Bannayuganda basabiddwa okwewala okugwa mu mazambiolwo Katonda afune ekisa atonyese enkuba eggwanga liwone ekyeya ekikaabya abanji akayirigombe.
Bw’abadde akulembeddemu edduwa y’enkuba ku muzikiti gwe Kibuli disitulikiti Kadhi wa Kampala Sheikh Suleiman Ndirangwa ategezezza nga Katonda bw’ali omunyivu olw’ebikolwa by’obuli bw’ebisiyaga, ettemu erikyase, okusobya ku baana n’amazambi amalala
Ategezezza nti olw’obusungu bwa Katonda,enkuba ekyaganye okutonya kale nga edduwa…
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga buli kyetaagisa mu kuddamu okutegeka okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri bwe kiwedde
Olunaku lwenkya akakiiko kano kaakutandika okusasanya ebikozesebwa mu kulonda nga era abesimbyewo tebalina kuddamu kunonya kalulu okusukka olwaleero.
Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu ategezezza nga bwebagenda okukkiriza abakiikirira eyesimbyewo 2 bokka buli…
Poliisi eriko omusajja gwekutte nga ono agambibwa okubeera nanyini pikipiki ezze ekozesebwa mu kuddusa abatta abakulembeze b’abayisiraamu wano mu ggwanga.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga bwebakutte Musa Muze ne munne omulala ategerekeseko erya Afan.
Bano bakukunuddwa mu muzikiti ogumu e Lira gyebamaze ebbanga nga bekukumye.
Bano kati bagasse ku lukalala lw’abo 20 abasooka okukwatibwa…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa mu bitundu bye Bugiri okunonyeza akalulu munna NRM Hajji Siraje Byavawala eyembyewo ku kuddamu okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti eno .
Ssabawandiisi wa NRM Justine Lumumba Kasule agamba pulezidenti Museveni wakukuba enkungaana ez’enjawulo era wakutangaaza ku byayogerwa eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye nga alumba NRM Bweyali mu disitulikiti wiiki…
Nga ekyeya kikyakaabya bannayuganda akayirigombe, abayisiramu olwaleero bakulomba edduwa okuwanjagira Katonda atonyese enkuba.
Ekyeeya kirese ebitundu ebisinga bikalu nga era ebisolo bingi bifudde yadde nga enkuba ebadde esuubirwa okutonya omwezi guno.
Disitulikiti Kadhi wa Kampala Sheikh Suleiman Ndirandwa ategezezza nga nga edduwa bwegenda okubeera ku muzikiti gwe kibuli ku ssaawa 4 ezokumakya.
Ndirangwa agamba y’essaawa abakkiriza okudda eri…
Poliisi ye Kakuto mu disitulikiti ye Rakai ekyanonyereza ku muliro ogwakutte ekimu ku kisulo ky’essomero lya Mary Hill Secondary School.
Emifaliso 6 gyegyasanyewo nga abayizi bagenze mu kusoma kw’ekiro.
Adumira poliisi ye Rakai Francis Tumwesigye, ategezezza nga bwewatali Muntu yenna y’alumiziddwa kubanga bayanguye okuguzikiza.
Agamba omuliro guno gwandiba nga gwavudde ku masanyalaze wabula nga bakyayongera okunonyereza.
Omuliro guzze gufuuka…
Abantu 3 bafiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Abagenzi bategerekese nga Ronald Muluhura omutuuze mu tawuni y’e Masaka, , James Mutawe omuvuzi wa bodaboda n’omukazi atanategerekeka nga bonsatule babadde batambulira ku pikipiki emu.
Akabenje kano kagudde wali e Villa nga kiddiridde kiloole ekika kya Fuso ekibadde kifumuka obuwewo namba UAM 0254…
Poliisi ye mukono eriko abantu mukaaga b’ekutte nga bateberezebwa okubeera na kakwate ku bayeera ba ADF.
Mu bakwatiddwa kuliko Sheik Abubaker Kayiwa Imaam w’omuzikiti gwe kitega Wantoni era nga y’abadde avuga ambulensi y’omubaka Betty Nambooze Bakireke.
Ono okumukwata bamulimbye nga bwebalina omulwadde awo nebakwata kiwedde
Yye omulala Muhamedi Mbaziira bamusanze mu maka ge nebamukwata saako n’abakyala balala abatasobodde…
Poliisi ekakasiza nga bwekutte abayizi abasoba mu 40 okuva ku ntendekero e Makerere ababadde bekalakasa, poliisi n’okutuusa kati ekyalwanagana n’abayizi abawakanya ekya university okubakaka okusasula ebisale bya university byona mu weeki 6 ezisooka ezolusoma.
Abatwatiddwa abakulirwa ku poliisi ye Wandegeya, cps ne ku poliisi e Mulago.
Adumira poliisi ye Wandegeya jackson Muchunguzi agambye nti waliwo ekibinja kyabayizi…
Abakubi ba pulaani wano mu ggwanga nebannabwe okuva mu ssemazinga wa Africa batandise enteekateeka z’okukuba pulaani y’okukulakulanya akayanja ka Kabaka wali e Kabuusu.
Pulaani eno oluvanyuma yakuwerezebwa eri akakiiko ka Buganda akakola ku byettaka aka Buganda land board nga 11 mu mwezi gwa August mu lukungaana lw’abakubi ba pulaani olugenda okubeera wano mu Kampala.
Amyuka akulira ekibiina…