Amawulire

Abe Mulago balemereddwa okukkanya nebebabuliza omwana

Ali Mivule

February 4th, 2015

No comments

Gavumenti eremereddwa okutuuka ku nzikiriziganya ne bazadde abaabulwako omu ku balongo baabwe mu ddwaliro ekkulu e Mulago. Ssabawolereza wa gavumenti abadde asuubirwa okutegeeza kkooti ssente meka zebagenda okuliyirira abafumbo bano wabula tekisobose. Omulamuzi wa kkooti enkulu  Lydia Mugamba katyi alagidde okuwulira omusango guno kutandike nga […]

Ababaka balumbye gavumenti ku masomero

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga balumbye gavumenti olw’obutakola kimala kukuuma masomero agasanyizibwaawo Okwemulugunya kuno kuleeteddwa omubaka we Lwemiyaga ng’ono ensonga ye ewagiddwa ababaka okubadde Medard Ssegona, JosephSsewungu, Odonga Otto,ne  Paula Turyahikayo nga bonna basabye nti gavumenti enyonyole lwaki terina ky’ekoze ng’amasomero gagenda Wabula ekyewunyisizza minisita […]

Wakiso enywedde mu zinaazo akendo

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Disitulikiti ye Wakiso y’enywedde mu distulikiti zonna akendo mu bigezo bya siniya y’okuna ebifulumiziddwa. Disitulikiti eno evuddemu first grade 5009 ng’eddiddwaako Kampala ne first grade 3,329 nekuddako Mukono, Mbarara, Luweero, JJinja ne Bushenyi Ate zzo ezisinze okukola obubi kuliko Buvuma,Namayingo,  Amorati ,Nakapiripiriti ,Bukwo Bulisa ,Kalangala, […]

Ebya Loodimeeya byekulula

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Enteekateeka za loodimeeya okudda mu ofiisi zongeddwaamu amaanyi ssabaminista Dr Rukahana Rugunda bw’asisinkanye ba kansala Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza ba kansala nti ekyayisizza olukiiko kumanya wa obuzibu webuva mu KCCA n’engeri gyebiyinza okwewalibwa. Ono wabula asabye ba kansala bano okussa ekitiibwa mu biri mu kkooti […]

Akabenje kasse babiri

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

  Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu kooki ebadde eva e Nairobi ng’edda e Kigali Abafudde babadde ku baasi eno ng’omu ye Kango, abadde agivuga era munnansi wa Tanzania n’omukyala atategerekese Atwala poliisi ekola ku bidduka e Rwizi Patrick Mungasa agamba nti dereeva ono kirabika […]

Abapoliisi bakwatiddwa lwakutamiira nga bali ku mirimu

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Poliisi ye Seeta Nazigo mu disitulikiti ye Mukono eriko basajja baayo bekutte lwakunywa nnyo mwenge neberabira emirimu saako n’okubuzaawo fayilo z’emisango. Abakwatiddwa kuliko n’atwaala poliisi ya  seeta Nazigo Steven Were ne  Okero Wadanga. Bano bakwatiddwa ku biragiro by’aduumira poliisi e Mukono  Kayemba Kikonyogo oluvanyuma lw’abatuuze […]

Omwana atomeddwa n’afiirawo

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Waliwo omwana ow’emyaka 4 atomeddwa pikipiki  n’afiirawo ku luguudo lwe Rakai. Jimmy Lubega 4, nga abeera Kyotera mu tawuni kanso ye Rakai atomeddwa pikipiki eno UEF 954Y ebadde efuumuka obuweewo nga adda ewaka. Taata w’omugenzi  David Matovu  ategezezza nga mutabaniwe bwatomeddwa nga ava ku dduuka […]

Ebivudde mu siniya y’okuna bifulumye- 1939 bikwatiddwa

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Ebyava mu bigezo bya siniya 4 bifulumye nga era abayizi bakoze bulungi okusinga ku mulundi ogwayita. Abalenzi  bakozi bulungi okusinga banaabwe abawala nga era abalenzi 9.2% bayitidde mu ddaala erisooka bwogerageranya n’abawala  ku bitundu  6.1% Wabula ebigezo by’abayizi 1939 bikwatiddwa lwa kubba bigezo okuva mu […]

Mu Misiri kika- 183 bakuttibwa

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Kkooti eremezzaayo ekibonerezo ky’okutta abantu 183 abagambibwa okwekalakaasa okwaali mu ggwanga lya Misiri mu mwaka gwa 2013 Bano beebamu ku bagambibwa okulumba poliisi nga beekalakaasa nebatta ba ofiisi 11 Abakulu bano baali beekalakaasa nga bavumirira eky’okugoba omukulembeze eyali muntebe Mohammed Morsi okuva mu muslim brotherhood.

Afudde nguuli

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Omusajja ategerekeseeko erya Mucunguzi afiiridde mu mpaka z’okunywa waragi Bino bibadde ku kyaalo Kajju mu disitulikiti ye Rakai Ono yakayaanye ne banne nti asobola okunywa liita za Waragi 3 mu ddakiika ttaano. Nanyini baala eno Dorothy Namatovu agambye nti omusajja ono kituufu waragi yamunwedde mu […]