Abalafubanira okulonda okwamazima ssibasanyufu n’engeri y’akasoobo enongosereza mu mateeka g’eby’okulonda gyezikwatiddwamu.
Bano balaze obwenyamivu bwabwe mu nsisinkano gyebabaddemu n’amyuka sipiika wa palamenti Jacob Oulanya gyebamukwasizza kkopi z’ebiwandiiko ebirimu endowooza za bannansi ku kulonda okwamazima.
Amyuka ssentebe w’ekibinja kino nga era ye ssenkagale w’ekibiina kya DP Nobert Mao ategezezza nga obwangu bwebwetagisa mu kukola ku nsonga zino okwetegekera…
Ekibiina ky’eby’obufuzi ekya Democratic Party kyagala kukyusa mu ssemateeka kino okulaba nga begatta n’ebibiina ebirala okusimbawo omuntu omu mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga mu 2016.
Kino kyakukolebwa mu lukiiko lw’ekibiina kino olwokuntikko olugenda okubeera e Masaka olunaku olwenkya.
Ekibiina kino era kyakutunula mu nsonga y’okwawula ssenkagale w’ekibiina n’abakwatira bendera mu kulonda.
Ssentebe w’ekibiina kya DP mu ggwanga Mohammed Baswale…
Abalamuzi bazze na nkuba mpya mu kulya enguzi
Kizuliddwa nga abalamuzi kati ensimbi z’enguzi bwebazifunira ku massimu gaabwe nga bayita mu nkola ya Mobile Money.
Bino bifulumidde mu alipoota ekoleddwa ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya anti-corruption coalition Uganda nga kino abalamuzi bakilola obutabalondoola nga bwekiba nga bafunye nsimbi nkalu.
Alipoota eno kino ekitadde ku bannayuganda butamanya dembe lyabwe…
Amyuka sipiika wa palamenti omukulu Jacob Oulanya asazizzaamu ekiragiro ekyayisiddwa nti bannamawulire abamaze emyaka etaano mu palamenti bagobweeyo
Bino byabadde mu bbaluwa eyassiddwaako omukono gw’omuwandiisi wa palamenti Jane Kibirige nti eno y’engeri yokka ey’okumalawo obwa kyekubiira
Bw’abadde ayogerera mu palamenti, Oulanya agambye nti ensonga eno tetesebwangako kale ng’ekiragiro tekisobola kuva mu bbanga
Ono era asabye bannamawulire obutassa magezi…
Aba Kampuni etegeka ebivulu eya Events Warehouse ewaddeyo Cheeke ya bukadde 35 ku kudduukirira emisinde gy’amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ag’emyaka 60 egy’obuto.
Emisinde gino gyakubeerawo omwezi ogujja, okutandikira ku lubiri e Mengo, era nga Tikiti zitundibwa okuva mu bifo ebyenjawulo omuli e Bulange Mengo, mu maduuka ga Airtel wamu n’ebifo ebirala.
Bw’abadde…
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiggaddewo ekifo awaliirwa Uchumi supermarker esangibwa ku Garden City
Obuzibu bwonna buvudde ku bujama
Ekifo ekiggaddwa wewali ebiyungu n’awaliirwa emmere
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agambye nti aba UCHUMI babawadde ebbaluwa ezibalabula naye nga tebenyeenya kwekusalawo okubaggala
Bbo abatwala UCHUMI wetwogerera nga bali mu kafubo era nga bakuvaayo nekiwandiiko akadde konna
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni awanye ekitongole kya poliisi olw’obukugu bwekyolesa ensangi zino.
Bino pulezidenti y’abyogeredde ku mukolo gw’okufulumya abaserikale ba poliisi abamaze emyezi 10 nga batendekebwa ku ttendekero lya poliisi era Kablye mu disitulikiti ye Masindi.
Museveni agamba nti kati poliisi esobola okukola ku misango nga bajinonyerezzaako mungeri eyekikugu nga ate balina ba ofiisa banji abasomye.
General Museveni…
Abalwanirira eddembe ly’abakyala bavumiridde ekya kkooti y’amagye okuyimbula omujaasi Lance Corporal Herbert Rwakihembo.
Ono y’ali asibiddwa emyaka 30 olw’okukuba abantu 3 amasasi n’abatta okwali ne mukyala we Irene Kawendeke wabula oluvanyuma neyejerezebwa mu kkooti y’amagye ejulirwamu nga era kati alya butaala.
Abakyala okuba mu bibiina okuli FIDA n’ekya CEDOVIP bagamba buno ssibwenkanya eri abafiirwa abaabwe mu butemu…
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi b’emakerere abali mu kwekalakaasa nga bawakanya eky’okusasula fiizi zonna mu ssabbiiti 6 ezisooka.
Abayizi olwekandazze nebalumba ebitundu bye Wandegeya nga eno poliisi tebaganyizza kutataganya basuubuzi n’ebakubamu omukka ogubalagala.
Kyaddaki abakulira ekkolero ly’emifaliso bavuddemu ekigambo ku muliro ogwakwata ekkolero lyabwe nemufiiramu abantu 6.
Bano bategezezza nga eby’okuliyirira abafiiriddwa abaabwe mu muliro bwebijja okukolebwako nga alipoota ya poliisi ku muliro guno emaze okufuluma.
Mu nsisinkano gyebabaddemu ne minisita w’eby’obusubuzi Amelia Kyambadde, akulira kampuni ya Crest Foam Roseline Kateeba ategezezza nga nabo bwebanyoleddwa wamu olw’okufa kw’abantu bano.
Kateeba ategezezza…