Amawulire
Teri Kampeyini wabweru we Makerere
Poliisi eweze abesimbyewo ku bukulu bw’abayizi ku ttendekero lye Makerere obutakuba kampeyini wabweru w’ettendekero lino. Kino kiddiridde abatuuze mu bitundu okuli Wandegeya, Kikoni ,Sir Apollo Kaggwa ne Bwaise n’awalala okwekubira enduulu ku bayizi ababononera ebintu byabwe buli wewabaawo enkungaana z’okunonya akalulu. Aduumira poliisi […]
Besigye aboggodde ku muyambi we
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atabukidde gavumenti olw’okulemererwa okuyamba omuyambi we Sam Mugumya okufuna obwenkanya oluvanyuma lw’okukwatibwa. Mugumya yakwatibwa omwaka oguwedde mu ggwanga lya Congo nga era akyaali mu mikono gy’ab’obuyinza mu ggwanga lino. Besigye agamba bukyanga Mugumya akwatibwa mu November w’omwaka […]
Seya aviiriddemu awo ku bya MTN
Eyali meeya wa Kampala Al-Nasser Ntege Sebaggala aviiriddemu awo mu musango gweyatwala mu kkooti ng’awakanya ekya MTN okukozesa eddoboozi lye Ekyewunyisa nti ate yye gwebalagidde okusasula MTN olw’ensimbi z’eyonoonye mu musango Omulamuzi wa kkooti ekola ku byobusuubuzi Christopher Madrama agobye okusaba kwa Ssebagala nti asasulwe […]
Omubaka akwatiddwa
Omubaka akiikirira abantu be Bukholi mu bukiikaddyo akwatiddwa ku bigambibwa nti alina ky’amanyi ku bayisiraamu abazze battibwa mu Busoga Steven Dede akwatiddwa wamu ne ssente we Namayingo Dan Wanyama Bino byonna birangiridde senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura bw’abadde ayogerako eri bannamawulire .
Minisita atabukidde abanoonya
Minisita w’empisa n’obuntu bulamu Faaza Simon Lukodo nate azzeemu okutabukira ba malaaya, ababagula wamu n’abantu abatambuza ebifaananyi wamu n’obutambi bwobuseegu. Bw’abadde ayogerako eri banamawulire Father Lokodo agambye nti nga bakolerera wamu ne poliisi, bataddewo ekibinja ky’abakwasisa amateeka abagenda okukola ebikwekweto ku bantu bano. Father Lukodo […]
Ekidyeri kya MV Kalangala kizzemu okukola
Ssanyu gyerere eri abatuuze n’abasuubuzi ku kizinga ky’e Kalangala oluvanyuma lw’ekidyeri kyabwe ekya MV Kalangala okuddamu okukola. Ekidyeri kino kyaali kyaafa kati omwaka ogusukka mu mulamba nga kibadde kiddabirizibwa ku mwalo gwe Mwanza mu ggwanga lya Tanzania. Omwogezi wa minisitule y’ebyentambula Susan Kataike agamba basobodde […]
Pulezidenti Museveni alabudde ab’e Bugweri obutaddamu Kulonda Katuntu
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni alabudde abalonzi okuva e Bugweri obutaddamu kulonda Abdul Katuntu ku bubaka bw’ekitundu kino mu kulonda okujja. Bino pulezidenti abyogedde ayaniriza abawagizi b’ekibiina kya FDC abasoba mu 600 abasaze eddiiro nebegatta ku NRM ku mukolo ogutegekeddwa eyali omumyuka wa ssabaminisita w’eggwanga Kirunda […]
Mubajje ayolekedde Masaka-Ebyokwerinda binywezeddwa
Eby’okwerinda binywezeddwa ku muzikiti gwe Kitenga mu disistulikiti ye Masaka nga abaayo balindirira Mufti Wa Uganda Shaikh Shaban Ramadhan Mubajje okusaalirayo Juma. Okusooka kyategezebwa nga Mufti bweyali ow’okusaalira ku muzikiti omukulu e Masaka wabula Disitulikiti Khadhi w’e Masaka sheik Swaib Nduga n’abakulembeze abalala nebamugoba […]
2 bafiiridde mu Kabenje
E Lwengo abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Abagenzi bategerekese nga Wasswa Mubiru ne Steven Ziwa bonna nga batuuze bomu tawuni ya Kingo mu disitulikiti ye Lwengo. Akabenje kano kavudde ku ttipa y’omusenyu namba UAK 224L […]
Omuyizi yeetuze
Eby’ensoma bikyankalanye ku ssomero lya Mutanywana SS mu disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’omu ku bayizi okwetugira mu kisulo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori sub region Bashir Bakari Muga omugenzi amumenye nga Sanairi Thembo owa siniya 4. Bakari agamba omulambo gw’olenzi guangiddwa nga gulengejjera […]