Amawulire
Omujaasi eyakuba amasasi mu bantu ayimbuddwa
Kooti y’amaggye ejulirwamu yejjereza omujaasi wa UPDF Herbert Rwakihembo, eyasalirwa ekibonerezo eky’emyaka 30 mu mwaka gwa 2013. Omujaasi ono yatta abantu bantu basatu okwaali ne mukyala we Irene Kawendeke. Rwakihembo nga yali mutuuze mu zooni ye Kirombe e Luzira yasindirira mukyala we amasasi ng’amulumiriza okulya […]
Poliisi eremesezza Lukyamuzi, Nambooze ekubye olulwe
Poliisi erinye eggere mu lukungaana olubadde luyitiddwa omubaka we Lubaga mu bukiikaddyo mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Ken Lukyamuzi ku nkulongo ye Busega. Lukyamuzi abadde ayagala kwogerako eri abasuubuzi okuva mu katale ke Busega ku nsonga z’okuzimba akatale kano. Lukyamuzi agenze okutuuka e Busega nga poliisi […]
Mufti Mubajje mwetegefu okuzimba obuyisiraamu
Mufti wa Uganda sheikh Shaban Rwamathan Mubajje ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okuzza ebintu by’obusiraamu byonna ebyatundibwa Ng’ayogerako eri abakkirizza mu kusaala kwa wamu okubadde e Nakasero ku muzikiti, Mufti asabye buli alina ekintu ky’obusiraamu kyeyatwala okukizza baddizibwe ensimbi zaabwe Mubajje era azzeemu okwetonda olw’okutunda ebintu […]
Omuliro Gusanyizzaawo akatale k’ e Moroto
Ebintu byabukadde bisaanyewo oluvanyuma lw’omuliro okusaanyawo akatale akakulu ak’e Moroto mu kiro ekikeesezza olwaleero. Kigambibwa nti omuliro guno gutandise ku ssaawa nga 9 nga bukya nga era amidaala n’obuyumba bw’abasuubuzi obubadde okumpi tebulutonze. Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokusatu Capt. Jimmy Denis Omala agamba omuliro […]
Mufti Mubajje azzeyo e Nakasero
Oluvanyuma lw’ebiwayi by’abayisiraamu ebimu okutandika ku lugendo lw’okwegatta, Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadan Mubajje asuubirwa okukulemberamu Juma yaleero wali ku muzikiti gwe Nakasero. Olwokutaano oluwedde, abayisiraamu okuva mu mizikti egyenjawulo okuli Nakasero, ne William Street basaalira ku Old Kampala okulaga obumu. Omwogezi w’ekitebe […]
Dr Aggrey Kiyingi wakwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Omusawo w’emitima naye ng’emirimu gye agikolera mu Australia Dr. Aggrey Kiyingi agamba nti nebwebanamutiisatiisa tajja kuva ku kiruubirirwa kye eky’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Kiddiridde gavumenti okutegeeza nga bw’erina obujulizi obulaga nti ddala Kiyingi yeeyali emabega w’abayisiraamu abaattibwa ng’ayagala kugivumaganya Kiyingi agambye nti tasisinkanangako musiraamu yenna […]
Abavuganya balina kusimbawo omuntu omu okuwangula
Abavuganya basabiddwa okusimbawo omuntu omu bwebaba nga bakuwangula okulonda kwa 2016 Omubaka we Kalungu mu bugwanjuba Joseph Ssewungu y’abawadde amagezi gano ng’agamba nti okweyawula tekukyakola nga n’abantu bakooye akavuyo Ssewungu agambye nti buli bavuganya lwebeyawula, bongera kufiirwa era nga ssinga bagaana okwegatta mu mwaka 2016, […]
Abayizi abasoba mu mitwalo mwenda tebafunye bifo
Abayizi abali mu mitwalo 189,889 beebasunsuddwa okwegatta ku siniya y’okutaano mu mwaka 2015 Kino kirese abayizi 94,133 nga tebafunye masomero gebasaba bw’otunuulira abayizi emitwalo 284,022 abaayita ebigezo. Atwala eby’okusunsula mu bayizi mu minisitule y’ebyenjigiriza Martin Omangolo agamba nti ku bano emitwalo 64,400 bajjiddwa mu masomero 699 […]
Abavuganya beeyawuddemu
Waliwo ekiwayi ky’ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti abambalidde banaabwe abeebalamye olusirika lw’oludda oluvuganya olugendereddwamu okuteesa ku nongosereza za ssemateeka n’amateeka g’eby’okulonda. Omubaka wa Bukoto East Mathias Nsubuga ategezezza nga oludda oluvuganya bwebatalina bumu kale nga kizibu okwegatta okumegga gavumenti ya NRM. Akulira oludda oluvuganya […]
Okusunsula mu siniya y’okutaano kutandise
Minisitule y’ebyenjigiriza olwaleero lwetandika okusunsula okwennaku 2 okw’abayizi abagenda okwegatta ku siniya 5 wali ku yunivasite ya Kampala International. Abayizi abali eyo mu 280000 abaayitira mu ddaala erisooka okutuuka ku lyokuna basobola okusunsulibwa. Amassomero amanene okuli Kings college Buddo, St Mary’s college Kisubi, Namagunga n’amalala […]