Amawulire
Omusajja asse mukazi we
Poliisi e Kira ekutte omusajja agambibwa okutta mukyala we nga nabe ava ku kaboozi Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti Yazid Kayemba akkirizza nga bw’akubye mukyala we ebikonde ku mutwe n’agwa ku ttaka era ekiddiridde kufa Abafumbo bano babadde n’omwana ono […]
Omuyizi we Makerere asangiddwa nga mufu
Poliisi ye Wandegeya etandise okunonyereza ku muyizi wa yunivasite ye Makerere eyasangiddwa ng’afudde mu Hostel emu, akawungeezi akayise. Juliet Piloya abadde omuyizi mu mwaka ogw’okusatu asangiddwa ng’afudde mu kisulo kya Kyoga esangibwa mu Kikumikikumi okumpi ne Wandegeya. Aduumira poliisi ye Wandegeya Jackson Mucunguzi agambye nti […]
Abavubuka tebakyayagala kulonda
Akakiiko k’eby’okulonda kalaze okutya, olw’omuwendo gw’abavubuka, abasemba okulonda okweyongera, ekiyinza okukosa okulonda kwa 2016. Alipoota ziraga nti mu mwaka gwa 2011 bana Uganda 42% beebazira okulonda. Akulira akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kigundu agambye nti abavubuka abasinga obungi tebagala kumanya ku bikwatta ku kulonda, kyokka okulonda […]
Aba NRM abaawangulwa battudde
Bannakibiina kya NRM abasoba mu 5000 abawangulwa mu kamyuka k’omwaka 2010 battudde olutalo nga bagaala ebyava mu kunonyereza bifulumizibwe Okunonyereza kuno kwatongozedwa eyali akulira akakiiko ka NRM ak’okulonda Prof Elijah Mushemeza ne Alhajji Moses Kigongo oluvanyuma lw’abaali besimbyeewo okulumiriza banaabwe okubba akalulu. Abeesimbawo bano nga […]
Arirang Restaurant egaddwa lwa bucaafu
Nga omusujja gwomulubuto kyegujje gubalukewo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo,aba KCCA basitukiddemu nebaggala ekiriiro ky’emmere ekya bakoleya ekya Arirang Restaurant. Bano bagaddwa lwa bucaafu nga era basangiddwa n’enkoko envundu. Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategezezza nga abalambuzi baabwe ab’eby’obulamu bwebabaguddeko awatali kulabula nebasanga nga obucaafu […]
Munnamawulire Danny Kyazze afudde
Munnamawulire Danny Kyazze afudde. Kyazze afiiridde ku myaka 72 oluvanyuma lw’okumala akabanga nga atawanyizibwa ekirwadde kya kookolo. okusinziira ku mutabaniwe omukuku Danny Kyazze Junior ,omugenzi abadde ku ndiri emyezi etaano okutuusa mungu bw’amuyise mu kiro ekikeesezza olwaleero wali ku ddwaliro lya Kadic. Kyazze amaze emyaka […]
Ab’oludda oluvuganya gavumenti abasoba mu 100 besozze NRM
E Lira ebikumi n’ebikumi by’abawagizi b’ebibiina ebivuganya gavumenti basaze eddiiro nebegatte ku kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement. Bano okusinga baabulidde bibiina bya FDC ne UPC nga era balangiridde mu lukungaana pulezidenti Museveni lw’akubye mu tawuni ye Lira. Abamu bategezezza nga bwebasaze eddiiro […]
Katikiro Mayiga atabukidde abalemesa Buganda
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awanjagidde abantu ba Ssabassajja okufaayo okulabirira abaana nokubasomesa kubanga lye’ssuubi lya Buganda ery’ebiseera ebyomumaaso. Katikiro avumiridde ekyabazadde okumala gazaala nebasulirira obuvunayizibwa okulabirira abaana nga bawoza mbu buli mwana nomukisa gwe. Abadde wa mutaka Charles Ssemanda mu kibuga Mukono […]
Katikkiro e Kyaggwe, alabudde ku byenjigiriza
Kamalabyona wa Buganda Owekitiibwa Charles Peter Mayiga avumiridde eky’abaana abayise obulungi ebigezo okwekuba mu mawulire ekisukkiridde ebiro bino. Abadde ku ssomero lya Bishops Senior Secondary School Mukono gyeyakeredde olwaleero mu kusolooza ettofaali, nategeeza nti omulamwa omukulu eri abaana kuba kuyita kalenga okuyisa ebivulu ekisukkiridde kiba […]
Abasatu bafiiridde mu kabenje
Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akabedde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka taxi bbiri bwezitomeraganye Akabenje kano kagudde kayabwe nga Taxi namba UAV 723 A ebadde eva e Masaka ekonaganye butereevu n’endala namba UAN 947. Atwala poliisi y’omu Katonga Fabian Betumiza agambye nti […]