Amawulire
Omusujja gw’omu byenda gubaluseewo mu Uganda
Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nga bwewabaluseewo obulwadde bwa Typhoid mu Kampala, Mukono ne Wakiso Abantu babiri bakakasiddwa okuba nga bafudde ate abalala 142 bbo balina obubonero naye ebivudde mu musaayi tebinnafuluma Ab’ebyobulamu bakekebejjako abantu munaana era nebakakasa nti babulina Atwala ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu Jane Achieng […]
Aba MUBS beekalakasizza
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi ba Makerere University Business School ababadde beekalakaasa nga bakungubagira bannaabwe abattiddwa motoka eyawabye olunaku lwajjo. Abayizi bano baabadde ku gaabwe era nga beebamu ku bataano abakoseddwa Abayizi ababadde batasalikako musale babadde bagaala kusiiga langi mu kifo awabadde akabenje kifuulibwe […]
Katikkiro akunze ku bumu
Obumu bwebusobola okuzza Buganda ne Uganda ku ntikko .. Obubaka buno buweereddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kusolooza ettaffaali kwaliko mu ssaza lya ssabasajja e Kyaggwe. Katikiro ategezezza nga obumu bwebusoboloa okuleetawo obwenkanya mu ggwanga olwo amazima negagoberera nga era bino bikulu nyo […]
Teri kuntiisatiisa- Kiyingi
Munnayuganda omusawo nga awangaalira mu ggwanga lya Australia Dr. Aggrey Kiyingi atemye ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura akakule ku by’okumukwatira mu Australia. Kino kiddiridde Gen Kale Kaihura okutegeeza nga bwebasobola okufuna obuyambi okuva eri poliisi y’ensi yonna nebakwata Kiyingi ku bigambibwa nti alina akakwate ku […]
Mbabazi mwetegefu okutereeza eggwanga
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ategezezza nga bwatagenda kwawukana ku mateeka ga kibiina kye ekya NRM mu kusalawo ekkubo lye eby’obufuzi. Nga asisinkanyemu abavubuka ba NRM abeeyita abaavu, Mbabazi ategezezza nti ekibiina kye ekya NRM bwekilambika bulungi amakubo omuntu g’alina okuyitamu okufuuka omukulembeze nga kale […]
Maama Fina azzeemu okulondebwa okukulira abasawuzi
Sylvia Namutebi amanyiddwa nga Mama Fina kyaddaaki azzeemu okulondebwa ng’omukulembeze w’abasawo b’ekinnansi. Okutikkira Maama Fiina ekitiibwa kino wabula tekubuzeeko katemba nga buli omu alaga amaanyi g’emizimu gye Maama Fina era agenda kuba nga y’akulira abakola eddagala ly’ekinnansi. Okulondebwa kwe kukomekerezza entalo ezibadde nga mu basawo […]
Musabire eggwanga mu kisiibo
Ng’abakulisitu batandika ekisiibo, baweereddwa amagezi okusabira ennyo eggwanga nti ligweemu abezibika ensimbi z’omuwi w’omusolo Olwaleero abakirisitu lwebatandise ekisiibo kyaabwe nga mu bakatolika n’abakulisitaayo wabaddewo okusiiga evvu Omulwanyi w’enguzi kayingo Faaza Gaetano Batanyenda asabye katonda okukwata ku mitima gy’abakulembeze mu Uganda naddala abo ababwebwena ezitali zaabwe […]
Aba Mbabazi balayidde okugenda mu maaso
Abavubuka abawagira eyali ssabaminista Amama Mbabazi balayidde okugenda mu maaso n’entegeka zaabwe ez’emisinde gy’omutolontoko mu Kampala yadde poliisi yaweze okubagaana Abavubuka bano bategese emisinde gino nga 23 omwezi guno nga bakukungaanya engoye, emmere n’ebirala okuwa abataliiko mwasirizi mu buvanjuba bw’eggwanga Bano bagamba nti bategeezezzaako dda […]
Ebbago ly’etteeka ly’amaka likomyeewo
Okukubaganya ebirowoozo ku bbago ly’etteeka ly’amaka kuzzeemu mu palamenti Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga yali yakuyimiriza mu mwaka gwa 2013 oluvanyuma lw’ababaka okusaba beebuze ku balonzi baabwe Ebbago eryogerwaako mwemuli obuwaayiro obulambika abafumbo engeri gyebawukanamu kko n’engeri gyebabeerawo nga lino litongoza n’obufumbo bwa kawundo […]
Omusajja akutte omukadde
Omusajja kaggwensonyi akkidde namukadde w’emyaka 93 n’amukaka omukwano Bino bibadde ku kyaalo Kabuga ekisangibwa mu disitulikiti ye Kibaale Omukyala ono agambye nti omusajja ono yamugwiridde olunaku lwajjo kyokka ng’abadde akikola gwa kubiri Atwala ekyaalo kino Silas Karumuna agambye nti omukadde ono abadde asirise kyokka nga […]