Poliisi erinye eggere mu lukungaana olubadde luyitiddwa omubaka we Lubaga mu bukiikaddyo mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Ken Lukyamuzi ku nkulongo ye Busega.
Lukyamuzi abadde ayagala kwogerako eri abasuubuzi okuva mu katale ke Busega ku nsonga z’okuzimba akatale kano.
Lukyamuzi agenze okutuuka e Busega nga poliisi emaze okusalako ekifo kyona.
Lwo olukiiko olwategekeddwa omubaka atwala ekibuga kye Mukono Betty…
Mufti wa Uganda sheikh Shaban Rwamathan Mubajje ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okuzza ebintu by’obusiraamu byonna ebyatundibwa
Ng’ayogerako eri abakkirizza mu kusaala kwa wamu okubadde e Nakasero ku muzikiti, Mufti asabye buli alina ekintu ky’obusiraamu kyeyatwala okukizza baddizibwe ensimbi zaabwe
Mubajje era azzeemu okwetonda olw’okutunda ebintu by’obuyisiraamu.
Okusaala kuno kusanyalazza emirimu ku ku nguudo eziriranye omuzikiti guno ng’enkumi n’ekumi…
Ebintu byabukadde bisaanyewo oluvanyuma lw’omuliro okusaanyawo akatale akakulu ak’e Moroto mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Kigambibwa nti omuliro guno gutandise ku ssaawa nga 9 nga bukya nga era amidaala n’obuyumba bw’abasuubuzi obubadde okumpi tebulutonze.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokusatu Capt. Jimmy Denis Omala agamba omuliro guno gwandiba nga gwakumiddwa omuntu w’ettima naye nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza.
Omala agamba…
Oluvanyuma lw’ebiwayi by’abayisiraamu ebimu okutandika ku lugendo lw’okwegatta, Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadan Mubajje asuubirwa okukulemberamu Juma yaleero wali ku muzikiti gwe Nakasero.
Olwokutaano oluwedde, abayisiraamu okuva mu mizikti egyenjawulo okuli Nakasero, ne William Street basaalira ku Old Kampala okulaga obumu.
Omwogezi w’ekitebe ky’obuyisiraamu ekya Old Kampala Hajj Nsereko Mutumba agamba e Juma eno yakuyamba okuzzawo…
Omusawo w’emitima naye ng’emirimu gye agikolera mu Australia Dr. Aggrey Kiyingi agamba nti nebwebanamutiisatiisa tajja kuva ku kiruubirirwa kye eky’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Kiddiridde gavumenti okutegeeza nga bw’erina obujulizi obulaga nti ddala Kiyingi yeeyali emabega w’abayisiraamu abaattibwa ng’ayagala kugivumaganya
Kiyingi agambye nti tasisinkanangako musiraamu yenna nga gavumenti bw’egamba era nga talina kakwate na basiraamu
Ono wabula alayidde nti…
Abavuganya basabiddwa okusimbawo omuntu omu bwebaba nga bakuwangula okulonda kwa 2016
Omubaka we Kalungu mu bugwanjuba Joseph Ssewungu y’abawadde amagezi gano ng’agamba nti okweyawula tekukyakola nga n’abantu bakooye akavuyo
Ssewungu agambye nti buli bavuganya lwebeyawula, bongera kufiirwa era nga ssinga bagaana okwegatta mu mwaka 2016, ebintu byandibalema
Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala kusisinkana pulezidenti…
Abayizi abali mu mitwalo 189,889 beebasunsuddwa okwegatta ku siniya y’okutaano mu mwaka 2015
Kino kirese abayizi 94,133 nga tebafunye masomero gebasaba bw’otunuulira abayizi emitwalo 284,022 abaayita ebigezo.
Atwala eby’okusunsula mu bayizi mu minisitule y’ebyenjigiriza Martin Omangolo agamba nti ku bano emitwalo 64,400 bajjiddwa mu masomero 699 aga gavumenti ate asigadde nebava mu g’obwannanyini.
Omangolo agambye nti okusunsula kutambudde bulungi…
Waliwo ekiwayi ky’ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti abambalidde banaabwe abeebalamye olusirika lw’oludda oluvuganya olugendereddwamu okuteesa ku nongosereza za ssemateeka n’amateeka g’eby’okulonda.
Omubaka wa Bukoto East Mathias Nsubuga ategezezza nga oludda oluvuganya bwebatalina bumu kale nga kizibu okwegatta okumegga gavumenti ya NRM.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu agamba olukiiko lw’abavuganya gavumenti olw’okuntikko lwakufulumya alipoota…
Minisitule y’ebyenjigiriza olwaleero lwetandika okusunsula okwennaku 2 okw’abayizi abagenda okwegatta ku siniya 5 wali ku yunivasite ya Kampala International.
Abayizi abali eyo mu 280000 abaayitira mu ddaala erisooka okutuuka ku lyokuna basobola okusunsulibwa.
Amassomero amanene okuli Kings college Buddo, St Mary’s college Kisubi, Namagunga n’amalala bakalize obubonero nga bali wansi w’obubonero 12.
Wabula minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo alabudde…
Poliisi ye Namutumba etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abayizi b’essomero lya Namutumba primary school 32 abaawereddwa obutwa.
Aduumira poliisi mu disitulikiti eno Tom Bainomugisha agamba abayizi bano baddusiddwa mu ddwaliro e Iganga oluvanyuma lw’okutandika okulumwa olubuto.
Bainomugisha agamba obutwa bwandiba nga bwateereddwa mu buugi wabula n’asaba abantu okusigala nga bakkakamu nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.
Agamba yayise…