Amawulire
Abasomesa e Kalangala banasengejjebwa
Oluvanyuma lwa disitulikiti ye Kalangala okusemba mu bibuuzo ebya siniya eyokuna ,awamu n’ekibiina ekyomusanvu, abaayo batandise okukebera obukugu bw’abasomesa okusobola okwawulamu abalina omutindo ogw’ekibogwe. Ssentebe wa disitulikiti ye Kalangala Willy Lugoloobi mu lukiiko lwatuuzizza n’abakugu b’ebyenjigiriza abakulembeddwaamu atwaala ebyenjigiriza mu Kalangala Emmanuel Nseko , […]
Asse omupangisa we
Poliisi ye Ntusi mu disitulikiti ye Sembabule eriko omusajja gwekutte lwakukuba mupangisawe n’amutta lwakwokya faamu ye. Steven Mwesigye akwatiddwa ku bigambibwa nti yakubye Didasi Munobi 47 okutuusa okumutta oluvanyuma lw’okumupangisa ettaka alimireko kasooli wabula n’ayokya ebisoolisooli okwetegekera okusimba kasooli mu sizoni empya naye omuliro negusaasana […]
Essomo lya Techinical drawing lyaalimu ensobi
Ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga kikkirizza nga bwewaliwo ensobi mu byava mu bigezo bya siniya 4 eby’essomo ly’ebyemikono omuli okukuba pulaani mu lufuutifuuti eriyitibwa Technical drawing. Omwogezi w’ekitongole kino Amis Kaheru agamba waaliwo ensobi mu kusengeka obubonero bw’abayizi naye nga ensobi bagitegedde era nebagitereeza nga era […]
Ogwa basiraamu gugenze mu kkooti enkulu
Abakulembeze b’abayisiraamu 18 abavunanibwa okutta bakulu banaabwe bongeddwayo mu kkooti enkulu okutandika okuwulira omusango gwabwe. Bamaseeka bano baleeteddwa mu kkooti ye Nakawa amakya galeero nga era omuwaabi wa gavumenti Anne Ntimba ategezezza omulamuzi w’eddaala erisooka Timothy Lumunye nga okunonyereza ku musango guno bwekwawedde naye […]
Poliisi eyongedde okutabuka ku buseegu- Enoonya Zari
Poliisi yakuvaayo ne alipoota ku butambi bw’obuseegu obuzze bulabikira ku mikutu gya yintanenti egitali gimi Okunonyereza okwakolebwa kulaga nti obutambi buno obusinga bwafulumizibwa ab;omukwano beeba bakyaakye, ate obulala bufulumizibwa ababbi ababa bagaala ensimbi mu bali mu butambi buno Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga […]
Abalondebwa mu NRM ssibakuva mu bifo byaabwe
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM baalondebwa omukulembeze w’eggwanga ku bifo by’ekibiina ebyokuntikko ssibakulekulira bifo byabwe byebabadde nabyo. Bino byogeddwa nampala w’ekibiina w’ekibiina kino agenda okuvaako Kasule Lumumba oluvanyuma lw’okulondebwa ku bwa ssabawandiisi w’ekibiina n’abalala 3. Wabula Lumumba mukakafu nti olusirika lwabannakibiina lwebalimu e Kyankwanzi werunagwera omukulembeze […]
Musanvu bakwatiddwa e Mayuge
Poliisi eriko abantu 7 bekutte ku byekuusa ku kutibwa kwa ssentebe wa LC 3 e Buyinja Tito Okwale eyakubibwa amasasi mu makage e Mayuge wiiki ewedde Emmundu era ezuuliddwa mu kunonyereza okukyagenda mu maaso. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba waliwo n’abaserikale ba […]
Kabaka awaabye ow’ekika ky’ente
Ssabasajja Kabaka w Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akubye akulira ekika ky’ente mu mbuga z’amateeka lwakwezza ttaka ly’ekika ky’ente. Mu biwandiiko ebireeteddwa mu kkooti ekola ku nsonga z’ebyettaka, ssabasajja alumiriza Katongole Samuel Miwanda okwezza ettaka erili ku poloti 1082 wali e Katwe mungeri ey’olukujjukujju. Nga […]
Amasomero asatu gaggaddwa
Ekitongole kya Kampala capital city authority kigadde amasomero 3 mu divizoni ye Makindye. Amasomero agagaddwa kuliko Bukedde primary school, Makindye Parents care ne Pavic school oluvanyuma lw’okusangibwa nga tegatuukagana na mutindo. Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategeezezza ng’amasomero gano bwegasangiddwa nga tegalina basomesa betaagisa […]
Ababaka abatalina bibiina abali e Kyankwanzi bannakigwanyizi
Ababaka ba palamenti abatalina kibiina kyabufuzi mwebava balabuddwa obutabaamu kyekubira eri ekibiina ky’obufuzi kyonna nga bakola emirimu gyaabwe. Kino kiddiridde ababaka abatava mu kibiina kyonna 35 kwabo 43 okwetaba mu lusirika lw’ab’ekibiina kya NRM wali e Kyankwanzi. Ssentebe w’ababaka bano mu palamenti Sam Otada agamba […]