Eyali mukomukulembeze w’eggwanga lya Ivory Coast Simone Gbagbo asibiddwa emyaka 20.
Nakyaala ono avunanibwa kwetaba mu butabanguko obwali mu ggwanga lino oluvanyuma lw’okulonda kwa 2010.
Mukyala Gbagbo abadde avunanibwa gwa kunyomoola byakwerinda bya ggwanga lino.
Ono nga bw’atandika okumanyiira embeera y’ekkomera, yye bba era eyali pmukulembeze w’eggwanga lino Laurent Gbagbo alindirira kuvunanibwa kkooti y’ensi yonna oluvanyuma lw’okugaana okuwaayo…
Okuwulira omusango gw’ababaka ba palamenti 4 abaagobwa mu kibiina kya NRM kugudde butaka olw’omu kubalamuzi Christine Kitumba okuba nga mukosefukosefu.
Abana bano bawakanya ekya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba mu palamenti oluvanyuma lw’ekibiina kyabwe okubanabira mu maaso.
Bano kuliko Theodore Sekikubo (Lwemiyaga), Muhammed Nsereko (Kampala Central), Wilfred Niwagaba (Ndorwa East) ne Barnabas Tinkasimire (Buyaga County).
Omwaka oguwedde kkooti eno…
Ab’ekibiina Kya DP balangiridde olukungaana lw’abakakiiko akafuzi olw’okubeerawo okuva ku lwokuna okutuusa olwomukaaga lwa ssabbiiti eno.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Matthias Nsubuga agamba baakuteesa ku birina okugobererwa nga betegekera okulonda kwa 2016 oluvanyuma bikakasibwe.
Mu nsisinkano eno , baakuteesa ku ngeri gyebagenda okutegekamu akamyufu k’ekibiina era basuubirwa okukola enongosereza mu ssemateeka w’ekibiina olwenkyukakyuka mu by’obufuzi by’eggwanga.
Ebyo nga bikyali…
Embeera ekyaali ya bunkenke ku ttendekero ly’e Kyambogo oluvanyuma lw’abamu ku bayizi okukeera okwekalakaasa.
Akawungeezi akayise waliwo omuyizi eyafumitiddwa ekiso oluvanyuma lw’okulwanagana wakati w’abawagizi ba munna FDC Julius Nsubuga ne Ian Kafoko owa NRM nga bano besimbye ku ky’obukulembeze bw’abayizi.
Abayizi balumbye ekizimbe okutuula abatwala ettendekero lino nga baagala abaabadde emabega w’obulumbaganyi buno bakwatibwe.
Kino kiwalirizza poliisi okubiyingiramu…
Ebintu byongedde okwononekera abakulira ekkolero ly’emifaliso erya Crest Foam
Minisita w’ebigwa tebiraze n’ebibamba Hillary Onek alagidde abalikulira bonna bakwatibwe olw’omuliro ogwakutte nemufiiramu abantu 6.
Kino akisazeewo nga alambula ekkolero lino oluvanyuma lw’okukizuula nti ekkolero tekuli makubo gayitwamu nga omuliro gukutte sso nga era babadde bookyera n’ebyuuma munda mu kkolero lino ekimenya amateeka.
Nga enkuba bwetamanya nyumba mbi, minisitule…
Poliisi kyadaaki amalirizza okuzikiza omuliro ogwaakutte kkampuni y’emifaliso eya Crestfoam nga bigenze okuggwa ng’abantu mukaaga kikakasiddwa nti bafudde
Emirambo gy’abantu bano gibadde giyidde nnyo nga kizibu okubategeera
Akulira poliisi enziinya mooto , Joseph Mugisa agamba nti kati emirambo gya bano gigenda kwekebejjebwa okusobola okugiwa ab’enganda zaabwe
Ekiri ku kkampuni eno miranga ng’abakozi n’abenganda bagenda mu maaso n’okulajaanira abaabwe
Bbo…
Omukulembeze w’eggwanga lya Zambia Edgar Lungu wakulongoosebwa edokooli.
Lungu eyalondebwa mu January w’omwaka guno yazirise bweyabadde ayogerako ,eri abantu ku mikolo gy’abakyala olunaku lwajjo mu kibuga ekikulu Lusaka
Omukulu ono aludde nga yegaana nga bw’atali mulwadde yadde ng’amawulire gaali gafulumye
Lungu ow’emyaka 58 yeeyadda mu bigere bya Michael Sata eyafa omwaka oguwedde.
Omusawo omukugu mu kwekebejja ebisigalira by’abantu Dr. Sylvester Onzivua addukidde mu kkooti ng’ayagala kusasulwa lwa gavumenti kumuggulako misango mu bukyaamu
Bino byekuusa ku kufa kw’eyali omubaka we Butalejja Cerina Nebanda
Dr. Onzivua agamba nti gavumenti yakola nsobi okumukata n’okumuggalira okwo kw’ossa n’okumuggulako emisango olw’okutambuza ebisigalira bya Nebanda mu mwaka 2012
Agamba nti omulimu guno gwaali gumuwereddwa sipiika wa…
Ab’ettendekero lye Makerere balemereddwa okutuuka kukukkaanya n’abayizi ku ky’okujjawo ensako y’abayizi abasasulirwa gavumenti
Ensimbi zino ziweebwa abayizi okweyimirizaawo nga batwala mu maaso emisomo gyaabwe
Omukungu atwala ebyensimbi mu ttendekero lino Prof Barnabas Nawangwe agamba nti ensimbi zino zajjibwaawo mu mwaka gwa 2010 neziddizibwa mu kugula ebikozesebwa ku ttendekero okuli ebyuuma n’ebitabo era nga tebasobola kukyusaamu
Nawangwe agamba nti…
Essomero lya Victorious erisangibwa e Bakuli lyandisengulwa
Kiddiridde omukyala ategerekese nga Afisa Namukasa Bikaaku okuddukira mu kkooti ng’agamba nti ye nanyini ttaka okuli essomero lino ku luguudo lwe Namirembe e Bakuli
Namukasa agamba nti yenanyini ttaka lino kyokka nga yalibwaamu olukwe banyina okuli Siraj Wasswa ne Mansoor Mukasa abagenda mu maaso n’okujingirira omukono gwe nebawaayo ettaka lino…