Amawulire
Omuliro gukutte ekizimbe kya Eugene
Omuliro gukutte ekizimbe kya Eugene House wano mu Kampala. Kigambibwa nti omuliro gutandikidde ku mwaliriro ogwokubiri olwo negusaasaana . Omu ku bakuliddemu abalwanyisa omuliro guno Okobo Godfrey ategezezza nga bwewatali muntu yenna akyakwamidde mu kizimbe kino. Agamu ku maduuka agakoseddwa kuliko erya Bata nga lino […]
Abavubuka batabuse ku bagaala okuvuunika Oyo
Abakulembeze b’abavubuka mu bukama bw’ e Tooro besamulidde ddala eby’okwagala okujja obwesige mu mukama waabwe Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV. Abavubuka mu kibiina kyabwe ekya “amacumu n’ebitara” bagamba Oyo ye Mukama we Tooro omutuufu. Kino kiddiridde omulangira Kijjanangoma okutegeeza nga Oyo emirimu bwegimulemye era […]
Abakyala batabuse
Nga eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abakyala, abakyaala okuva mu kibiina kya FDC banenyezza gavumenti olw’okulemererwa okukola ku bizibu ebibaluma. Nga bakulembeddwamu abakulira Ingrid Turinawe, abakyala bano bagamba banji ku banaabwe obwavu bubesibyeko nga olukokobe sso nga abakyaala 19 bebafiira mu ssanya buli lunaku. Bano era […]
Abasuubuzi batabuse lwamunaabwe eyafa
Abasuubuzi balumbye ofiisi z’akulira ekitongole ky’ebyamakomera mu ggwanga wali ku parliamentary avenue nebagumba awo nga bemulugunya olw’omusango gwa munaabwe Josephine Namanda eyayiirwa asidi obutawulirwa. Namanda y’afa olw’ebisago byeyafuna nga kiteberezebwa nti bba Hakim Kakaire y’eyali emabega w’olukwe luno wabula nga n’olwaleero tareeteddwa mu kkooti. Abasuubuzi […]
Mukulakulanye gyemuva
Kamalabyona wa Buganda Charles Peter Mayega akubye omulanga ogutakungula eri abagagga mu kibuga naabo bonna abakoze ku nsimbi okuddanga mu byalo bafe ku bakadde baabwe . Katikiroagambye nti aliko abagagga batayagadde kwatukiriza mannya abali obulungi nga naye nga ku kyalo gyebava tewegombesa nga n’abaabwe bali […]
Ebizimbe bigguddwaawo
Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority olwaleero bagguddewo emizimbe bina ku ebyo omusanvu ebyaggalwa olw’omusujja gw’omu byenda guyite Typhoid. Kiddiridde ensisinkano gyebabaddemu ne bannanyini bizimbe bino. Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti basazeewo okuggulawo ebizimbe bino oluvanyuma lwa bannanyini byo okutuukiriza ebisanyizo. Ebimu […]
Ebya Kigongo ne mukyala we batabuse
Ensonga z’amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM Alhajji Moses Kigongo n’eyali mukyala we Olive Kigongo zirinnye enkandaggo. Omulamuzi Yorokamu Bamwine asisinkanye ababiri bano oluvanyuma lw’omukyala okuddukira mu kkooti ng’ayagala asigaze ekizimbe kya Mosa courts Omulamuzi Bamwine afubye bano okubatunuza mu ky’okuteesa nga basise muguwa mu kkooti […]
Ababaka batabuse ku buveera
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku butonde balumbye minisita akola ku byobutonde olw’okulemererwa okuwera obuveera. Ng’alabiseeko mu kakiiko , minisita Kamuntu agambye nti okuwera obuveera kizibu okutuukiriza kubanga kirimu ebyobufuzi nga n’okulonda kutuusa kale nga kizibu Kino nno kinyiizizza ababaka abasabye minisita ajje […]
Emundu ezuuliddwa
Poliisi ye Sembabule eriko abantu 3 bekutte oluvanyuma lw’okuzuula emmundu n’amasasi 17 mu kikwekweto kyekoze mu bitundu ebyenjawulo. Abakwatiddwa kuliko namukadde ow’emyaka 60 Arajabu Nabakooza, mutabaniwe n Muhammad Mulengera ne mukwanogwe atannategerekeka abatuuze ku kyaalo Kyera mu gombolola ye Lwemiyaga. Bano baakwatiddwa oluvanyuma lwomu ku […]
Museveni yeefudde ku bya kkooti y’ensi yonna
Yadde nga waliwo obutakkaanya , gavumenti yakukolagana bulungi ne kkooti y’ensi yonna era baweeyo obujulizi bwonna obwetagisa ku musango gw’eyali omuyeekera wa Kony Dominic Ongwen. Nga asisisnkanyemu ssabawaabi wa kkooti eno Fatou Bensouda, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ategezezza nga bwebaalina okuwaayo Ongwen eri kkooti y’ensi […]