Amawulire
Munnamawulire akaabizza abali mu kkooti
Munnamawulire Andrew Lwanga ayunguse amaziga mu kaguli nga anyumya nga bukyanga eyali aduumira poliisi ya Old Kampala amukuba ku mutwe obulamu bwe bwakyuuka. Lwanga alumiriza Joram Mwesigye okumutuusaako obuvune nga akola omulimu gwe. Lwanga ajidde ku miggo, awadde obujulizi nga Mwesigye bweyamukuba n’alekerawo okutegeera ebyaali […]
Omubaka Sseggona akwatiddwa
Omubaka wa Busiro mu buvanjuba Medard Lubega ssegona akwatiddwa . Akwatiddwa nga ayogerako eri abatuuze bokukyaalo Nabaziza e Kyengera abakedde okwekumamu ogutaaka nga bawakanya eky’abantu abatandise okuyiwa ettaka mu kitoogo kyomukitundu kino. Munnamateeka we era omuloodi wa Kampala Erias Lukwago agamba nti Segona abadde agezaako […]
Katikkiro alambuzza Obuganda amasiro nate- Bitambula
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga alambuzza Obuganda omulimu ku masiro wegutuuse Basookedde ku ge Wamala ne badda e Kasubi era ng’eno yonna emirimu gizzeemu okutambula Katikkiro ategeezezza nga bwebaali besiba olw’ebyetaagisa ebitali bimu ebitabaddeemu kyokka nga kati buli kimu kitambula Katikkiro agambye nti […]
Bbomu endala mu Nigeria
Bbomu ebalukidde wakati mu bantu ababadde balinze baasi mu ggwanga lya Nigeria esse abantu abasoba mu 12 Omulumiramwoyo agambibwa okuba nga yesibye bbomu yeeyabaludde n’atta abawera Abali mu ddwaliro awatwaliddwa abafu n’abalumiziddwa bagamba nti babadde bakabalako emirambo 13 kyokka ng’abantu abali mu 30 balumiziddwa
Enteseganya ku Lukwago zitandise
Olukiiko oluludde nga lulindirirwa wakati wa ssabaminista n’akulira oluvuganya mu palamenti ku nsonga za loodimeeya kyaddaaki lutandise Gavumenti ekiikiriddwa ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda, Minisita wa kampala Frank Tumwebaze n’amyuka ssabawolereza Fred Ruhindi ne and Government chief whip Lumumba Kasule. Oludda oluvuganya lukulembeddwaamu akulira abavuganya Wafula […]
Senkaggale wa DP Mao awummudde
Mu kibiina kya DP ebyobufuzi bitandise okunyuma oluvanyuma lwa Loodimeeya Erias Lukwago okutegeeza nga bw’awagira kakuyege nga ttabamiruka tannatuuka era ng’ono atandise n’okulingizaako mu ntebe y’omukulembeze w’ekibiina Olwaleero, akulira ekibiina kino Nobert Mao alangiridde nga bw’asazeewo okugoberera amateeka g’abasawo awummulemu ebyobufuzi by’ekibiina kyokka nga agenze […]
Ebyapa mu ntobazi byakusazibwaamu
Gavumenti yakusazaamu ebyapa omutwalo gumu mu kasanvu ebiri mu ntobazi Kiddiridde akakiiko k aba minisita akassibwaawo okulambula entobazi okumaliriza okuzirambula. Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’obutonde bw’ensi, minisita akola ku by’obutonde, Ephraim Kamuntu agambye nti kino kigenda kukolebwa ku ttaka lya gavumenti n’erya […]
Sejusa abanja musaala
Eyali omukwanaganya w’ekitongole ekikessi mu ggwanga David Sejusa abanja musaala. Nga ayita mu bannamateekabe Michael Mabikke ne David Mushabe, Sejusa agamba kati myaka 2 nga takomba ku musaala nga ate akyaali mujaasi kale nga alina okusasulwa. Nga ayogerako eri bannamawulire , Mabikke ategezezza nga bwebagenda […]
Agambibwa okubba bamusse
Abatuuze be Bukulula mu disitulikiti ye Kalungu bakkakanye ku musajja ateberezebwa okubeera omubbi wa bodaboda nebamukuba mizibu egimujje mu budde n’oluvanyuma omulambo gwe nebagukumako omuliro. Daniel Ssenfuka omutuuze wokukyaalo Nsalu y’atiddwa abatuuze oluvanyuma lw’okulumbibwa mu makage nebamuwalula okutuuka ku kyaalo Katungulu nga eno gyebamutidde nebamukumako […]
Asudde omwana mu kabuyonjo
Poliisi ye Tororo eriko omukazi gwekutte nga bamutebereza okutuga omwanawe ow’enaku 4 n’amusuula mu kabuyonjo. Kigambibwa nti Winnie Margaret Muliro omutuuze wokukyaalo Amagoro B Central mu municipaali ye Tororo yayambiddwako nyina ne mulerwa okutta omwana ono. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Micheal Odongo […]