Amawulire
Besigye akyalidde ku munnamawulire eyakubwa
Uganda eyolekedde akaseera k’ebbula ly’abakulembeze abanakulemberamu enkyukakyuka Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye agamba nti ekizibu kivudde ku basomyeeko okutya eby’obufuzi . Dr. Besigye wabula agamba nti embeera eno esobola okuggwaawo ssinga akakiiko akalondesa tekabaamu kyekubiira abantu nebaddamu okukkiririza mu kulonda Besigye bino […]
Okuyingiza abapya mu poliisi kutambudde bulungi
Enteekateeka ya poliisi ey’okuyingiza abanu abapya etambula bulungi Poliisi yeetaga abantu 5500 okunyweza eby’okwerinda nga yetegekera okulonda kwa 2016 Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bitundu ebisinga, abantu abaasaba ebifo bayise ku bebaagala. Enanga agamba nti kino kiraga nti abantu balina obwesige mu […]
Poliisi ebanjibwa emyaka esatu
Poliisi ye Entebbe yakamala emyaka esatu nga tesasula za bupangisa Nanyini mayumba gano Paul Zikuliza agambye nti poliisi yalina okumusasulanga shs akakadde kamu mu emitwalo 15 buli mwezi kyokka nga yasasulako emyaka esatu n’ebivaako Zikuliza agambye nti yye ky’ayagala kusasulwa nsimbi z’abanja oba nandi ki […]
Emmotoka ezabbibwa ziyooleddwa
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue authority nga kiri wamu ne poliisi kiyodde emmotoka 47 ezibaddeko nambapuleeti eze Congo mu bukyaamu Zino zakwatiddwa mu kikwekweto ekimaze olunaku olulamba mu mwezi gwa December. Omukungu mu kitongole kino James Kisaale sagamba nti ekikwekweto kino baakikola oluvanyuma lw’okwekengera emmotoka […]
Ebyeggaali bikeereye
Enteseganya wakati wa gavumenti n’abakkampuni y’eggaali y’omukka eya rift valley railways zikereyesezza emirimu gy’okutandika okusabaaza abantu ku ggaali Bino byogeddwa akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi bw’abadde alambula oluguudo olukolebwa e Namanve Musisi agambye nti ku ludda lwaabwe ebintu bitambula bulungi kyokka nga byesiba olw’enteseganya […]
Ani atunda amasomero ga gavumenti
Palamenti esabiddwa okutondawo akakiiko akananonyereza ku masomero agatundibwa jjo na luli Bino byebimu ku biri kiteeso ekireteddwa omubaka we Lwemiyaga Theodre Ssekikubo oluvanyuma lw’okusenda essomero lya Nabagereka Primary. SSekikubo agambye nti gavumenti erina okunonyereza ani agula amasomero gano era eyimirize n’abo abaagula essomero lya Nabagereka […]
Omuwendo gw’abafiiridde mu nyonyi
Omuwendo gw’abantu abakafiira mu kabenje k’enyonyi e Taiwan gulinye okutuuka ku bantu 12. Enyonyi ya kampuni ya TransAsia Airways yatomedde olutindo n’egwa mu mugga kumpi n’ekibuga ekikulu ekya Taipei. Okusinziira ku mukutu gwa BBC abasaabaze 58 bebabadde ku nyonyi nga era banji balumiziddwa. Abaddukirize bakyagenda […]
Katikkiro agenze e Buruuli- alangidde abalumba Buganda
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga w’owulirira bino nga atandise okukunganya etaffaali mu ssaza lya ssabasajja erye Buruuli. Katikiro asoose kusolooza taffaali mu bitundu bye Kakooge nga kati ayolekedde ku kitebe kya disitulikiti e Nakasongola. Wabula poliisi egumbuludde ekibinja ky’abavubuka ababadde bagumbye ku kitebe kya […]
Minisita Tumwebaze asonze ku bamulwana
Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’obwapulezidenti Frank Tumwebaze agudde olutalo ku bamuwalampira ku mutimbagano gwa yintanmeti. Amakya galeero aliko omusajja gw’alaze bannamawulire nga ono akkirizza nga bweyasasanya olugambo ku mutimbagano gwa yintaneti nga Frank Tumwebaze bweyawumuziddwa lwakubulankanya obuwumbi 10. Mboowa ategezezza nga bw’abadde akolera ku biragiro […]
Ogwa bannamawulire abaakubwa gutandise
Okuwulira omusango gwabannamawulire abaatulugunyizibwa aduumira poliisi ya Old Kampala Joram Mwesigye gwongezeddwayo okutuusa nga 18 omwezi ogujja. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Sanyu Mukasa y’ayongezzaayo omusango guno oluvanyuma . Omuloamuzi asoose kuwulira bujulizi bwa munnamawulire Joseph Settimba ategezezza nga omuserikale ono bweyamuyuliza empale ssaako […]