Ab’enganda z’abantu omukaaga abafiiridde mu muliro ogwakutte kkampuni ya Crest Foam bajjiddwaako omusaayi okukakasa obukwate baabwe n’abegenzi olwo basooke bafune emirambo gyaabwe
Bino bibadde ku kkeberero ly’endagabutonde erisangibwa e Wandegeya
Omwogezi wa poliisi Patrick Onyango agambye nti okwawukanako n’ebibadde bigambibwa nti endagabuntonde zakukolebwa bweru wa ggwanga, byonna byakukolebwa wano
Onyango agambye nti basobodde okufuna ab’enganda zonna era nga…
Ssentebe wa NRM Alhajji Moses Kigongo kyaddaaki ategeraganye n’eyali mukyala we Olive Kigongo okufuna omuntu anabala ensimbi eziri mu by’obuggagga byaabwe nga tebannalowooza ku kugabana
Mu nteseganya ebikubiriziddwa omulamuzi Yorokamu Bamwine, ababiri bano era bategeraganye okufuna obubazi w’ebitabo okuyita mu banka gyebatereka ensimbi okuli Barclays, standard Chartered ne Bank of Baroda era ebinavaayo babyanje nga 8…
Ekitongole kya Kampala capital city Authority kirangiridde nga bwekiggadde kabuyonjo zaayo ku City Square.
Kino kikoleddwa okusobozesa omulimu gw’okuziddabiriza okugenda mu maaso.
Amyuka atwala ebyobulamu mu KCCA Dr. Daniel Okello agamba kabuyonjo zino zaazimbibwa emyaka 40 emabega ng’abantu ssi bangi kyokka nga bazze beyongera
Ono agambye nti zzo ezaggalwa edda nazo zakuggulwa akadde konna
Abasuubuzi baakuno batandise okuloza ku bulumi bwa doola okulinya nga siringi yyo eyongera kunabuuka.
Akawungeezi akayise doola ya amerika y’abadde egula siringi 3,000 .
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi bomu Kampala ekya KACITA Everest Kayondo agamba abasuubuzi banji bandisuulawo bizinesi kubanga ebyamaguzi n’ensimbi zopupangisa babisasula mu doola.
Kayondo agamba embeera yandiyongera okwononeka mu kulonda kw’omwaka ogujja olwa gavumenti okwongera…
Ssenkagale w’ekibiina kya FDC Maj. Gen. Mugisha Muntu ategezezza nga bwebagenda okulondoola embeera ku ttendekero ly’e Kyambogo nga abayizi betegekera okulonda omukulembeze waabwe.
Muntu agamba baagala kulaba nga okulonda kuno kubeera kwamazima.
Muntu n’omubaka w’abavubuka okuva mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga bebannabyabufuzi abasoose okutuuka ku poliisi ya Jinja Road nga baagala muyizi munaabwe Gilbert Mugabi eyakwatiddwa ayimbulwe…
Palamenti eragidde emikutu gy’amawulire gyonna okusindika bannamawulire abalala abanasaka aga palamenti bagyeyo abo bonna abamazeeyo emyaka egisukka mu 5.
Mu bbaluwa eyawandiikiddwa nga 9th March 2015, omuwandiisi wa palamenti Jane Kibirige agamba kino kigendereddwamu kulaba nga tewabaawo kyekubira yenna mu mawulire agasakibwa mu palamenti.
Kibirige agamba bannamawulire ababadde mu palamenti okuva mu 2009 balina okuva mu palamenti…
Poliisi y’akukwata abakulira ekkolero ly’emifaliso erya Crest Foam ku muliro ogwakutte ekkolero lino omwafiiridde abantu 6 nga bamaze okufuna alipoota okuva eri minisitule y’ebyemirimu n’entambula ku kizimbe ekyabengeye.
Olunaku olweggulo minisita w’ebigwa tebiraze n’ebibamba Hillary Onek y’alagidde bano bakwatibwe olw’okulemererwa okutuukiriza ebirina okugobererwa mu kwewala omuliro.
Wabula omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti baakuyita…
Ensonga z’omuliro ogwakutte kkampuni ya Crest Foam abantu mukaaga bamale bafe etuuse mu palamenti.
Kati abakiise b’abakozi mu palamenti bagaala wabeewo okunonyereza ku muliro guno era alipoota eyanjibwe sso ssi kussibwa mu nkwaawa
Ng’ayogerera mu palamenti olweggulo lwaleero, omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara agambye nti abantu omukaaga omulamba okufa tekisaanye kutwalibwa ng’eky’olusaago.
Ono awagiddwa babaka banne okuli Elijah Okupa,…
Omusajja ow’emyaka abiri mu etaano abikiddwa amayinja n’afiirawo
Enjega eno egudde ku kyaalo Butale ekisangibwa e Masaka .
Ssentebe w’ekyalo kino Herman Jagwe omugenzi amumenye nga Swaibu Ssentamu.
Ono agamba nti ayitiddwa abalombe abalala abalabye amayinja nga gakulukuta
Jjagwe agambye nti ekirombe kino kirabika bakisimye nnyo nga kitandise okunafuwa
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Serunjogi akakasizza amawulire gano n’ategeeza…
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku nsonag z’eggaali y’omukka kakuddamu emirimu olunaku lw’enkya
Akakiiko kano akakulirwa omubaka Eng Kafeero Sekitoleko kakusisinkana abakugu okuva mu kkampuni ya bugirimaani eya Gauff consultants Uganda Ltd.
Eng Sekitoleko agamba nti bano beebasooka okwetegereza omulimu guno nga byebazuula zijja kubayamba nnyo
Akakiiko kano kaamaze dda okusaba nto kongerweeyo wiiki ssatu okumaliriza omulimu gw’okuzuula emivuyo…