Ekibuga kya Kampala kyakubeeramu abantu abasoba mu bukadde 20 omwaka 2040 wegunatukira.
Kino kibikuddwa banka y’ensi yonna mu kunonyereza kwayo okw’emyeezi 6 ku bibuga ebyenjawulo n’ebyenfuna byabyo.
Okunonyereza kuno era kulaze nga abantu bwebagenda n’okweyongera mu bibuga ebirala kale nga gavumenti erina okuteekeratekera obulungi abantu baayo, engabanya y’ettaka ereeta enkulakulana saako n’okulaba nga ebibuga bikwatagana bulungi.
Banka eno…
Ab’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Democratic Party eky’okukyuusasuusa mu baminisita okwabaddewo ku nkomerero ya wiiki ewedde bagamba kwabadde kuddira mwenge gukatuuse neguteekebwa mu ccupa empya.
Mu nkyukakyuka zino abamu ku ba minisita baasuliddwa nga kuliko eyabadde abadde minisita w’ebyensimbi Maria Kiwanuka n’abadde ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi .
Ekibiina era kikyewuunya engeri Philemon Mateke gyeyagonomoddwako obwaminisita ku myaka 92.
Omwogezi…
Kaliisoliiso wa gavumenti mukyaala Irene Mulyagonja asabye abakulembeze bonna okwanjula eby’obugagga byabwe nga bwekirambikiddwa mu mateeka.
Nga asisinkanyemu omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga amakya galeero, mukyaala Mulyagonja ategezezza nga abakulembeze bwebatalina kusukka nsalesale wa nga 31 omwezi guno nga tebanabirangirira.
Mulyagonja era asabye gavumenti okuteekawo amateeka agalina okugobererwa abakulembeze ku by’obugagga bwabwe olwo kimuwewule ku mirimu…
Envunza zivudde e Busoga nga kati ziri Masaka.
Envunza zino zirumbye bantu ku kyaalo Kasubi Kimaanya kyabakuza
Abantu okuva mu maka 65 beebamaze okukosebwa ng’abasinga baana na bakadde
Ssentebe w’ekyaalo kino Anselm Ssengendo agambye nti tebalina ngeri gyebayambamu bantu okuleka okubakunga okukuuma obuyonjo.
Omu ku bakoseddwa ye Stephen Kakooza ng’ono asangiddwa ng’envunza zimulidde ebigere , ebitundu by’ekyama n’engalo
Amyuka sipiika…
Ensonga z’abazadde abalumiriza ab’eddwaliro lye Mulago okucanga omwana waabwe nebabawaamu afudde kyaddaaki zifundikiddwa
Alipoota evudde mu ndagabutonde eyakolebwa eraga nti omwana ono ddala wa bazadde bano abemwegaana.
Omwana ayogerwaako yazaalwa n’afa era nga wa Sanyu ne Fred Nyongesa abe Kasubi.
Akulira eddwaliro lye Mulago Byarugaba Baterana agamba nti alipoota gyebakoze eraga nti omwana ono yafiira Kawaala sso ssi…
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya agamba nti enkyukakyuuka mu lukalala lwa ba minisita zigendereddwaamu kusiima bawagira kya pulezidenti Museveni kwesimbawo yekka
Olunaku lwajjo pulezidenti yalangiridde enkyukakyuka mu ba minisita nga mu beyasudde kwekwabadde ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ne minisita akola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka
Ng’ayogerako eri bannamawulire , Bukenya agambye nti eky’okulonda Fred Ruhindi…
Abavubuka b’ekibiina kya NRM bazzemu okulaga obuwagizi bwabwe eri pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2016 awatali amuguganya okuva mu kibiina.
Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssentebe w’abavubuka mu kibiina Dennis Namara ategezezza nga bwebasaanye okusasula omukulembeze w’eggwanga olw’enkulakulana gy’aleese mu ggwanga nga kyakwongera n’obumu munda mu kibiina.
Nga ayogera ku ky’enkyukakyuka mu baminisita okwabaddewo ku wiikendi, Namara…
Abatuuze ku byaalo ebisoba mu 4 mu gombolola ye Buwunga mu disitulikiti ye Masaka bali mu kutya oluvanyuma lw’engo eyabalumbye.
Ebyaalo ebisinze okukosebwa kuliko Bujja, Bukyulo, Kibindi, Kayijja n’ebirala nga era abatuuze bagamba engo eno ebamalidde ebisolo nga batya bweva ku bisolo yakudda ku bbo.
Anna Maria Yagga omutuuze we Kayijja agamba engo eno y’atuze embizzi ze…
Ekirwadde ky’omusujja gwomubyenda ekya typhoid kyongedde okuwanika amatanga mu ggwanga nga kati abaakakirwala mu Kampala wokka baweze 1000.
Akulira eby’obulamu mu KCCA David Seruka ategezezza nti kati abalwadde bajanjabibwa mu malwaliro ga KCCA okwetolola Kampala.
Seruka agamba kati bafumvubidde okulaba ga balinya omusujja guno ku nfeete n’okufuna engeri y’okulwanyisa amakubo mwekiyita okukwata abantu.
Ebyonga bikyaali bityo nanayini kizimbe…
E kitongole ekya Kampala Capital City Authority kigadde ebizimbe 5, nga ensonga yeekusa kubutaba namazzi mayonjo
KCCA okuvaayo bweti kidiridde ekirwade ky’omusujja gw’omubyenda oguvva kubujama okulumba kampala , nga kakano abantu abantu 600 bebakakwatibwa ekirwade kino.
Twogedeko na amyuka omwogezi wa Kcca Robert Kalumba natubuulira nti bano balude ebanga nga bajukiza banyini bizimbe bino okukola kunsonga y’amazzi…