Amawulire
Aba NRM boolekedde Kyankwanzi
Bannakibiina kya NRM boolekedde Kyankwanzi awali olusirika lwaabwe olutandika olunaku lw’enkya Bano bagenda kusinziira mu lusirika luno okwongera okuttaanya ensonga y’okuyisaawo omuntu omu nga tavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2016 Bano bakumala ennaku 7 e Kyankwanzi . Bino nno nga biri biti, bannabyabufuzi abavuganya gavumenti bavumiridde […]
Bannaddiini balina omulimu ku butambi
Bannadiini basabiddwa okwongera okulambika abantu mu mpisa enungi wamu n’okwongera okuvumirira ebikolwa eby’okusasanya obutambi obw’obuseegu. Omwogezi ekitongole kya Uganda counselor Association Ali Male agambye nti bannadiini beebalina okutaasa eggwanga ku bikolwa ebyobuseegu. Kinajukirwa nti poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku butambi obwobuseegu obugambibwa okuba obwa […]
Kabuyonjo ku nguudo
Minisitule y’ebyentambula esabiddwa okuzimba ebifo ebikyazimbwamu oba ziyite zikabuyonjo ku nguudo ezigenda ewala. Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku by’entambula Ephraim Biraaro agambye nti enguudo ezisinga obungi tezirina bifo bikyamirwaamu, ekiviirako abantu okweyamba mu nsiko. Biraaro agambye nti obubi buno enkuba buli bw’ebutonnyamu ebukulukusa okutuuka […]
Mufti akyalidde abaggalirwa e Luzira
Mufti wa Uganda sheikh Shaban Mubajje olwalero akyaliddeko Sheikh Yunus Kamoga n’abalala 17 mu kkomera e Luzira abavunaanibwa emisango omuli obutemu n’obutujju. Kamoga ne banne bavunaanibwa okutta sheikh Mustapha Bahiga ,Sheikh Abdul- Kadri Muwaaya wamu n’okugezaako okutta sheikh Haruna Jjemba. Mubajje agambye nti wadde bali […]
Omuyimbi Chameleon bamukubye mu mbuga z’amateeka
Kooti ekola ku misango gyebyobusubuzi eyisse omuyimbi Jose Chameleone yenyonyoleke kubigambibwa okuba nti yagaana okuyimba mu kivvulu kya Afrika Mashariki mu ggwanga lya Kenya kyokka nga yali asasuddwa. Kampuni ya Tendo Grill Limited ng’eyitta mu banamateeka ba Muwema and company advocates, eyagala Chameloene abasasule obukadde […]
Abatagoberera mateeka bakukwatibwa
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni aweze okufaafagana n’abo bonna abatagoberera mateeka. Museveni okwogera bino abadde mu disitulikiti ye Moroto ng’amaggye gakuza olunaku lwa Terehesita olw’omulundi ogwa 34. Museveni atenderezza amaggye ga UPDF olw’okulwana okujja emmundi mu mikono gy’abantu ba bulijjo era ng’emmundu 3200 zeezakafunibwa okuva […]
Emikolo gya Terehesita Gigenda mu maaso
W’owulirira bino nga emikolo emikulu egy’amagye egya Tarehe Sita egy’omulundi ogwa 34 gitandise wali mu disitulikiti ye Moroto. Abakungu ba gavumenti okuli ne ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda, akola nga ssabalamuzi mu kiseera kino Steven Kavuma n’abalala batuuse dda ewali emikolo gino. Yye ssabaduumizi w’eggye […]
Baziikudde abafu
Poliisi ye Bukomansimbi etandise okunonyereza ku bantu abatanategerekeka abalumbye ekyalo kye Kiwenjula nebasimula entaana 2 nebakuliita n’emirambo egyabaddemu. Abagenzi Birizita Nakibule ne bba Alleni Bukenya abaafa mu 1987 beebasimuddwa. Bbo abatuuze balumiriza nti teri kulonzalonza basawo b’ekinanasi bebasimudde abafu baabwe. Wabula yye omu ku b’enganda […]
Ekimotoka kya Mehta kisse 2
Entiisa ebutikidde abatuuze be kirinya Butooke ,ekimotooka ekitambuza ebikajjo ekya kampuni enkozi ya sukali eya metha bwekisabadde abantu babiri nebafa. Abagenzi ye Lawrence Sibutta nga yabadde atwala eby’okewerinda ku kyalo kino wamu ne Magreat Nambi omusawo mu ddwaliro lya gavumeti elya Seeta Nazigo Health center 111. […]
Abazungu balambudde amasiro ge Kasubi
Abakungu 3 okuva mu kitongole eky’amawanga amagatte ekirabirira ebifo byobuwangwa olwaleero bakyaddeko mu masiro e Kasubi, okulaba omulimu gw’okuzimba amasiro gano wagutuuse. Bano nga bakulembeddwamu Joseph King bagambye nti baasabibwa gavumenti ya Uganda okujja okwetegereza engeri amasiro gyegazimbibwa okulaba nga gatuukana n’omutindo. Olunaku lw’enkya bano […]