerako eri bannamawulire , omwogezi wa […]
Abatembeeyi bakubiddwa mizibu
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omusuubuzi akubye abatembeeyi katono abatte lwakukyama mu maka ge okuguza ku b’enyumba ye ebintu. Abatembeeyi okuli Brian Matovu 30 ne David Mbazira 25 baddusiddwa mu ddwaliro lya Butenga Health Center nga bali bubi oluvanyuma lw’okuwuttulwa […]
Gavumenti evudde mu Ongwen
Gavumenti esuubizza kkooti y’ensi yonna obuyambi bwebetaaga mu kuwulira omusango gw’eyali omuyeekera wa Kony nga ono ye Dominic Ongwen. Nga ayogerako ne bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala, ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ategezezza nga bweyaweerezza edda ebbaluwa eri kkooti y’ensi yonna okulaga obumalirizu […]
Muntu akkirizza nti ekibiina tekirina ssente
Ssenkagale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu akkirizza nga ekibiina kye bwekitubidde mu katuubagiro k’ebyensimbi. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi Muntu ategezezza nga bwebatasobola kutalaaga ggwanga kumanyisa bantu ku bigendererwa by’ekibiina lwabbula lya nsimbi. Omusango agutadde ku gavumenti kulemererwa […]
Lukwago alumbye gavumenti ku masomero agatundibwa
Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago ateeredde gavumenti akaka olw’okulemererwa okukuuma amasomero okuva eri bamusiga nsimbi abesomye okugasayawo beddize ettaka kwegatuula bazimbewo ebizimbe . Bw’abadde ayiseeko ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary School, Lukwago ategezezza nga bwekitali kyabwenkanya gavumenti kuwaayo masomero gano nga tenateekeratekera wakuzza baana […]
Buganda Royal Institute etikkidde
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga ayagala ettendekero lya Buganda Royal Institute lifuuke eky’okulabirako eri amatendekero k’ekika kino mu kitundu kya East Africa. Ng’ayogerera ku mikolo gy’okutikkira abayizi, katikkiro agambye nti emisomo gy’omumitwe gisaanye okwongerwaamu amaanyi ebbula ly’emirimu bweriba nga lyakuggwaawo. Ono agamba nti […]
Kayisanyo kakuzza baana mu masomero
Kayiisanyo mu kibuga Kampala ng’abazadde bagula ebyetaagisa okuzza abaana ku masomero. Ebintu biwanikiddwa ebbeeyi naddala engatto z’abasomi n’ebikozesebwa kyokka nga kino tekirobedde bagula Mu banka , enkalala mpanvu nga tuyiseeko mu banka ezimu ezisinga okusasulibwaamue nsimbi z’abayizi ng’enkalala zikwatiridde Mu kikuubo, abaayo banoga wakati mu […]
Ebigezo by’abasiraamu bifulumye
Entendekero lya Islamic University in Uganda lifulumiza ebyava mu migezo bya s.4 ne s. 6 eby’eddini. Abaana 412 beebatuula ebigezo bya s.4 okuva mu masomero 38 ate abayizi 107 bebatuula ebigezo bya s.6 okuva mu masomero 14. Abaana 34 beebafunye eddaala erisooka mu s.4 nga […]