Amawulire
Babiri bafiiridde mu kabenje e Nakawa
Abantu babiri beekoneddwa motoka nebafiirawo wali e Nakawa ku luguudo oludda e JJinja Taxi nnamba UAS 839H ebadde eva e Kireka eremeredde omugoba waayo n’esabaala abantu bataano era babiri nebafiirawo Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti emotoka eno egaanye okusiba. Omu […]
Dr Olara Otunnu asumattuse okufiira mu kabenje
Akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu asumattuse akabenje bw’abadde ava e Kitgum. Ono abadde atambulira mu motoka kika kya Landcruise namba UAQ 040G eseredde okuva ku luguudo neyefuula oluvanyuma lw’okwabika omupiira. Akabenje kano kagudde mu gombola ye Angagura mu disitulikiti ye Pader. Dr Otunu […]
Omukazi azaalidde mu Tooyi mu Buyindi
Mu ggwanga lya Buyindi, omukyala azaalidde mu kabyonjo y’eggalai y’omukka. Omukyala ono agudde eri n’azirika nga yakazaala kyokka ng’oluvanyuma azze engulu n’alaba omwana we asobodde okutaasibwa nga tannafa Eggaali z’omukka mu Buyindi kirimu ebituli ebituukira butereevu ku mipiira gy’eggaali kyokka ng’omwana ono bamukutte tannatuuka ku […]
DP eweze kakuyege- Kakande azze ewa Mao
Ekibiina kya DP kyegasse ku kinaakyo ekya NRM mu kuwera okunoonya akalulu nga ttabamiruka w’ekibiina tannatuulibwamu. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, ssenkagale w’ekibiina kino Nobert Mao ategezezza nga bamemba abamu bwebatandise dda kakuyege ekimenya amateeka g’ekibiina. Mao kati ayise ab’ekibinja ekyeyita ekya “DP Buganda”babitebye ku […]
Gavumenti etabukidde abaseegu- bana bakwatiddwa
Abantu 4 beebakakwatibwa ku nsonga y’okusasanya ebifananyi by’obuseegu nga era baakuvunanibwa wansi w’etteeka ly’obuseegu. Nga ayogerako ne bannamawulire wali ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala, minisita w’empisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo ategezezza nga ku bakwate bwekuliko n’eyali muganzi w’omuyimbi Desire Luzinda nga ono ye […]
Gavumenti egumizza bannakampala ku bya Lukwago
Gavumenti ewadde obweyamu nga bwekola ekisoboka okumalawo okusika omugwa ku bukulembeze mu kitongole kya KCCA. Ensisinkano y’ab’oludda oluvuganya gavumenti ne ssabaminisita w’eggwanga yagwa butaka nga baali baakuteesa ku ky’okuza loodi meeya Erias Lukwago mu ofiisi. Kati minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga Muruli Mukasa ategezezza nga gavumenti bweyagala […]
Omwana asirikkidde mu muliro
Poliisi ye Kyotera mu disitulikiti ye Rakai ekyanonyereza ku kyaviiriddeko omwana ow’emyezi 8 eyafiiridde mu muliro ogwakutte enyumba mweyabadde alekeddwa. Omugenzi ategerekese nga Viola Namaganda muwala w’omukyaaka ategerekeseeko erya Shamimu. Enyiisa eno y’abaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero nga era kiteberezebwa okuba nga omuliro gwavudde ku […]
Minisita Nantaba abanjibwa- omusaala gwe gukwatibwe
Olukalala lw’ababaka ba palamenti abalina amabanja agabali mu bulago lweyongera buli lukya. Kkooti enkulu eragidde omusaala gwa minisita omubeezi ow’ebyettaka Aidah Nantaba gukwatibwe okusobola okusasula obukadde 23 mwemitwalo 70 ezimubanjibwa. Amyuka omuwandiisi wa kkooti Tom Chemtai y’awadde ekiragiro kino oluvanyuma lwa Nantaba ne munnamateekawe obutalabikako […]
Omusaala ogusookerwaako guliwa
Abakozi bawadde gavumenti okutuuka ku nkomerero y’omwezi guno okussaawo akakiiko akanakola ku nsonga z’omusaala ogusokerwaako. Uganda yakoma okussaawo omusaala gwa shs 6000 ogusokerwaako mu mwaka gwa 1984 nga kati abalwanirira eddembe bagaala gutuuke mu mitwalo 25 Akulira omukago gwa NOTU Usher Wilson Owere agamba nti […]
Ekirwadde kirumbye aba Taxi
Abagoba ba Taxi mu bagaala wabeewo okunonyereza ku kirwadde ekyakatta abagoba ba Taxi bataano. Akulira ba dereeva Mustapha Mayambala agamba nti obulwadde buno butandika na musujja era nga butta mu wiiki emu . Mu kadde kano ba dereeva ne ba kondakita 20 beebali ku ndiri. […]