Amawulire
Ogwa Kasiwuukira gutambula kasoobo
Okuwulira omusango gwa namwandu w’omugenzi Eria Sebunya banji gwebamanyi nga Kasiwukira kwongezeddwayo. Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Happiness Ainebyona okutegeeza kkooti nti okunonyereza tekunaggwa. Wabula kino kijje omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ye Makindye Richard Mafaabi mu mbeera neyebuuza lwaki oludda oluwaabi lwawaaba omusango […]
Kampala wakubooga
Ekibuga kya Kampala kyakubeeramu abantu abasoba mu bukadde 20 omwaka 2040 wegunatukira. Kino kibikuddwa banka y’ensi yonna mu kunonyereza kwayo okw’emyeezi 6 ku bibuga ebyenjawulo n’ebyenfuna byabyo. Okunonyereza kuno era kulaze nga abantu bwebagenda n’okweyongera mu bibuga ebirala kale nga gavumenti erina okuteekeratekera obulungi abantu […]
DP ku nkyukakyuka- tewali kipya
Ab’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Democratic Party eky’okukyuusasuusa mu baminisita okwabaddewo ku nkomerero ya wiiki ewedde bagamba kwabadde kuddira mwenge gukatuuse neguteekebwa mu ccupa empya. Mu nkyukakyuka zino abamu ku ba minisita baasuliddwa nga kuliko eyabadde abadde minisita w’ebyensimbi Maria Kiwanuka n’abadde ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi […]
Mwanjule obugagga bwammwe- Kaliisoliiso
Kaliisoliiso wa gavumenti mukyaala Irene Mulyagonja asabye abakulembeze bonna okwanjula eby’obugagga byabwe nga bwekirambikiddwa mu mateeka. Nga asisinkanyemu omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga amakya galeero, mukyaala Mulyagonja ategezezza nga abakulembeze bwebatalina kusukka nsalesale wa nga 31 omwezi guno nga tebanabirangirira. Mulyagonja era […]
Envunza zituuse e Masaka
Envunza zivudde e Busoga nga kati ziri Masaka. Envunza zino zirumbye bantu ku kyaalo Kasubi Kimaanya kyabakuza Abantu okuva mu maka 65 beebamaze okukosebwa ng’abasinga baana na bakadde Ssentebe w’ekyaalo kino Anselm Ssengendo agambye nti tebalina ngeri gyebayambamu bantu okuleka okubakunga okukuuma obuyonjo. Omu ku […]
Eby’okucanga abaana e Mulago bikyuse- abazadde balimba
Ensonga z’abazadde abalumiriza ab’eddwaliro lye Mulago okucanga omwana waabwe nebabawaamu afudde kyaddaaki zifundikiddwa Alipoota evudde mu ndagabutonde eyakolebwa eraga nti omwana ono ddala wa bazadde bano abemwegaana. Omwana ayogerwaako yazaalwa n’afa era nga wa Sanyu ne Fred Nyongesa abe Kasubi. Akulira eddwaliro lye Mulago Byarugaba […]
Ba minista abapya- endowooza za Njawulo
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya agamba nti enkyukakyuuka mu lukalala lwa ba minisita zigendereddwaamu kusiima bawagira kya pulezidenti Museveni kwesimbawo yekka Olunaku lwajjo pulezidenti yalangiridde enkyukakyuka mu ba minisita nga mu beyasudde kwekwabadde ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ne minisita akola ku by’ensimbi […]
Abavubuka basiimye Museveni- Walonze bulungi
Abavubuka b’ekibiina kya NRM bazzemu okulaga obuwagizi bwabwe eri pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2016 awatali amuguganya okuva mu kibiina. Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssentebe w’abavubuka mu kibiina Dennis Namara ategezezza nga bwebasaanye okusasula omukulembeze w’eggwanga olw’enkulakulana gy’aleese mu ggwanga nga kyakwongera n’obumu munda […]
Engo ebalumbye
Abatuuze ku byaalo ebisoba mu 4 mu gombolola ye Buwunga mu disitulikiti ye Masaka bali mu kutya oluvanyuma lw’engo eyabalumbye. Ebyaalo ebisinze okukosebwa kuliko Bujja, Bukyulo, Kibindi, Kayijja n’ebirala nga era abatuuze bagamba engo eno ebamalidde ebisolo nga batya bweva ku bisolo yakudda ku bbo. […]
Abalina “Typhoid” baweze 1000- Ebizimbe biggaddwa
Ekirwadde ky’omusujja gwomubyenda ekya typhoid kyongedde okuwanika amatanga mu ggwanga nga kati abaakakirwala mu Kampala wokka baweze 1000. Akulira eby’obulamu mu KCCA David Seruka ategezezza nti kati abalwadde bajanjabibwa mu malwaliro ga KCCA okwetolola Kampala. Seruka agamba kati bafumvubidde okulaba ga balinya omusujja guno ku […]