Entiisa ebutikidde abakozi wa kampuni y’abakyayina ezimba enguudo z’eggaali y’omukka eya Chinese Railways Constructions Engineering Group oluvanyuma lwomu ku munaabwe okufiira ku mulimu.
Peter Nabothi nga abadde muvuzi wakiloole afudde oluvanyuma lwakiloole ky’abadde avuga okumulemererwa n’agwa mu mugga Katonga nga guno gwawula disitulikiti ye Mpigi ku ssembabule.
Kampuni eno yeyapatanibwa gavumenti okuzimba oluguudo lwa kilomita 110 okuva…
W’owulirira bino nga okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri kugenda mu maaso.
Abesimbyewo kuliko munna NRM Hajji Siraje Byavala , owa FDC Luba Bumaali, n’abesimbyewo kulwabwe alangalira Mwamadi, Simon Funa n’eyali omubaka wa Bukooli Abdu Nakendo.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lw’eyali ssentebe Marijani Azalwa,kkooti okumufumula lwamusango gwakukuba n’alumya gwebaali bavuganya mu kulonda kwa 2011 David…
Omusajja eyatemyeeko omuwala w’emyaka 12 omutwe azindukiriziddwa abatuuze nebamutta mu bitundu bye Kiboga.
Geoffrey Mubega atiddwa ku kyalo Buninga mu gombolola ye Rwamata oluvanyuma lw’abatuuze okumusanga n’ekiveera omubadde omutwe gw’omugenzi.
Omugenzi y’ategerekese nga Jayirisi Niwemurungyi muwala wa Patrick Byanywana ne Merabu Kyankazi, ku kyalo Rwomuriro mu disitulikiti ye Kiboga.
Taata w’omwana ono y’ategeeza nga muwalawe bweyali agenze ku…
Poliisi yewozezzako ku kyokujjawo poliisi positi eteekewo obuyumba obutali bwankalakalira .
Ssabapoliisi w’eggwanga y’ategezezza nga kino bwekyetagisa kubanga abaserikale balina batono sso nga n’enguzi esusse ku bu poliisi positi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba kino wabula ssi kyakukosa poliisi positi ezazimbibwa edda wabula tebaagala kutekawo mpya.
Enanga agamba polisi positi eziriwo mu kiseera kino zakusumusibwa…
Abantu abalala 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wali e Villa ku nkulungo y’oluguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Kino kyekifo kyekimu ewafiira abantu 5 mu kabenje akaabaddewo ku ntandikwa ya wiiki eno.
Akabenje kano kavudde ku baasi ya kampuni ya Global Coaches namba UAR 339M okuyingirira Dayana kabangali namba .UAW 409K.
Ekirungi dereeva wa baasi asobodde okugisiba…
Ekitongole kya Poliisi yokumazzi kitegezezza nga abantu abasoba mu 600 bebabbira mu bubenje mu mazzi mu myaka 4 egiyise.
Ebizuliddwa biraga nga 658 bwebaafa wakati wa January 2010 ne December 2014 nga abasinga bafiira mu lyato eryagwa mu mazzi e Ggaba neritta abasoba mu 200.
Amyuka aduumira poliisi yokumazzi Eng James Apora agamba obubenje bwokumazzi obusinga bwava…
Okusunsula abalondebwa ku bwa Minista kufundikiddwa.
Muno mwemubadde ne ssabalamuzi omuggya Bart Katureebe kko n’omumyuka we Steven Kavuma
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuyita mu kakiiko akasunsula abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga, Katureebe agambye nti wakuyimirira nga yetongodde era ng’obwenkanya kw’ajja okutambuliza ensonga
Ono era asaabuludde abantu byebabadde batandise okwogera nti ayinza okukyuka engeri pulezidenti gyeyamuwadde omulimu
Agambye nti kw’agenda okussa essira…
Namungi w’omuntu akyagumbye e Seguku okukungubagira abadde omuyimbi Salongo Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47.
Okusaba okukulembeddwamu Father John Vianne Mugabo asabye abavubuka mu ggwanga okutya mukama wamu n’okukola enyo.
Yye mukulu w’omugenzi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleon akubagizza abakungubazi n’asaba Baganda be okwagalana.
Ku lwabakozi banne okuva mu kibiina Team No Sleep, Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso omugenzi…
Abantu munaana beebattiddwa abakwata mundu bwebalumbye ekifo ky’obulambuzi mu kibuga kya Tunisia ekikulu Tunis
Mu bafudde, musanvu balambuzi ate omu munnansi wa Tunisia
Bino bibadde ku kifo ky’obulambuzi ekimanyiddwa nga Bardo ekiriraanye ekizimbe kya palamenti
Mu kaseera obulumbaganyi buno webubeereddewo, ng’ababaka mu palamenti bagenda mu maaso n’okuteesa ku mateeka agavumirira obutujju
Ebigenda okukozesebwa mu kuddamu okulonda e Bugiri bituusiddwa ku kitebe kya disitulikiti ye Bugiri
Bino bigenda kukozesebwa mu kulonda ssentebe wa disitulikiti, ne ba kansala b’abakyala abe Busoowa ne Nkaiza
Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agamba nti tebannafuna buzibu bwonna n’akunga abantu okwetaba mu kulonda kuno
Obwe ssentebe bwesimbiddwaako abantu bataano okuli owa NRM Hajji Siraje Byavawala, n’owa…